1 Ebyomumirembe Ekisooka
27 Guno gwe muwendo gw’Abayisirayiri, abakulu b’ennyumba za bakitaabwe, abaakuliranga enkumi n’abaakuliranga ebikumi,+ n’abakungu baabwe abaali baweereza kabaka+ mu nsonga zonna ezikwata ku bibinja by’abo abajjanga buli mwezi era ne bagenda, mu myezi gyonna egiri mu mwaka; buli kibinja kyalimu abantu 24,000.
2 Yasobeyamu+ mutabani wa Zabudyeri ye yali akulira ekibinja ekisooka eky’omwezi ogusooka, era ekibinja kye kyalimu abantu 24,000. 3 Ku baana ba Pereezi,+ ye yali akulira abakulu bonna abaali bakulira obubinja obw’abo abaaweerezanga mu mwezi ogusooka. 4 Dodayi+ Omwakoki+ ye yali akulira ekibinja eky’omwezi ogw’okubiri. Mikuloosi ye yali akikulembera, era ekibinja kye kyalimu abantu 24,000. 5 Omukulu w’ekibinja eky’okusatu ekyaweebwa okuweereza mu mwezi ogw’okusatu yali Benaya+ mutabani wa Yekoyaada+ kabona omukulu, era ekibinja kye kyalimu abantu 24,000. 6 Benaya ono yali mulwanyi wa maanyi, nga y’omu ku asatu era nga y’akulira asatu; Ammizabaadi mutabani we ye yali aduumira ekibinja kye. 7 Omukulu ow’okuna ow’omwezi ogw’okuna yali Asakeri+ muganda wa Yowaabu;+ Zebadiya mutabani we ye yali amuddirira, era ekibinja kye kyalimu abantu 24,000. 8 Omukulu ow’okutaano ow’omwezi ogw’okutaano yali Samukusi Omuyizulakiya, era ekibinja kye kyalimu abantu 24,000. 9 Omukulu ow’omukaaga ow’omwezi ogw’omukaaga yali Ira+ mutabani wa Ikkesi Omutekowa,+ era ekibinja kye kyalimu abantu 24,000. 10 Omukulu ow’omusanvu ow’omwezi ogw’omusanvu yali Kerezi+ Omuperoni ow’oku baana ba Efulayimu, era ekibinja kye kyalimu abantu 24,000. 11 Omukulu ow’omunaana ow’omwezi ogw’omunaana yali Sibbekayi+ Omukusa ow’omu Bazeera,+ era ekibinja kye kyalimu abantu 24,000. 12 Omukulu ow’omwenda ow’omwezi ogw’omwenda yali Abi-yezeri+ Omwanasosi+ ow’omu Babenyamini, era ekibinja kye kyalimu abantu 24,000. 13 Omukulu ow’ekkumi ow’omwezi ogw’ekkumi yali Makalayi+ Omunetofa ow’omu Bazeera,+ era ekibinja kye kyalimu abantu 24,000. 14 Omukulu ow’ekkumi n’omu ow’omwezi ogw’ekkumi n’ogumu yali Benaya+ Omupirasoni ow’oku baana ba Efulayimu, era ekibinja kye kyalimu abantu 24,000. 15 Omukulu ow’ekkumi n’ababiri ow’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri yali Keludayi Omunetofa, muzzukulu wa Osuniyeri, era ekibinja kye kyalimu abantu 24,000.
16 Bano be baali bakulira ebika bya Isirayiri: eyali akulira eky’Abalewubeeni yali Eriyeza mutabani wa Zikuli; Sefatiya mutabani wa Maaka ye yali akulira eky’Abasimiyoni; 17 Kasukabiya mutabani wa Kemweri ye yali akulira eky’Abaleevi; eyali akulira ab’ennyumba ya Alooni yali Zadooki; 18 Eriku+ omu ku baganda ba Dawudi ye yali akulira ekya Yuda; Omuli mutabani wa Mikayiri ye yali akulira ekya Isakaali; 19 Isumaya mutabani wa Obadiya ye yali akulira ekya Zebbulooni; Yerimosi mutabani wa Azulyeri ye yali akulira ekya Nafutaali; 20 Koseya mutabani wa Azaziya ye yali akulira eky’Abeefulayimu; Yoweeri mutabani wa Pedaya ye yali akulira ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase; 21 Iddo mutabani wa Zekkaliya ye yali akulira ekitundu ekimu eky’okubiri ekirala eky’ekika kya Manase mu Gireyaadi; Yaasiyeri mutabani wa Abuneeri+ ye yali akulira ekya Benyamini; 22 Azaleri mutabani wa Yerokamu ye yali akulira ekya Ddaani. Abo be baali abakulu b’ebika bya Isirayiri.
23 Dawudi teyabala abo ab’emyaka abiri n’okudda wansi, kubanga Yakuwa yali asuubizza okwaza Isirayiri ng’emmunyeenye z’oku ggulu.+ 24 Yowaabu mutabani wa Zeruyiya yali atandise okubala naye teyamaliriza. Katonda yasunguwalira Isirayiri* olw’okubala kuno,+ omuwendo ogwo ne gutawandiikibwa mu byafaayo by’ekiseera kya Kabaka Dawudi.
25 Azumavesi mutabani wa Adyeri ye yali alabirira amawanika ga kabaka.+ Ate Yonasaani mutabani wa Uzziya ye yali alabirira amawanika ag’omu byalo, n’ag’omu bibuga, n’ag’omu bubuga, n’ag’omu minaala. 26 Ezuli mutabani wa Kerubu ye yali akulira abakozi abaalimanga mu nnimiro. 27 Simeeyi Omulaama ye yali alabirira ennimiro z’emizabbibu; ate Zabudi Omusifumu ye yali alabirira amaterekero g’omwenge. 28 Bbaali-kanani Omugederi ye yali alabirira ennimiro z’emizeyituuni n’emiti gy’emisukamooli+ egyalinga mu Sefera;+ ate Yowaasi ye yali alabirira amaterekero g’amafuta g’ezzeyituuni. 29 Situlayi Omusaloni+ ye yali alabirira amagana agaalundirwanga mu Saloni; ate Safati mutabani wa Adulayi ye yali alabirira amagana agaalundirwanga mu nsenyi. 30 Obiri Omuyisimayiri ye yali alabirira eŋŋamira; ate Yedeya Omumeronoosi ye yali alabirira endogoyi.* 31 Yazizi Omukaguli ye yali alabirira ebisibo. Abo bonna be baali balabirira ebintu bya Kabaka Dawudi.
32 Yonasaani+ omwana wa muganda wa Dawudi yali muwi w’amagezi; yali musajja mutegeevu, era yali muwandiisi. Yekyeri mutabani wa Kakumoni ye yali alabirira batabani ba kabaka.+ 33 Akisoferi+ yali muwi w’amagezi owa kabaka; Kusaayi+ Omwaluki yali mukwano gwa kabaka.* 34 Akisoferi bwe yavaawo, waddawo Yekoyaada mutabani wa Benaya+ ne Abiyasaali;+ ate Yowaabu+ ye yali akulira amagye ga kabaka.