Yobu
22 Awo Erifaazi+ Omutemani n’addamu nti:
2 “Omuntu asobola okuba ow’omugaso eri Katonda?
Omuntu yenna ow’amagezi alina ky’amugasa?+
3 Omuyinza w’Ebintu Byonna kimusanyusa olw’okuba oli mutuukirivu,
Oba alina bw’aganyulwa bw’okuuma obwesigwa bwo?+
4 Anaakubonereza,
Era n’akuwozesa olw’okumussaamu ekitiibwa?
5 Ebibi byo si bye bingi,
Era nga tebiriiko kkomo?+
6 Kubanga oggya omusingo ku baganda bo awatali nsonga,
7 Abakooye tobawa mazzi ga kunywa,
N’abalumwa enjala tobawa mmere.+
8 Ettaka liba ly’abo ab’amaanyi,+
Era ab’ekitiibwa be balibeerako.
9 Wagobanga bannamwandu nga tolina ky’obawadde,
Era wanafuyanga emikono gy’abaana abatalina bakitaabwe.*
10 Kyova weetooloolwa emitego,*+
Era eby’entiisa bikukanga;
11 Era eyo ye nsonga lwaki waliwo ekizikiza eky’amaanyi n’oba nga tosobola kulaba,
Era amazzi amangi gakubikka.
12 Katonda tali waggulu mu ggulu?
Era laba emmunyeenye zonna bwe ziri waggulu ennyo.
13 Naye ogambye nti: ‘Katonda amanyi ki?
Asobola okusala emisango ng’ekizikiza eky’amaanyi kimusiikirizza?
14 Ebire bimusiikiriza n’atalaba
Ng’atambulira ku nkulungo y’eggulu.’
15 Onookwata ekkubo ery’edda
Abantu ababi lye baatambuliramu,
16 Okufa be kwakwakkula amangu,
17 Baagambanga Katonda ow’amazima nti: ‘Tuveeko!’
Era nti ‘Omuyinza w’Ebintu Byonna ayinza kutukola ki?’
18 So ng’ate ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi.
(Sisobola kuba na ndowooza ng’eyo embi.)
19 Abatuukirivu baliraba okuzikirira kw’ababi ne basanyuka,
Era abo abatalina musango balibasekerera ne bagamba nti:
20 ‘Abalabe baffe bazikiriziddwa,
Era omuliro gulyokya abasigaddewo.’
21 Manya Katonda obe n’emirembe;
Olyoke ofune ebintu ebirungi.
22 Kkiriza amateeka ge,
Era okuumire ebigambo bye mu mutima gwo.+
23 Bw’onodda eri Omuyinza w’Ebintu Byonna, ojja kuddamu obeere bulungi;+
Era bw’onoggya obutali butuukirivu mu weema yo,
24 N’osuula zzaabu wo mu nfuufu
Era zzaabu w’e Ofiri+ n’omusuula mu biwonvu omuli amayinja,
25 Kale Omuyinza w’Ebintu Byonna anaaba zzaabu wo,
Era anaaba ffeeza wo asingayo obulungi.
26 Onoosanyuka olw’Omuyinza w’Ebintu Byonna,
Era onooyimusa amaaso go eri Katonda.
27 Onoomwegayirira n’akuwulira;
Era onoosasulanga obweyamo bwo.
28 Kyonna ky’onoosalangawo okukola tekiigwe butaka,
N’ekitangaala kinaamulisa ekkubo lyo.
29 Kubanga onoofeebezebwa bw’onooyogeza amalala,
Naye anaalokola abawombeefu.
30 Ajja kununula abo abataliiko musango;
Era engalo zo bwe zinaaba ennongoofu, ojja kununulibwa.”