LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Bassekabaka 18
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Keezeekiya, kabaka wa Yuda (1-8)

      • Okugwa kwa Isirayiri (9-12)

      • Sennakeribu alumba Yuda (13-18)

      • Labusake asoomooza Yakuwa (19-37)

2 Bassekabaka 18:1

Marginal References

  • +2Sk 15:30; 17:1
  • +2By 28:27; Mat 1:9
  • +2Sk 16:2, 20

2 Bassekabaka 18:2

Footnotes

  • *

    Erinnya Abiya nga lisaliddwako.

Marginal References

  • +2By 29:1, 2

2 Bassekabaka 18:3

Marginal References

  • +2Sk 20:3; 2By 31:20, 21; Zb 119:128
  • +1Sk 15:5

2 Bassekabaka 18:4

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

  • *

    Oba, “nga guyitibwa Nekusitani.”

Marginal References

  • +Kbl 33:52; 1Sk 3:2; 2Sk 14:1, 4
  • +Ma 7:5; 12:3; 2By 31:1
  • +Kbl 21:8, 9

2 Bassekabaka 18:5

Marginal References

  • +2Sk 19:15; 2By 32:7, 8

2 Bassekabaka 18:6

Marginal References

  • +Ma 10:20; Yos 23:8

2 Bassekabaka 18:7

Marginal References

  • +2Sk 16:7

2 Bassekabaka 18:8

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, mu buli kifo, ka kibe nga kirimu abantu batono oba bangi.

Marginal References

  • +2By 28:18, 19; Is 14:28, 29

2 Bassekabaka 18:9

Marginal References

  • +2Sk 17:1
  • +2Sk 17:3-6

2 Bassekabaka 18:10

Marginal References

  • +Kos 13:16; Am 3:11; Mi 1:6

2 Bassekabaka 18:11

Marginal References

  • +Is 8:4; Am 6:1, 7
  • +2Sk 17:6; 1By 5:26

2 Bassekabaka 18:12

Marginal References

  • +Ma 8:20; 1Sk 14:15

2 Bassekabaka 18:13

Marginal References

  • +Is 10:5
  • +2By 32:1; Is 36:1

2 Bassekabaka 18:14

Footnotes

  • *

    Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.

2 Bassekabaka 18:15

Footnotes

  • *

    Oba, “lubiri.”

Marginal References

  • +2Sk 12:18; 16:8; 2By 16:2, 3

2 Bassekabaka 18:16

Marginal References

  • +1Sk 6:33-35
  • +2By 29:1, 3

2 Bassekabaka 18:17

Footnotes

  • *

    Oba, “omuduumizi.”

  • *

    Oba, “omukungu w’omu lubiri omukulu.”

  • *

    Oba, “omusenero omukulu.”

Marginal References

  • +Yos 15:20, 39; 2By 11:5, 9
  • +2By 32:9
  • +Is 36:2, 3

2 Bassekabaka 18:18

Footnotes

  • *

    Oba, “olubiri.”

Marginal References

  • +2Sk 19:2; Is 22:20-24
  • +Is 22:15-19

2 Bassekabaka 18:19

Marginal References

  • +2By 32:10; Is 36:4-10

2 Bassekabaka 18:20

Marginal References

  • +2Sk 18:7

2 Bassekabaka 18:21

Marginal References

  • +Is 30:1, 2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 12-13

    10/1/2005, lup. 21

2 Bassekabaka 18:22

Marginal References

  • +2By 32:8
  • +2By 31:1
  • +Ma 12:11, 13; 2By 32:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 13

2 Bassekabaka 18:23

Marginal References

  • +Is 10:12, 13

2 Bassekabaka 18:26

Footnotes

  • *

    Oba, “Olusuuli.”

Marginal References

  • +2Sk 18:18
  • +2Sk 18:17
  • +Ezr 4:7; Dan 2:4
  • +Is 36:11, 12

2 Bassekabaka 18:28

Marginal References

  • +Is 36:13-20

2 Bassekabaka 18:29

Marginal References

  • +2By 32:15

2 Bassekabaka 18:30

Marginal References

  • +2Sk 19:32-34

2 Bassekabaka 18:32

Marginal References

  • +2Sk 17:6

2 Bassekabaka 18:34

Marginal References

  • +Kbl 13:21
  • +2Sk 17:24
  • +2Sk 17:6

2 Bassekabaka 18:35

Marginal References

  • +2Sk 19:17-19; 2By 32:15; Is 37:23

2 Bassekabaka 18:36

Marginal References

  • +Is 36:21, 22

2 Bassekabaka 18:37

Footnotes

  • *

    Oba, “olubiri lwa.”

General

2 Bassek. 18:12Sk 15:30; 17:1
2 Bassek. 18:12By 28:27; Mat 1:9
2 Bassek. 18:12Sk 16:2, 20
2 Bassek. 18:22By 29:1, 2
2 Bassek. 18:32Sk 20:3; 2By 31:20, 21; Zb 119:128
2 Bassek. 18:31Sk 15:5
2 Bassek. 18:4Kbl 33:52; 1Sk 3:2; 2Sk 14:1, 4
2 Bassek. 18:4Ma 7:5; 12:3; 2By 31:1
2 Bassek. 18:4Kbl 21:8, 9
2 Bassek. 18:52Sk 19:15; 2By 32:7, 8
2 Bassek. 18:6Ma 10:20; Yos 23:8
2 Bassek. 18:72Sk 16:7
2 Bassek. 18:82By 28:18, 19; Is 14:28, 29
2 Bassek. 18:92Sk 17:1
2 Bassek. 18:92Sk 17:3-6
2 Bassek. 18:10Kos 13:16; Am 3:11; Mi 1:6
2 Bassek. 18:11Is 8:4; Am 6:1, 7
2 Bassek. 18:112Sk 17:6; 1By 5:26
2 Bassek. 18:12Ma 8:20; 1Sk 14:15
2 Bassek. 18:13Is 10:5
2 Bassek. 18:132By 32:1; Is 36:1
2 Bassek. 18:152Sk 12:18; 16:8; 2By 16:2, 3
2 Bassek. 18:161Sk 6:33-35
2 Bassek. 18:162By 29:1, 3
2 Bassek. 18:17Yos 15:20, 39; 2By 11:5, 9
2 Bassek. 18:172By 32:9
2 Bassek. 18:17Is 36:2, 3
2 Bassek. 18:182Sk 19:2; Is 22:20-24
2 Bassek. 18:18Is 22:15-19
2 Bassek. 18:192By 32:10; Is 36:4-10
2 Bassek. 18:202Sk 18:7
2 Bassek. 18:21Is 30:1, 2
2 Bassek. 18:222By 32:8
2 Bassek. 18:222By 31:1
2 Bassek. 18:22Ma 12:11, 13; 2By 32:12
2 Bassek. 18:23Is 10:12, 13
2 Bassek. 18:262Sk 18:18
2 Bassek. 18:262Sk 18:17
2 Bassek. 18:26Ezr 4:7; Dan 2:4
2 Bassek. 18:26Is 36:11, 12
2 Bassek. 18:28Is 36:13-20
2 Bassek. 18:292By 32:15
2 Bassek. 18:302Sk 19:32-34
2 Bassek. 18:322Sk 17:6
2 Bassek. 18:34Kbl 13:21
2 Bassek. 18:342Sk 17:24
2 Bassek. 18:342Sk 17:6
2 Bassek. 18:352Sk 19:17-19; 2By 32:15; Is 37:23
2 Bassek. 18:36Is 36:21, 22
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Bassekabaka 18:1-37

2 Bassekabaka

18 Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Koseya+ mutabani wa Ela kabaka wa Isirayiri, Keezeekiya+ mutabani wa Kabaka Akazi+ owa Yuda, yafuuka kabaka. 2 Yalina emyaka 25 we yatandikira okufuga, era yafugira emyaka 29 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Abi* muwala wa Zekkaliya.+ 3 Keezeekiya yakolanga ebirungi mu maaso ga Yakuwa,+ nga jjajjaawe Dawudi bwe yakolanga.+ 4 Ye yaggyawo ebifo ebigulumivu,+ n’amenyaamenya empagi ezisinzibwa, era n’atemaatema n’ekikondo ekisinzibwa.*+ Yabetenta n’omusota ogw’ekikomo Musa gwe yali akoze,+ kubanga n’okutuusa mu kiseera ekyo, abantu b’omu Isirayiri baali bakyagunyookerereza omukka gwa ssaddaaka, era nga guyitibwa ekifaananyi ky’omusota ogw’ekikomo.* 5 Keezeekiya yeesiga Yakuwa+ Katonda wa Isirayiri; tewali n’omu eyalinga ye mu bakabaka bonna aba Yuda abaamusooka oba abaamuddirira. 6 Yanywerera ku Yakuwa.+ Yamugonderanga, era yeeyongera okukwata ebiragiro Yakuwa bye yawa Musa. 7 Yakuwa yali naye. Yayolekanga amagezi mu byonna bye yakolanga. Yajeemera kabaka wa Bwasuli n’agaana okumuweereza.+ 8 Yalwanyisa Abafirisuuti n’abawangula+ okutuukira ddala e Gaaza ne mu bitundu ebikyetoolodde, okuva ku munaala gw’omukuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe.*

9 Mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ng’ogwo gwe gwali omwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Koseya+ mutabani wa Ela kabaka wa Isirayiri, Kabaka Salumaneseri owa Bwasuli yalumba Samaliya n’akizingiza.+ 10 Baakiwamba+ ku nkomerero y’emyaka esatu; mu mwaka ogw’omukaaga ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, nga gwe mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Kabaka Koseya owa Isirayiri, Samaliya kyawambibwa. 11 Awo kabaka wa Bwasuli n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse+ e Bwasuli n’abateeka e Kala, n’e Kaboli okumpi n’Omugga Gozani, ne mu bibuga by’Abameedi.+ 12 Ekyo kyali bwe kityo olw’okuba tebaawuliriza Yakuwa Katonda waabwe, wabula ne beeyongera okumenya endagaano ye, nga by’ebyo byonna Musa omuweereza wa Yakuwa bye yali abalagidde.+ Tebaawuliriza era tebaagonda.

13 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa Kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka wa Bwasuli+ yalumba ebibuga bya Yuda byonna ebiriko bbugwe n’abiwamba.+ 14 Awo Kabaka Keezeekiya owa Yuda n’aweereza kabaka wa Bwasuli obubaka e Lakisi, ng’amugamba nti: “Nsobezza. Ndeka. Byonna by’ononsalira nja kubikuwa.” Awo kabaka wa Bwasuli n’asalira Kabaka Keezeekiya owa Yuda ttalanta* 300 eza ffeeza ne ttalanta 30 eza zzaabu. 15 Keezeekiya n’amuwa ffeeza yenna eyali mu nnyumba ya Yakuwa ne mu mawanika g’omu nnyumba* ya kabaka.+ 16 Mu kiseera ekyo Keezeekiya yawangulamu enzigi za yeekaalu+ ya Yakuwa n’emyango ye kennyini gye yali abiseeko zzaabu,+ n’abiwa kabaka wa Bwasuli.

17 Awo kabaka wa Bwasuli n’asindika Talutani* ne Labusalisi* ne Labusake* okuva e Lakisi+ okugenda eri Kabaka Keezeekiya e Yerusaalemi nga balina eggye ddene.+ Baagenda ne batuuka e Yerusaalemi ne bagumba okumpi n’omukutu gw’amazzi ag’ekidiba eky’eky’engulu, oguli ku luguudo olunene olugenda mu kibanja ky’omwozi w’engoye.+ 18 Bwe baakoowoola kabaka afulume, Eriyakimu+ mutabani wa Kirukiya, eyali alabirira ennyumba* ya kabaka, ne Sebuna+ omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu, eyawandiikanga ebyabangawo, ne bagenda gye baali.

19 Awo Labusake n’abagamba nti: “Mugambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati kabaka omukulu, kabaka wa Bwasuli bw’agamba: “Kiki kye weesiga?+ 20 Ogamba nti, ‘Nnina amagezi n’amaanyi ebinsobozesa okulwana olutalo,’ naye ebyo bigambo bugambo. Kale ani oyo gwe weesiga olyoke onjeemere?+ 21 Laba! Weesize Misiri+ olumuli olubetentefu, olufumita ekibatu ky’omuntu alwesigamako ne lukiyingira. Bw’atyo Falaawo kabaka wa Misiri bw’ali eri abo bonna abamwesiga. 22 Era bwe muŋŋamba nti, ‘Twesiga Yakuwa Katonda waffe,’+ oyo si ye nnannyini bifo ebigulumivu n’ebyoto Keezeekiya bye yaggyawo,+ n’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, ‘Mulina kuvunnama mu maaso ga kyoto kino mu Yerusaalemi’?”’+ 23 Kale kaakano baako ky’osibawo eri mukama wange kabaka wa Bwasuli: Nja kukuwa embalaasi 2,000 tulabe obanga onoosobola okuzifunira abazeebagala abamala.+ 24 Ggwe eyeesiga Misiri okukuwa amagaali n’abeebagazi b’embalaasi, osobola okuwangula wadde omu ku ba gavana asingayo obunafu mu baweereza ba mukama wange? 25 Yakuwa si ye yampa obuyinza okulumba ekifo kino nkizikirize? Yakuwa kennyini ye yaŋŋamba nti, ‘Genda olumbe ensi eyo ogizikirize.’”

26 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya ne Sebuna+ ne Yowa ne bagamba Labusake+ nti: “Tukwegayiridde, yogera n’abaweereza bo mu Lulamayiki,*+ kubanga tulutegeera; toyogera naffe mu Luyudaaya ng’abantu abali ku bbugwe bawulira.”+ 27 Naye Labusake n’abagamba nti: “Mulowooza ebigambo bino mukama wange antumye kubibuulira mmwe mmwekka ne mukama wammwe? Tantumye kubibuulira n’abasajja abatudde waggulu ku bbugwe, abo abajja okulya empitambi yaabwe era banywe n’omusulo gwabwe nga nammwe bwe mujja okukola?”

28 Awo Labusake n’ayimirira n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka mu Luyudaaya n’agamba nti: “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka wa Bwasuli.+ 29 Bw’ati kabaka bw’agamba, ‘Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba, kubanga tasobola kubanunula mu mukono gwange.+ 30 Era temukkiriza Keezeekiya kubaleetera kwesiga Yakuwa ng’abagamba nti: “Yakuwa ajja kutununula, era ekibuga kino tekijja kuweebwayo mu mukono gwa kabaka wa Bwasuli.”+ 31 Temuwuliriza Keezeekiya, kubanga bw’ati kabaka wa Bwasuli bw’agamba: “Mutabagane nange era mweweeyo gye ndi, awo buli omu ku mmwe ajja kulya ku muzabbibu gwe ne ku mutiini gwe era ajja kunywa amazzi ag’omu luzzi lwe, 32 okutuusa lwe nnajja ne mbatwala mu nsi eringa eyammwe,+ ensi erimu emmere ey’empeke n’omwenge omusu; ensi erimu emigaati n’ennimiro z’emizabbibu, era ensi erimu emizeyituuni n’omubisi gw’enjuki. Mujja kusigala nga muli balamu temujja kufa. Temuwuliriza Keezeekiya, kubanga ababuzaabuza ng’abagamba nti, ‘Yakuwa ajja kutununula.’ 33 Waliwo katonda yenna ku bakatonda b’amawanga asobodde okununula ensi ye mu mukono gwa kabaka wa Bwasuli? 34 Bakatonda ba Kamasi+ ne Alupadi bali ludda wa? Bakatonda ba Sefavayimu,+ aba Kena, n’aba Yiva bali ludda wa? Baanunula Samaliya mu mukono gwange?+ 35 Ani ku bakatonda bonna ab’ensi ez’enjawulo asobodde okununula ensi ye mu mukono gwange, Yakuwa alyoke asobole okununula Yerusaalemi mu mukono gwange?”’”+

36 Naye abantu baasirika ne batamuddamu kigambo kyonna, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”+ 37 Naye Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyalabiriranga ennyumba ya* kabaka, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu, eyawandiikanga ebyabangawo, ne bagenda eri Keezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe, ne bamubuulira ebyo Labusake bye yali ayogedde.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share