LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 28
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obunnabbi obukwata ku kabaka wa Ttuulo (1-10)

        • “Ndi katonda” (2, 9)

      • Oluyimba olw’okukungubagira kabaka wa Ttuulo (11-19)

        • “Wali obeera mu Edeni” (13)

        • “Kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta” (14)

        • “Watandika okukola ebitali bya butuukirivu” (15)

      • Obunnabbi obukwata ku Sidoni (20-24)

      • Abayisirayiri ba kuzzibwa mu nsi yaabwe (25, 26)

Ezeekyeri 28:2

Marginal References

  • +Ezk 28:5
  • +Ezk 27:4

Ezeekyeri 28:3

Marginal References

  • +Dan 2:48

Ezeekyeri 28:4

Marginal References

  • +Zek 9:3

Ezeekyeri 28:5

Marginal References

  • +Is 23:1, 3; Ezk 27:12

Ezeekyeri 28:7

Marginal References

  • +Ezk 30:10, 11
  • +Is 23:9

Ezeekyeri 28:8

Footnotes

  • *

    Oba, “mu ntaana.”

Marginal References

  • +Ezk 27:26

Ezeekyeri 28:12

Marginal References

  • +Ezk 28:3
  • +Ezk 27:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2005, lup. 14-15

    12/1/1988, lup. 15

Ezeekyeri 28:13

Marginal References

  • +Ezk 27:16

Ezeekyeri 28:14

Marginal References

  • +Is 14:13

Ezeekyeri 28:15

Marginal References

  • +Yow. 3:4; Am 1:9

Ezeekyeri 28:16

Marginal References

  • +1Sk 10:11; 2By 9:21; Ezk 27:12
  • +Yow. 3:6
  • +Is 23:9; Yer 25:17, 22; 47:4; Yow. 3:8

Ezeekyeri 28:17

Marginal References

  • +Ezk 27:3
  • +Is 14:14
  • +Is 14:15

Ezeekyeri 28:18

Marginal References

  • +Am 1:9, 10

Ezeekyeri 28:19

Marginal References

  • +Ezk 27:35
  • +Ezk 27:36

Ezeekyeri 28:21

Marginal References

  • +Is 23:4; Yer 25:17, 22; Ezk 32:30

Ezeekyeri 28:23

Marginal References

  • +Ezk 26:6

Ezeekyeri 28:24

Marginal References

  • +Kbl 33:55; Yos 23:12, 13

Ezeekyeri 28:25

Marginal References

  • +Ma 30:3; Is 11:12; Yer 30:18; Kos 1:11
  • +Is 5:16
  • +Yer 23:8
  • +Lub 28:13

Ezeekyeri 28:26

Marginal References

  • +Is 32:18; Yer 23:6; Kos 2:18
  • +Is 65:21, 22; Yer 31:5; Am 9:14
  • +Yer 30:16

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 110

General

Ezk. 28:2Ezk 28:5
Ezk. 28:2Ezk 27:4
Ezk. 28:3Dan 2:48
Ezk. 28:4Zek 9:3
Ezk. 28:5Is 23:1, 3; Ezk 27:12
Ezk. 28:7Ezk 30:10, 11
Ezk. 28:7Is 23:9
Ezk. 28:8Ezk 27:26
Ezk. 28:12Ezk 28:3
Ezk. 28:12Ezk 27:3
Ezk. 28:13Ezk 27:16
Ezk. 28:14Is 14:13
Ezk. 28:15Yow. 3:4; Am 1:9
Ezk. 28:161Sk 10:11; 2By 9:21; Ezk 27:12
Ezk. 28:16Yow. 3:6
Ezk. 28:16Is 23:9; Yer 25:17, 22; 47:4; Yow. 3:8
Ezk. 28:17Ezk 27:3
Ezk. 28:17Is 14:14
Ezk. 28:17Is 14:15
Ezk. 28:18Am 1:9, 10
Ezk. 28:19Ezk 27:35
Ezk. 28:19Ezk 27:36
Ezk. 28:21Is 23:4; Yer 25:17, 22; Ezk 32:30
Ezk. 28:23Ezk 26:6
Ezk. 28:24Kbl 33:55; Yos 23:12, 13
Ezk. 28:25Ma 30:3; Is 11:12; Yer 30:18; Kos 1:11
Ezk. 28:25Is 5:16
Ezk. 28:25Yer 23:8
Ezk. 28:25Lub 28:13
Ezk. 28:26Is 32:18; Yer 23:6; Kos 2:18
Ezk. 28:26Is 65:21, 22; Yer 31:5; Am 9:14
Ezk. 28:26Yer 30:16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 28:1-26

Ezeekyeri

28 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:

“‘“Olw’okuba omutima gwo gufunye amalala,+ ogamba nti, ‘Ndi katonda.

Ntudde ku ntebe ya katonda wakati mu nnyanja.’+

Naye oli muntu buntu toli katonda,

Wadde nga mu mutima gwo olowooza nti oli katonda.

 3 Laba! Olowooza nti oli wa magezi okusinga Danyeri.+

Olowooza nti tewali kyama kikukwekeddwa.

 4 Ogaggawadde olw’amagezi go n’okutegeera kwo,

Era otereka zzaabu ne ffeeza mu mawanika go.+

 5 Wagaggawala nnyo+ olw’obukugu bw’olina mu by’obusuubuzi,

Era omutima gwo gwafuna amalala olw’obugagga bwo.”’

6 “‘Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:

“Olw’okuba mu mutima gwo olowooza nti oli katonda,

 7 ŋŋenda kukusindikira abagwira, abasingayo obukambwe mu mawanga,+

Era bajja kusowolayo ebitala byabwe babyolekeze ebintu byonna ebirungi amagezi go bye gaafuna,

Era bayonoone obulungi bwo.+

 8 Bajja kukusuula mu kinnya,*

Era ojja kuttibwa mu ngeri ey’obukambwe wakati mu nnyanja.+

 9 Oyo anaakutta onooba osobola okumugamba nti, ‘Ndi katonda’?

Mu mukono gw’abo abakutyoboola, ojja kuba muntu buntu so si katonda.”’

10 “‘Ojja kuttibwa abagwira, ofe ng’atali mukomole,

Kubanga nze nkyogedde,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”

11 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 12 “Omwana w’omuntu, yimba oluyimba luno olw’okukungubaga olukwata ku kabaka wa Ttuulo, omugambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:

“‘“Wali kyakulabirako eky’omuntu atuukiridde,

Walina amagezi mangi+ era walungiwa n’otuukirira.+

13 Wali obeera mu Edeni, olusuku lwa Katonda.

Wali otonaatoneddwako buli jjinja ery’omuwendo omungi

—Yodemu, topazi, yasepi;

Kirisoliti, sokamu, yasipero; safiro, nofeki,+ ne zumaliidi;

Era gaali gateekeddwa mu bufuleemu obwa zzaabu.

Gaategekebwa ku lunaku lwe watondebwa.

14 Nnakulonda okuba kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta.

Wali obeera ku lusozi lwa Katonda olutukuvu,+ era watambuliranga mu mayinja agaaka omuliro.

15 Tewaliiko kya kunenyezebwa mu makubo go okuva ku lunaku lwe watondebwa

Okutuusa lwe watandika okukola ebitali bya butuukirivu.+

16 “‘“Olw’okuba weenyigira nnyo mu by’obusuubuzi,+

Wajjula ebikolwa eby’obukambwe n’otandika okwonoona.+

Nja kulekera awo okukutwala ng’omutukuvu nkugobe ku lusozi lwa Katonda era nkuzikirize,+

Nkuggye mu mayinja agaaka omuliro, ggwe kerubi omukuumi.

17 “‘“Omutima gwo gwafuna amalala olw’obulungi bwo.+

Wayonoona amagezi go olw’obulungi bwo.+

Nja kukusuula ku nsi.+

Nja kukufuula ekyerolerwa mu maaso ga bakabaka.

18 “‘“Olw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo mu by’obusuubuzi, ovvodde ebifo byo ebitukuvu.

Nja kukuma omuliro mu ggwe gukwokye.+

Nja kukufuula vvu ku nsi mu maaso g’abo bonna abakulaba.

19 Abantu bonna abakumanyi bajja kukutunuulira beewuunye.+

Enkomerero yo ejja kujja mangu era ejja kuba ya ntiisa,

Era tojja kuddamu kubaawo emirembe n’emirembe.”’”+

20 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 21 “Omwana w’omuntu, tunula e Sidoni+ olangirire ebinaakituukako. 22 Gamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:

“Kaakano ndi mulabe wo ggwe Sidoni, era nja kugulumizibwa mu ggwe;

Era abantu bonna bajja kumanya nti nze Yakuwa bwe nnaakubonereza era ne ntukuzibwa okuyitira mu ggwe.

23 Nja kukusindikira endwadde era omusaayi gujja kukulukutira mu nguudo zo.

Abanattibwa bajja kugwa mu ggwe ng’ekitala kikulumbye okuva ku njuyi zonna;

Bajja kumanya nti nze Yakuwa.+

24 “‘“Era ennyumba ya Isirayiri tejja kuddamu kwetooloolwa emiyonza n’amaggwa agafumita,+ abo ababajooga; era abantu bajja kumanya nti nze Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”’

25 “‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Bwe nnaddamu ne nkuŋŋaanya ab’ennyumba ya Isirayiri okuva mu mawanga mwe baasaasaanira,+ nja kutukuzibwa mu bo mu maaso g’amawanga.+ Era bajja kubeera mu nsi+ gye nnawa omuweereza wange Yakobo.+ 26 Bajja kugibeeramu nga bali mu mirembe,+ bazimbe amayumba era basimbe ennimiro z’emizabbibu,+ era bajja kubeera mu mirembe bwe nnaabonereza abo bonna ababeetoolodde ababajooga;+ era bajja kumanya nti nze Yakuwa Katonda waabwe.”’”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share