LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 17
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obubaka eri Ddamasiko (1-11)

      • Yakuwa aliboggolera amawanga (12-14)

Isaaya 17:1

Marginal References

  • +Yer 49:23; Zek 9:1
  • +2Sk 16:8, 9; Is 8:4; Am 1:5

Isaaya 17:2

Marginal References

  • +Kbl 32:34; Yos 13:15, 16; 2Sk 10:32, 33

Isaaya 17:3

Footnotes

  • *

    Obut., “abaana ba Isirayiri.”

Marginal References

  • +2Sk 17:6; Is 7:8; 28:1, 2; Kos 5:14
  • +2Sk 16:8, 9

Isaaya 17:4

Footnotes

  • *

    Obut., “amasavu g’omubiri.”

Isaaya 17:5

Marginal References

  • +Yos 15:8, 12; 18:11, 16

Isaaya 17:6

Marginal References

  • +Ma 4:27; 24:20

Isaaya 17:8

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +2By 31:1
  • +Kos 8:6, 11

Isaaya 17:9

Marginal References

  • +Kos 10:14; Am 3:11

Isaaya 17:10

Footnotes

  • *

    Oba, “eza katonda omulala.”

Marginal References

  • +Zb 50:22; Kos 8:14
  • +Ma 32:4; 2Sa 22:32

Isaaya 17:11

Marginal References

  • +Ma 28:30; Kos 8:7

General

Is. 17:1Yer 49:23; Zek 9:1
Is. 17:12Sk 16:8, 9; Is 8:4; Am 1:5
Is. 17:2Kbl 32:34; Yos 13:15, 16; 2Sk 10:32, 33
Is. 17:32Sk 17:6; Is 7:8; 28:1, 2; Kos 5:14
Is. 17:32Sk 16:8, 9
Is. 17:5Yos 15:8, 12; 18:11, 16
Is. 17:6Ma 4:27; 24:20
Is. 17:82By 31:1
Is. 17:8Kos 8:6, 11
Is. 17:9Kos 10:14; Am 3:11
Is. 17:10Zb 50:22; Kos 8:14
Is. 17:10Ma 32:4; 2Sa 22:32
Is. 17:11Ma 28:30; Kos 8:7
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 17:1-14

Isaaya

17 Obubaka obukwata ku Ddamasiko:+

“Laba! Ddamasiko kirirekera awo okuba ekibuga,

Era kirifuuka ntuumu ya bifunfugu.+

 2 Ebibuga bya Aloweri+ birirekebwawo;

Birifuuka bifo ebisibo mwe binaagalamiranga

Nga tewali abitiisa.

 3 Ebibuga ebiriko bbugwe biriggwa mu Efulayimu,+

N’obwakabaka buliggwaawo mu Ddamasiko;+

Era ab’omu Busuuli abalisigalawo

Baliba ng’ekitiibwa ky’Abayisirayiri,”* Yakuwa ow’eggye bw’agamba.

 4 “Ku lunaku olwo ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera,

Era omubiri* gwe omulamu obulungi gulikogga.

 5 Kiriba ng’omuntu bw’akungula emmere ey’empeke mu nnimiro

Omukono gwe ne gunoga ebirimba by’emmere ey’empeke,

Ng’omuntu bw’alonderera emmere ey’empeke mu Kiwonvu ky’Abaleefa.+

 6 Walisigalawo ebibala bitono mu nnimiro,

Ng’omuti gw’omuzeyituuni bwe guba nga gukubiddwa:

Gusigalako ezzeyituuni ezengedde bbiri oba ssatu zokka ku ttabi erisingayo okuba waggulu,

Ezzeyituuni nnya oba ttaano zokka ku matabi gaagwo agabala ebibala,”+ Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba.

7 Ku lunaku olwo omuntu alitunuulira Omutonzi we, era amaaso ge galyekaliriza Omutukuvu wa Isirayiri. 8 Talitunuulira byoto,+ omulimu gw’emikono gye;+ era talyekaliriza ebyo engalo ze bye zaakola, ka bibe ebikondo ebisinzibwa* oba ebyoterezo by’obubaani.

 9 Ku lunaku olwo ebibuga bye ebiriko bbugwe birifuuka ng’ekifo ekyalekebwawo mu kibira,+

Ng’ettabi eryalekebwawo mu maaso g’Abayisirayiri;

Birifuuka matongo.

10 Kubanga weerabidde Katonda+ ow’obulokozi bwo;

Tojjukidde Lwazi,+ ekigo kyo.

Eyo ye nsonga lwaki osimba emisiri egirabika obulungi

N’ogisimbamu endokwa z’oyo gw’otomanyi.*

11 Emisana ossa olukomera ku musiri gwo,

Ku makya omeza ensigo zo,

Naye amakungula galiggwaawo ku lunaku olw’obulwadde era olw’obulumi obutasalako.+

12 Wulira! Waliwo oluyoogaano lw’abantu abangi,

Abafuukuuse ng’ennyanja!

Waliwo okuwowoggana kw’amawanga,

Okulinga okuyira kw’amazzi amangi ennyo!

13 Amawanga galiwuluguma ng’okuwuluguma kw’amazzi amangi.

Aligaboggolera, era galiddukira wala,

Ne gafuumuulibwa ng’ebisusunku ebifuumuulibwa empewo ku nsozi,

Ng’amatovu agafuumuulibwa embuyaga.

14 Akawungeezi wabaawo entiisa.

Ng’obudde tebunnakya, baggwaawo.

Ogwo gwe mugabo gw’abo abatubba

Era gwe mugabo gw’abo abatunyaga.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share