LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 22
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Akaziya, kabaka wa Yuda (1-9)

      • Asaliya yeddiza entebe y’obwakabaka (10-12)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 22:1

Footnotes

  • *

    Ono ye Yekoyakazi ayogerwako mu 21:17.

Marginal References

  • +2By 21:16, 17
  • +2Sk 8:24-26

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 22:2

Footnotes

  • *

    Obut., “muwala.”

Marginal References

  • +2Sk 11:1, 13, 16; 2By 24:7
  • +1Sk 16:28

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 22:3

Marginal References

  • +1Sk 16:33; 2Sk 8:27, 28; Mi 6:16

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 22:5

Marginal References

  • +2Sk 8:15; 10:32
  • +1Sk 22:3; 2By 18:14

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 22:6

Footnotes

  • *

    Mu mizingo egimu egy’Olwebbulaniya ayitibwa “Azaliya.”

  • *

    Oba, “yali mulwadde.”

Marginal References

  • +Yos 19:18, 23
  • +2Sk 9:15
  • +2Sk 8:16
  • +2Sk 3:1
  • +2Sk 9:16

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 22:7

Footnotes

  • *

    Obut., “mutabani.”

Marginal References

  • +1Sk 19:16; 2Sk 9:20, 21
  • +2Sk 9:6, 7

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 22:8

Marginal References

  • +2Sk 10:10-14

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 22:9

Marginal References

  • +2Sk 9:27, 28
  • +2By 17:3, 4

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 22:10

Marginal References

  • +2By 22:2
  • +2Sk 11:1-3

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 22:11

Marginal References

  • +2Sk 11:21
  • +2Sk 8:16
  • +2By 23:1
  • +2Sa 7:12, 13; 1Sk 15:4; 2By 21:7

General

2 Byom. 22:12By 21:16, 17
2 Byom. 22:12Sk 8:24-26
2 Byom. 22:22Sk 11:1, 13, 16; 2By 24:7
2 Byom. 22:21Sk 16:28
2 Byom. 22:31Sk 16:33; 2Sk 8:27, 28; Mi 6:16
2 Byom. 22:52Sk 8:15; 10:32
2 Byom. 22:51Sk 22:3; 2By 18:14
2 Byom. 22:6Yos 19:18, 23
2 Byom. 22:62Sk 9:15
2 Byom. 22:62Sk 8:16
2 Byom. 22:62Sk 3:1
2 Byom. 22:62Sk 9:16
2 Byom. 22:71Sk 19:16; 2Sk 9:20, 21
2 Byom. 22:72Sk 9:6, 7
2 Byom. 22:82Sk 10:10-14
2 Byom. 22:92Sk 9:27, 28
2 Byom. 22:92By 17:3, 4
2 Byom. 22:102By 22:2
2 Byom. 22:102Sk 11:1-3
2 Byom. 22:112Sk 11:21
2 Byom. 22:112Sk 8:16
2 Byom. 22:112By 23:1
2 Byom. 22:112Sa 7:12, 13; 1Sk 15:4; 2By 21:7
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 22:1-12

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

22 Awo abantu b’omu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya* omwana we asembayo obuto kabaka mu kifo kye, kubanga ekibinja ky’abazigu ekyajja n’Abawalabu mu lusiisira, kyatta abaana be bonna abakulu.+ Bw’atyo Akaziya mutabani wa Yekolaamu n’atandika okufuga nga kabaka wa Yuda.+ 2 Akaziya yalina emyaka 22 we yafuukira kabaka, era yafugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Asaliya+ muzzukulu* wa Omuli.+

3 Era naye yatambulira mu makubo g’ab’ennyumba ya Akabu+ kubanga nnyina ye yamuwanga amagezi okukola ebintu ebibi. 4 Yakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa ng’ab’ennyumba ya Akabu bwe baakola, kubanga kitaawe bwe yafa, ab’ennyumba ya Akabu be baamuwanga amagezi era ne gamuviirako okuzikirira. 5 Ate era yakolera ku magezi ge baamuwa n’agenda ne Yekolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isirayiri okulwanyisa Kazayeeri+ kabaka wa Busuuli e Lamosi-gireyaadi,+ era eyo abalasi gye baalasiza Yekolaamu. 6 Awo Yekolaamu n’addayo e Yezuleeri+ awone ebisago bye baamutuusaako ng’ali e Laama bwe yali alwanyisa Kabaka Kazayeeri owa Busuuli.+

Akaziya* mutabani wa Yekolaamu+ kabaka wa Yuda n’agenda e Yezuleeri okulaba Yekolaamu+ mutabani wa Akabu olw’okuba yali atuusiddwako ebisago.*+ 7 Naye Katonda yaleetera Akaziya okufa, Akaziya bwe yagenda okukyalira Yekolaamu. Era bwe yatuukayo n’agenda ne Yekolaamu eri Yeeku+ muzzukulu* wa Nimusi Yakuwa gwe yali afuseeko amafuta okuzikiriza ennyumba ya Akabu.+ 8 Yeeku bwe yali atuukiriza omusango ogwali gusaliddwa ennyumba ya Akabu, n’asanga abaami ba Yuda n’abaana ba baganda ba Akaziya, abaweereza ba Akaziya, n’abatta.+ 9 N’anoonya ne Akaziya; ne bamukwatira e Samaliya gye yali yeekwese, ne bamuleeta eri Yeeku. Ne bamutta era ne bamuziika,+ kubanga baagamba nti: “Muzzukulu wa Yekosafaati eyanoonya Yakuwa n’omutima gwe gwonna.”+ Tewaali n’omu mu nnyumba ya Akaziya eyali asobola okufuga nga kabaka.

10 Asaliya+ nnyina wa Akaziya bwe yalaba nga mutabani we afudde, n’atta abaana bonna ab’olulyo olulangira ab’ennyumba ya Yuda.+ 11 Kyokka Yekosabeyaasi muwala wa kabaka yaggya Yekowaasi+ mutabani wa Akaziya mu baana ba kabaka abaali bagenda okuttibwa, n’amutwala mu bubba, ye n’omulezi we n’abateeka mu kisenge ekisulwamu. Yekosabeyaasi muwala wa Kabaka Yekolaamu+ (yali muka Yekoyaada+ kabona era nga mwannyina wa Akaziya) yasobola okumukweka Asaliya, bw’atyo n’atamutta.+ 12 Omwana oyo n’abeera nabo okumala emyaka mukaaga ng’akwekeddwa mu nnyumba ya Katonda ow’amazima, nga Asaliya afuga eggwanga.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share