LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Asa aleetawo enkyukakyuka (1-19)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:2

Marginal References

  • +Yak 4:8
  • +Is 55:6
  • +1By 28:9; Beb 10:38

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2012, lup. 9-10

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:3

Footnotes

  • *

    Obut., “ennaku nnyingi.”

Marginal References

  • +Ma 33:8, 10; 2By 17:8, 9; Mal 2:7

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:4

Marginal References

  • +Zb 106:43, 44; Is 55:7

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:5

Footnotes

  • *

    Obut., “tewaaliwo mirembe eri oyo afuluma oba eri oyo ayingira.”

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:6

Marginal References

  • +Ma 28:15, 48

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:7

Footnotes

  • *

    Obut., “temuleka mikono gyammwe kugwa.”

Marginal References

  • +Yos 1:9; 1By 28:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2012, lup. 9

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:8

Marginal References

  • +2Sk 23:24
  • +2By 8:12

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:9

Marginal References

  • +2By 11:16; 30:25

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:12

Marginal References

  • +Ma 4:29; 2Sk 23:3; Nek 10:28, 29

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:13

Footnotes

  • *

    Oba, “wa kitiibwa oba si wa kitiibwa.”

Marginal References

  • +Kuv 22:20

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:15

Marginal References

  • +2By 15:2
  • +Nge 16:7

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:16

Footnotes

  • *

    Laba Awanny. Ebigambo.

Marginal References

  • +1Sk 15:9, 10
  • +Ma 13:6-9
  • +1Sk 15:13, 14

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:17

Footnotes

  • *

    Obut., “ennaku ze zonna.”

Marginal References

  • +1Sk 22:43
  • +1Sk 14:22, 23; 2Sk 14:3, 4; 23:19, 20
  • +1Sk 8:61

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:18

Marginal References

  • +1Sk 7:51; 15:15; 1By 26:26

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:19

Marginal References

  • +2By 14:1

General

2 Byom. 15:2Yak 4:8
2 Byom. 15:2Is 55:6
2 Byom. 15:21By 28:9; Beb 10:38
2 Byom. 15:3Ma 33:8, 10; 2By 17:8, 9; Mal 2:7
2 Byom. 15:4Zb 106:43, 44; Is 55:7
2 Byom. 15:6Ma 28:15, 48
2 Byom. 15:7Yos 1:9; 1By 28:20
2 Byom. 15:82Sk 23:24
2 Byom. 15:82By 8:12
2 Byom. 15:92By 11:16; 30:25
2 Byom. 15:12Ma 4:29; 2Sk 23:3; Nek 10:28, 29
2 Byom. 15:13Kuv 22:20
2 Byom. 15:152By 15:2
2 Byom. 15:15Nge 16:7
2 Byom. 15:161Sk 15:9, 10
2 Byom. 15:16Ma 13:6-9
2 Byom. 15:161Sk 15:13, 14
2 Byom. 15:171Sk 22:43
2 Byom. 15:171Sk 14:22, 23; 2Sk 14:3, 4; 23:19, 20
2 Byom. 15:171Sk 8:61
2 Byom. 15:181Sk 7:51; 15:15; 1By 26:26
2 Byom. 15:192By 14:1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:1-19

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

15 Awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Azaliya mutabani wa Odedi. 2 N’agenda mu maaso ga Asa n’amugamba nti: “Ggwe Asa ne Yuda yonna ne Benyamini, mumpulirize! Yakuwa ali nammwe singa nammwe muba naye;+ bwe munaamunoonya ajja kukkiriza mumuzuule;+ naye bwe munaamuvaako naye ajja kubavaako.+ 3 Isirayiri yamala ekiseera kiwanvu* nga terina Katonda ow’amazima, nga terina kabona ayigiriza, era nga terina mateeka.+ 4 Naye bwe baali mu nnaku ne badda eri Yakuwa Katonda wa Isirayiri ne bamunoonya, yakkiriza ne bamuzuula.+ 5 Mu kiseera ekyo tewaali muntu yali ayinza kutambula mirembe,* kubanga obutabanguko bwali bungi mu bantu bonna ab’omu nsi. 6 Eggwanga lyazikirizibwanga eggwanga eddala, n’ekibuga kyazikirizibwanga ekibuga ekirala, kubanga Katonda yabaleka okubeera mu butabanguko ne balaba ennaku eya buli ngeri.+ 7 Naye mmwe, mubeere bavumu era temuggwaamu maanyi,*+ kubanga mujja kuweebwa empeera olw’ebyo bye mukola.”

8 Asa olwawulira ebigambo ebyo n’obunnabbi bwa nnabbi Odedi, n’afuna obuvumu n’aggyawo ebifaananyi ebyenyinyaza ebyali mu nsi yonna eya Yuda+ ne Benyamini ne mu bibuga bye yali awambye mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi, era n’azzaawo ekyoto kya Yakuwa ekyali mu maaso g’ekisasi ky’ennyumba ya Yakuwa.+ 9 N’akuŋŋaanya Yuda yonna ne Benyamini n’abagwira bonna abaali mu bo abaava mu Efulayimu ne Manase ne Simiyoni,+ kubanga bangi nnyo baali bavudde mu Isirayiri ne bamwegattako, bwe baalaba nga Yakuwa Katonda we ali naye. 10 Ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogw’okusatu mu mwaka ogw’ekkumi n’etaano ogw’obufuzi bwa Asa. 11 Ku lunaku olwo ne bawaayo ssaddaaka eri Yakuwa okuva ku munyago gwe baali baleese, ente 700 n’endiga 7,000. 12 Ate era baakola endagaano okunoonya Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe n’omutima gwabwe gwonna n’obulamu bwabwe bwonna.+ 13 Omuntu yenna atandinoonyezza Yakuwa Katonda wa Isirayiri yali wa kuttibwa, k’abe muto oba mukulu,* musajja oba mukazi.+ 14 Ne balayira eri Yakuwa nga boogerera waggulu, nga bakuba emizira, era nga bafuuwa amakondeere n’eŋŋombe. 15 Ab’omu Yuda bonna ne basanyuka olw’ekyo kye baalayira, kubanga baalayira n’omutima gwabwe gwonna, era baamunoonya n’obumalirivu n’akkiriza ne bamuzuula;+ era Yakuwa n’ayongera okubawa ekiwummulo ku njuyi zonna.+

16 Ate era Kabaka Asa yagoba Maaka+ jjajjaawe ku bwa nnamasole, kubanga yali akoze ekifaananyi ekyesisiwaza ekyakozesebwanga mu kusinza ekikondo ekisinzibwa.*+ Asa yatemaatema ekifaananyi ekyo n’akibetenta n’akyokera mu Kiwonvu Kidulooni.+ 17 Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwa+ mu Isirayiri.+ Kyokka Asa yaweereza n’omutima gwe gwonna, obulamu bwe bwonna.*+ 18 Yaleeta mu nnyumba ya Katonda ow’amazima ebintu ye ne kitaawe bye baatukuza—ffeeza, zzaabu, n’ebintu ebikozesebwa ebitali bimu.+ 19 Tewaaliwo lutalo lwonna okutuusa mu mwaka ogw’asatu mu etaano ogw’obufuzi bwa Asa.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share