LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yekosafaati akola omukwano ne Akabu (1-11)

      • Mikaaya alagula okuwangulwa (12-27)

      • Akabu attirwa e Lamosi-gireyaadi (28-34)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:1

Marginal References

  • +2By 17:5
  • +1Sk 16:28, 33; 21:25

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:2

Footnotes

  • *

    Oba, “n’amusendasenda.”

Marginal References

  • +1Sk 22:2-4; 2By 19:2
  • +Ma 4:41-43; 1By 6:77, 80

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:4

Marginal References

  • +2Sa 2:1; 1Sk 22:5, 6

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:6

Marginal References

  • +2Sk 3:11
  • +1Sk 22:7, 8

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:7

Marginal References

  • +1Sk 18:4; 19:9, 10
  • +Yer 38:4

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:8

Marginal References

  • +1Sk 22:9-12

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:10

Footnotes

  • *

    Oba, “okusindisa.”

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:11

Marginal References

  • +Mi 3:5

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:12

Marginal References

  • +Is 30:9, 10
  • +1Sk 22:13-17

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:13

Marginal References

  • +Yer 23:28; Bik 20:27

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:16

Marginal References

  • +Lev 26:14, 17; Kbl 27:16, 17

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:17

Marginal References

  • +1Sk 22:18

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:18

Marginal References

  • +Is 6:1; Ezk 1:26; Kub 20:11
  • +Yob 1:6; Dan 7:9, 10
  • +1Sk 22:19-23

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:20

Footnotes

  • *

    Obut., “omwoyo.”

Marginal References

  • +Zb 104:4

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:22

Marginal References

  • +Is 19:14; Ezk 14:9

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:23

Marginal References

  • +2By 18:10
  • +2By 18:7
  • +Yer 20:2; Mak 14:65
  • +1Sk 22:24-28

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:26

Marginal References

  • +2By 16:10; Bik 5:18

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:27

Marginal References

  • +Kbl 16:29

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:28

Marginal References

  • +Yos 20:8; 1Sk 22:29-33; 2By 18:2

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:31

Marginal References

  • +Kuv 14:10; 2By 13:14

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:33

Footnotes

  • *

    Oba, “lusiisira.”

Marginal References

  • +1Sk 22:34, 35

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:34

Marginal References

  • +2By 18:22

General

2 Byom. 18:12By 17:5
2 Byom. 18:11Sk 16:28, 33; 21:25
2 Byom. 18:21Sk 22:2-4; 2By 19:2
2 Byom. 18:2Ma 4:41-43; 1By 6:77, 80
2 Byom. 18:42Sa 2:1; 1Sk 22:5, 6
2 Byom. 18:62Sk 3:11
2 Byom. 18:61Sk 22:7, 8
2 Byom. 18:71Sk 18:4; 19:9, 10
2 Byom. 18:7Yer 38:4
2 Byom. 18:81Sk 22:9-12
2 Byom. 18:11Mi 3:5
2 Byom. 18:12Is 30:9, 10
2 Byom. 18:121Sk 22:13-17
2 Byom. 18:13Yer 23:28; Bik 20:27
2 Byom. 18:16Lev 26:14, 17; Kbl 27:16, 17
2 Byom. 18:171Sk 22:18
2 Byom. 18:18Is 6:1; Ezk 1:26; Kub 20:11
2 Byom. 18:18Yob 1:6; Dan 7:9, 10
2 Byom. 18:181Sk 22:19-23
2 Byom. 18:20Zb 104:4
2 Byom. 18:22Is 19:14; Ezk 14:9
2 Byom. 18:232By 18:10
2 Byom. 18:232By 18:7
2 Byom. 18:23Yer 20:2; Mak 14:65
2 Byom. 18:231Sk 22:24-28
2 Byom. 18:262By 16:10; Bik 5:18
2 Byom. 18:27Kbl 16:29
2 Byom. 18:28Yos 20:8; 1Sk 22:29-33; 2By 18:2
2 Byom. 18:31Kuv 14:10; 2By 13:14
2 Byom. 18:331Sk 22:34, 35
2 Byom. 18:342By 18:22
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 18:1-34

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

18 Yekosafaati yafuna obugagga bungi n’ekitiibwa kingi nnyo;+ naye yaleka omu ku b’omu nnyumba ye okuwasa mu nnyumba ya Akabu.+ 2 Bwe waayitawo emyaka n’agenda e Samaliya+ ewa Akabu; Akabu n’asaddaaka endiga n’ente nnyingi nnyo ku lulwe ne ku lw’abantu be yali nabo, era n’amugamba* okugenda naye okulumba Lamosi-gireyaadi.+ 3 Akabu kabaka wa Isirayiri n’agamba Kabaka Yekosafaati owa Yuda nti: “Onoogenda nange e Lamosi-gireyaadi?” N’amuddamu nti: “Nze naawe ffe bamu, era abantu bange be bamu n’abantu bo; tujja kukuwagira mu lutalo.”

4 Kyokka Yekosafaati n’agamba kabaka wa Isirayiri nti: “Naye sooka weebuuze ku Yakuwa olabe ky’agamba.”+ 5 Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi 400 n’abagamba nti: “Ŋŋende nnwanyise Lamosi-gireyaadi, oba sigenda?” Ne bamugamba nti: “Genda, era Katonda ow’amazima ajja kukiwaayo mu mukono gwa kabaka.”

6 Yekosafaati n’agamba nti: “Wano tewaliiwo nnabbi wa Yakuwa?+ Ka twebuuze okuyitira mu ye.”+ 7 Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti: “Waliwo omusajja omulala omu+ gwe tusobola okuyitiramu okwebuuza ku Yakuwa, naye nze simwagala, kubanga bulijjo tandagulako birungi wabula bibi.+ Ye Mikaaya mutabani wa Imula.” Kyokka Yekosafaati n’agamba nti: “Kabaka tasaanidde kwogera kintu ng’ekyo.”

8 Awo kabaka wa Isirayiri n’ayita omukungu omu ow’omu lubiri n’amugamba nti: “Leeta mangu Mikaaya mutabani wa Imula.”+ 9 Kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda baali batudde buli omu ku ntebe ye ey’obwakabaka nga bambadde ebyambalo by’obwakabaka, era baali ku gguuliro ku mulyango oguyingira mu Samaliya, nga bannabbi bonna balagulira mu maaso gaabwe. 10 Awo Zeddeekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag’ekyuma n’agamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Gano g’ojja okutomeza* Abasuuli okutuusa lw’onoobamalawo.’” 11 Bannabbi abalala bonna ne balagula kye kimu nga bagamba nti: “Genda e Lamosi-gireyaadi era ojja kuwangula;+ Yakuwa ajja kukiwaayo mu mukono gwa kabaka.”

12 Omubaka eyagenda okuyita Mikaaya yamugamba nti: “Laba! Ebigambo byonna bannabbi bye bagambye kabaka birungi; naawe ebigambo byo ka bibeere ng’ebyabwe;+ yogera birungi.”+ 13 Naye Mikaaya n’addamu nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu, Katonda wange ky’anaagamba kye nja okwogera.”+ 14 Awo n’ajja eri kabaka, kabaka n’amubuuza nti: “Mikaaya, tugende e Lamosi-gireyaadi tukirwanyise, oba tetugenda?” N’amuddamu nti: “Genda ojja kuwangula, era bajja kuweebwayo mu mukono gwammwe.” 15 Awo kabaka n’amugamba nti: “Nnaakulayiza emirundi emeka obutambuulira kintu kirala kyonna mu linnya lya Yakuwa okuggyako amazima?” 16 Awo n’agamba nti: “Ndaba Abayisirayiri bonna nga basaasaanye ku nsozi nga balinga endiga ezitalina musumba;+ era Yakuwa n’agamba nti: ‘Bano tebalina mukama waabwe. Ka buli omu addeyo mu nnyumba ye mirembe.’”

17 Awo kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti: “Saakugambye nti, ‘Tajja kundagulako birungi wabula bibi byereere’?”+

18 Mikaaya n’agamba nti: “Kale muwulire ekigambo kya Yakuwa: Nnalaba Yakuwa ng’atudde ku ntebe ye,+ ng’eggye lyonna ery’omu ggulu+ liyimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo n’ogwa kkono.+ 19 Awo Yakuwa n’agamba nti: ‘Ani anaalimbalimba Akabu kabaka wa Isirayiri agende afiire e Lamosi-gireyaadi?’ Omu n’agamba kino ate omulala n’agamba kiri. 20 Awo malayika*+ omu n’avaayo n’ayimirira mu maaso ga Yakuwa n’amugamba nti, ‘Nze nja kumulimbalimba.’ Yakuwa n’amubuuza nti, ‘Onookikola otya?’ 21 N’amugamba nti, ‘Nja kugenda nteeke ebigambo eby’obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna.’ N’amugamba nti, ‘Ojja kusobola okumulimbalimba era ojja kukituukiriza. Genda okole bw’otyo.’ 22 Kale Yakuwa atadde ebigambo eby’obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano,+ naye Yakuwa agambye nti ojja kutuukibwako akabi.”

23 Awo Zeddeekiya+ mutabani wa Kenaana n’asembera n’akuba Mikaaya+ oluyi ku ttama+ n’amugamba nti: “Omwoyo gwa Yakuwa gwanvaako ddi ne gwogera naawe?”+ 24 Mikaaya n’amuddamu nti: “Lw’onooyingira mu kisenge ekisingayo okuba munda okwekweka lw’onootegeera ddi lwe gwakuvaako.” 25 Awo kabaka wa Isirayiri n’agamba nti: “Mutwale Mikaaya mumukwase Amoni omukulu w’ekibuga ne Yowaasi mutabani wa kabaka. 26 Mubagambe nti, ‘kabaka agambye nti: “Omusajja ono mumuteeke mu kkomera+ era mumuwe emmere ntono n’amazzi matono okutuusa nga nkomyewo mirembe.”’” 27 Naye Mikaaya n’agamba nti: “Bw’onookomawo mirembe, nga Yakuwa tayogedde nange.”+ Ate era yagattako nti: “Mukyetegereze mmwe abantu mmwenna.”

28 Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bagenda e Lamosi-gireyaadi.+ 29 Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti: “Nze nja kuyingira mu lutalo nga nneefudde ng’omuntu omulala, naye ggwe yambala ebyambalo byo eby’obwakabaka.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula ng’omuntu omulala ne bayingira olutalo. 30 Kabaka wa Busuuli yali alagidde abakulu b’amagaali ge nti: “Temulwanyisa muntu mulala yenna, k’abe wa kitiibwa oba atali wa kitiibwa, okuggyako kabaka wa Isirayiri yekka.” 31 Abakulu b’amagaali olwalaba Yekosafaati ne bagamba nti: “Ono ye kabaka wa Isirayiri.” Awo ne bakyuka okumulwanyisa, naye Yekosafaati n’alaajana+ era Yakuwa n’amuyamba; amangu ago Katonda n’abawugula ne bamuleka. 32 Abakulu b’amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Isirayiri, amangu ago ne balekera awo okumuwondera.

33 Naye waaliwo omusajja eyalasa akasaale ke nga takigenderedde, ne kakwasa kabaka wa Isirayiri ebitundu by’ekyambalo kye eky’olutalo we byegattira. Kabaka n’agamba omuvuzi w’eggaali lye nti: “Kyuka onzigye mu lutalo* kubanga nfunye ebisago eby’amaanyi.”+ 34 Olutalo ne lunyiinyiitira olunaku olwo lwonna, era kabaka wa Isirayiri ne bamuyimiriza mu ggaali lye nga bamuwaniridde ng’atunudde eri Abasuuli okutuusa akawungeezi; n’afa ng’enjuba egwa.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share