LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yosiya, kabaka wa Yuda (1, 2)

      • Yosiya aleetawo enkyukakyuka (3-13)

      • Ekitabo ky’Amateeka kizuulibwa (14-21)

      • Obunnabbi bwa Kuluda obukwata ku kuzikirizibwa (22-28)

      • Yosiya asomera abantu ekitabo (29-33)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:1

Marginal References

  • +1Sk 13:2; Zef 1:1; Mat 1:10
  • +2Sk 22:1, 2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2006, lup. 15

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2006, lup. 15

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:3

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

  • *

    Oba, “ebisaanuuse.”

Marginal References

  • +2By 15:2
  • +2Sk 23:4, 14
  • +2By 33:17
  • +2By 33:21, 22

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1996, lup. 14

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:4

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

  • *

    Oba, “ebisaanuuse.”

Marginal References

  • +2Sk 23:6

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:5

Marginal References

  • +1Sk 13:2; 2Sk 23:16

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:6

Marginal References

  • +2Sk 23:19; 2By 30:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:7

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +2Sk 17:41
  • +2By 31:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:8

Footnotes

  • *

    Obut., “n’ennyumba.”

Marginal References

  • +2Sk 22:12
  • +2Sk 22:3-6

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:9

Marginal References

  • +2By 30:11, 18

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 55

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:10

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 55

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:11

Marginal References

  • +2Sk 12:11, 12

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 55

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:12

Marginal References

  • +2Sk 12:15
  • +1By 23:6
  • +2By 20:19
  • +1By 25:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:13

Footnotes

  • *

    Oba, “abaasitulanga ebintu ebizito.”

Marginal References

  • +2By 8:14

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:14

Footnotes

  • *

    Obut., “okuyitira mu mukono gwa Musa.”

Marginal References

  • +2Sk 22:4
  • +Ma 17:18; 31:24-26; Yos 1:8; 2Sk 22:8
  • +Lev 26:46

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:17

Footnotes

  • *

    Obut., “baziyiye.”

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:18

Marginal References

  • +2Sk 22:8
  • +Ma 17:18, 19

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:19

Marginal References

  • +2Sk 22:11-13

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:20

Marginal References

  • +2Sk 25:22; Yer 40:14

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:21

Marginal References

  • +Ma 30:17, 18; 31:16, 24-26; Yos 1:8

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:22

Marginal References

  • +Kuv 15:20; Bal 4:4; Luk 2:36; Bik 21:8, 9
  • +2Sk 22:14-20

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:24

Marginal References

  • +Yer 35:17
  • +Lev 26:16; Ma 28:15; 30:17, 18; Dan 9:11

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:25

Marginal References

  • +Ma 28:20
  • +2Sk 21:1, 3, 6; 2By 28:1, 3
  • +Ma 29:22, 23; Yer 7:20

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:26

Marginal References

  • +2By 34:19

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:27

Marginal References

  • +2By 32:26; 33:11, 13

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:28

Footnotes

  • *

    Obut., “nja kukukuŋŋaanyiza eri.”

Marginal References

  • +1Sk 21:29; Is 39:8

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:29

Marginal References

  • +2Sk 23:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:30

Marginal References

  • +2Sk 23:2; 2By 17:3, 9; Nek 8:3

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:31

Footnotes

  • *

    Oba, “n’azza buggya endagaano.”

Marginal References

  • +Ezr 10:3
  • +Ma 6:5
  • +Ma 31:24-26; 2Sk 22:8

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:32

Marginal References

  • +2By 30:1, 12; 33:1, 16

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:33

Footnotes

  • *

    Oba, “ebifaananyi.”

Marginal References

  • +2Sk 23:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2006, lup. 15-17

General

2 Byom. 34:11Sk 13:2; Zef 1:1; Mat 1:10
2 Byom. 34:12Sk 22:1, 2
2 Byom. 34:32By 15:2
2 Byom. 34:32Sk 23:4, 14
2 Byom. 34:32By 33:17
2 Byom. 34:32By 33:21, 22
2 Byom. 34:42Sk 23:6
2 Byom. 34:51Sk 13:2; 2Sk 23:16
2 Byom. 34:62Sk 23:19; 2By 30:1
2 Byom. 34:72Sk 17:41
2 Byom. 34:72By 31:1
2 Byom. 34:82Sk 22:12
2 Byom. 34:82Sk 22:3-6
2 Byom. 34:92By 30:11, 18
2 Byom. 34:112Sk 12:11, 12
2 Byom. 34:122Sk 12:15
2 Byom. 34:121By 23:6
2 Byom. 34:122By 20:19
2 Byom. 34:121By 25:1
2 Byom. 34:132By 8:14
2 Byom. 34:142Sk 22:4
2 Byom. 34:14Ma 17:18; 31:24-26; Yos 1:8; 2Sk 22:8
2 Byom. 34:14Lev 26:46
2 Byom. 34:182Sk 22:8
2 Byom. 34:18Ma 17:18, 19
2 Byom. 34:192Sk 22:11-13
2 Byom. 34:202Sk 25:22; Yer 40:14
2 Byom. 34:21Ma 30:17, 18; 31:16, 24-26; Yos 1:8
2 Byom. 34:22Kuv 15:20; Bal 4:4; Luk 2:36; Bik 21:8, 9
2 Byom. 34:222Sk 22:14-20
2 Byom. 34:24Yer 35:17
2 Byom. 34:24Lev 26:16; Ma 28:15; 30:17, 18; Dan 9:11
2 Byom. 34:25Ma 28:20
2 Byom. 34:252Sk 21:1, 3, 6; 2By 28:1, 3
2 Byom. 34:25Ma 29:22, 23; Yer 7:20
2 Byom. 34:262By 34:19
2 Byom. 34:272By 32:26; 33:11, 13
2 Byom. 34:281Sk 21:29; Is 39:8
2 Byom. 34:292Sk 23:1
2 Byom. 34:302Sk 23:2; 2By 17:3, 9; Nek 8:3
2 Byom. 34:31Ezr 10:3
2 Byom. 34:31Ma 6:5
2 Byom. 34:31Ma 31:24-26; 2Sk 22:8
2 Byom. 34:322By 30:1, 12; 33:1, 16
2 Byom. 34:332Sk 23:5
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:1-33

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

34 Yosiya+ yalina emyaka munaana we yafuukira kabaka, era yafugira emyaka 31 mu Yerusaalemi.+ 2 Yakola ebirungi mu maaso ga Yakuwa era n’atambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe; teyakyuka kudda ku ddyo oba ku kkono.

3 Mu mwaka ogw’omunaana ogw’obufuzi bwe, ng’akyali mulenzi muto, yatandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe;+ mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri n’atandika okuggya mu Yuda ne Yerusaalemi+ ebifo ebigulumivu+ n’ebikondo ebisinzibwa* n’ebifaananyi ebyole+ n’ebifaananyi eby’ekyuma.* 4 Ate era baamenyaamenya ebyoto bya Babbaali nga waali alaba. N’atemaatema obutuuti obwabiriko waggulu obwali bwoterezebwako obubaani. Era ebikondo ebisinzibwa* n’ebifaananyi ebyole n’ebifaananyi eby’ekyuma* yabibetenta ne bifuuka enfuufu, n’agimansira ku malaalo g’abo abaawangayo ssaddaaka gye biri.+ 5 Era amagumba ga bakabona yagookera ku byoto byabwe,+ bw’atyo n’alongoosa Yuda ne Yerusaalemi.

6 Era mu bibuga bya Manase ne Efulayimu+ ne Simiyoni ne Nafutaali ne mu bifo ebyali bibyetoolodde ebyali byafuuka amatongo, 7 yamenyaamenya ebyoto era n’abetenta ebikondo ebisinzibwa* n’ebifaananyi ebyole+ n’abifuula enfuufu. Era yatemaatema obutuuti bwonna obwali bwoterezebwako obubaani mu nsi ya Isirayiri yonna;+ oluvannyuma n’akomawo e Yerusaalemi.

8 Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwe, ng’amaze okulongoosa ensi ne yeekaalu,* yatuma Safani+ mutabani wa Azaliya ne Maaseya omukulu w’ekibuga ne Yowa mutabani wa Yowakazi eyawandiikanga ebyabangawo, okuddaabiriza ennyumba ya Yakuwa Katonda we.+ 9 Awo ne bagenda eri Kirukiya kabona asinga obukulu ne bamuwa ssente ezaali zireeteddwa mu nnyumba ya Katonda, Abaleevi abakuumi b’oku miryango ze baali bakuŋŋaanyizza okuva mu Manase ne mu Efulayimu ne mu Bayisirayiri abalala,+ n’okuva mu Yuda ne mu Benyamini ne mu bantu b’omu Yerusaalemi. 10 Ne bazikwasa abo abaali balondeddwa okulabirira omulimu ogwali gukolebwa mu nnyumba ya Yakuwa. Abakozi abaali bakola omulimu mu nnyumba ya Yakuwa ne bazikozesa okugiddaabiriza. 11 Baaziwa abakugu mu by’emikono n’abazimbi okugula amayinja amateme, n’embaawo ez’okukolamu ebisiba, n’okugula emiti egy’okuzimbisa amayumba bakabaka ba Yuda ge baali balese ne goonooneka.+

12 Abasajja baakola omulimu n’obwesigwa.+ Era baateekebwako Abaleevi bano: Yakasi ne Obadiya okuva mu Bamerali,+ ne Zekkaliya ne Mesulamu okuva mu Bakokasi,+ okubalabirira. Era Abaleevi nga buli omu mukugu mu kukuba ebivuga,+ 13 be baali bakulira abaakolanga emirimu egitali gimu,* era nga be balabirira abo bonna abaali bakola emirimu mu biti eby’enjawulo. Abamu ku Baleevi baali bawandiisi, abalala baali baami, ate abalala baali bakuumi ba ku miryango.+

14 Bwe baali baggyayo ssente ezaali zireeteddwa mu nnyumba ya Yakuwa,+ Kirukiya kabona n’azuula ekitabo ky’Amateeka ga Yakuwa+ agaaweebwa okuyitira* mu Musa. + 15 Kirukiya n’agamba Safani omuwandiisi nti: “Nzudde ekitabo ky’Amateeka mu nnyumba ya Yakuwa.” Awo Kirukiya n’akiwa Safani. 16 Safani n’atwala ekitabo eri kabaka era n’amugamba nti: “Abaweereza bo bakola byonna ebyabalagirwa. 17 Ssente ezibadde mu nnyumba ya Yakuwa baziggyeeyo* ne bazikwasa abasajja abaalondebwa era n’abo abakola omulimu.” 18 Ate era Safani omuwandiisi n’agamba kabaka nti: “Waliwo ekitabo Kirukiya kabona ky’ampadde.”+ Awo Safani n’atandika okukisomera mu maaso ga kabaka.+

19 Kabaka olwawulira ebigambo by’Amateeka, n’ayuza ebyambalo bye.+ 20 Awo kabaka n’alagira Kirukiya, ne Akikamu+ mutabani wa Safani, ne Abudoni mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka nti: 21 “Mugende mwebuuze ku Yakuwa ku lwange ne ku lw’abo bonna abasigaddewo mu Isirayiri ne mu Yuda ebikwata ku bigambo ebiri mu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Yakuwa obutwolekedde bungi olw’okuba bajjajjaffe tebaakwata bigambo bya Yakuwa okukola byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.”+

22 Awo Kirukiya n’abo kabaka be yalagira ne bagenda eri Kuluda, nnabbi omukazi,+ mukyala wa Salumu mutabani wa Tikuva mutabani wa Kalukasi, eyali alabirira ebyambalo. Kuluda yali abeera mu Yerusaalemi mu Kitundu Ekipya eky’ekibuga; awo ne boogera naye nga bali eyo.+ 23 N’abagamba nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Mugambe omusajja abatumye gye ndi nti: 24 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Nja kuleeta akabi ku kifo kino ne ku bantu abakibeeramu;+ nja kuleeta ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo+ kye baasomedde mu maaso ga kabaka wa Yuda. 25 Olw’okuba banvuddeko,+ ne banyookereza omukka gwa ssaddaaka eri bakatonda abalala okunnyiiza+ n’ebyo byonna bye bakola n’emikono gyabwe, obusungu bwange bujja kufukibwa ku kifo kino era tebujja kukomezebwa.’”+ 26 Naye kabaka wa Yuda abatumye okwebuuza ku Yakuwa mumugambe nti, “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: ‘Ku bikwata ku bigambo by’owulidde,+ 27 olw’okuba omutima gwo gubadde mugonvu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda bw’owulidde ebigambo bye ebikwata ku kifo kino ne ku bantu abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange n’oyuza ebyambalo byo era n’okaaba amaziga mu maaso gange, nkuwulidde,+ Yakuwa bw’agamba. 28 Eyo ye nsonga lwaki ojja kugoberera* bajjajjaabo, era ojja kugalamizibwa mu ntaana yo mirembe; amaaso go tegajja kulaba kabi ke ŋŋenda kuleeta ku kifo kino ne ku bantu baamu.’”’”+

Awo ne bagenda ne babibuulira kabaka. 29 Kabaka n’atuma ne bayita abakadde bonna aba Yuda ne Yerusaalemi.+ 30 Oluvannyuma lw’ekyo, kabaka yagenda mu nnyumba ya Yakuwa n’abasajja bonna ab’omu Yuda n’abantu b’omu Yerusaalemi ne bakabona n’Abaleevi—abantu bonna, abakulu n’abato, n’abasomera ebigambo byonna ebyali mu kitabo ky’endagaano ekyazuulibwa mu nnyumba ya Yakuwa.+ 31 Kabaka n’ayimirira mu kifo kye n’akola endagaano*+ mu maaso ga Yakuwa nti yali ajja kugobereranga Yakuwa era akwatenga ebiragiro bye, n’okujjukiza kwe, n’amateeka ge n’omutima gwe gwonna n’obulamu bwe bwonna,+ ng’akolera ku bigambo by’endagaano ebyali biwandiikiddwa mu kitabo ekyo.+ 32 Ate era yakubiriza abantu bonna abaali mu Yerusaalemi ne mu Benyamini okuginywererako. Abantu b’omu Yerusaalemi ne bakolera ku ebyo ebyali mu ndagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe.+ 33 Oluvannyuma Yosiya yaggyawo ebintu byonna eby’omuzizo* mu nsi y’Abayisirayiri yonna+ era n’alagira bonna mu Isirayiri okuweereza Yakuwa Katonda waabwe. Mu nnaku ze zonna tebaalekera awo kugoberera Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share