LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Timoseewo 1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okulamusa (1, 2)

      • Alabulwa okwewala abayigiriza eby’obulimba (3-11)

      • Ekisa eky’ensusso ekyalagibwa Pawulo (12-16)

      • Kabaka ow’emirembe n’emirembe (17)

      • ‘Lwana olutalo olulungi’ (18-20)

1 Timoseewo 1:1

Marginal References

  • +1Pe 1:3, 4

1 Timoseewo 1:2

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Oyo Awa Katonda Ekitiibwa.”

Marginal References

  • +Bik 16:1, 2; Baf 2:19, 20
  • +1Ko 4:17

1 Timoseewo 1:4

Marginal References

  • +1Ti 4:7; 2Ti 4:3, 4; Tit 1:13, 14
  • +1Ti 6:20; 2Ti 2:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2011, lup. 16-18

1 Timoseewo 1:5

Marginal References

  • +Bar 13:8
  • +Bag 5:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/15/2015, lup. 8-9

1 Timoseewo 1:6

Marginal References

  • +1Ti 6:20; 2Ti 2:16-18

1 Timoseewo 1:7

Marginal References

  • +Yak 3:1

1 Timoseewo 1:9

Footnotes

  • *

    Oba, “abatalina kwagala kutajjulukuka.”

Marginal References

  • +Bag 3:19

1 Timoseewo 1:10

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

  • *

    Oba, “abasajja abeegatta n’abasajja.” Obut., “abasajja abeebaka n’abasajja.”

Marginal References

  • +2Ti 1:13; Tit 1:7, 9

1 Timoseewo 1:11

Marginal References

  • +Bag 2:7, 8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2009, lup. 16-17

1 Timoseewo 1:12

Marginal References

  • +Bik 9:15; 2Ko 3:5, 6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    7/2019, lup. 31

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    7/2016, lup. 26-27

1 Timoseewo 1:13

Marginal References

  • +Bik 8:3; 9:1, 2; Bag 1:13; Baf 3:5, 6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2005, lup. 14-15

1 Timoseewo 1:15

Marginal References

  • +Luk 5:32; 2Ko 5:19; 1Yo 2:1, 2
  • +Bik 9:1, 2; 1Ko 15:9

1 Timoseewo 1:16

Marginal References

  • +Yok 6:40; 20:31

1 Timoseewo 1:17

Marginal References

  • +Zb 10:16; 90:2; Dan 6:26; Kub 15:3
  • +Bar 1:23
  • +Bak 1:15
  • +Is 43:10; 1Ko 8:4

Indexes

  • Research Guide

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 12

1 Timoseewo 1:18

Marginal References

  • +2Ti 2:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2020, lup. 28-30

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2015, lup. 14

    9/15/2008, lup. 29

1 Timoseewo 1:19

Marginal References

  • +1Ti 1:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/1999, lup. 15-16, 17-18

1 Timoseewo 1:20

Marginal References

  • +2Ti 2:16-18
  • +1Ko 5:5, 11

General

1 Tim. 1:11Pe 1:3, 4
1 Tim. 1:2Bik 16:1, 2; Baf 2:19, 20
1 Tim. 1:21Ko 4:17
1 Tim. 1:41Ti 4:7; 2Ti 4:3, 4; Tit 1:13, 14
1 Tim. 1:41Ti 6:20; 2Ti 2:14
1 Tim. 1:5Bar 13:8
1 Tim. 1:5Bag 5:6
1 Tim. 1:61Ti 6:20; 2Ti 2:16-18
1 Tim. 1:7Yak 3:1
1 Tim. 1:9Bag 3:19
1 Tim. 1:102Ti 1:13; Tit 1:7, 9
1 Tim. 1:11Bag 2:7, 8
1 Tim. 1:12Bik 9:15; 2Ko 3:5, 6
1 Tim. 1:13Bik 8:3; 9:1, 2; Bag 1:13; Baf 3:5, 6
1 Tim. 1:15Luk 5:32; 2Ko 5:19; 1Yo 2:1, 2
1 Tim. 1:15Bik 9:1, 2; 1Ko 15:9
1 Tim. 1:16Yok 6:40; 20:31
1 Tim. 1:17Zb 10:16; 90:2; Dan 6:26; Kub 15:3
1 Tim. 1:17Bar 1:23
1 Tim. 1:17Bak 1:15
1 Tim. 1:17Is 43:10; 1Ko 8:4
1 Tim. 1:182Ti 2:3
1 Tim. 1:191Ti 1:5
1 Tim. 1:202Ti 2:16-18
1 Tim. 1:201Ko 5:5, 11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Timoseewo 1:1-20

1 Timoseewo

1 Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu olw’ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe ne Kristo Yesu, essuubi lyaffe,+ 2 mpandiikira Timoseewo*+ omwana wange ddala+ mu kukkiriza:

Ekisa eky’ensusso, n’obusaasizi, n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe bibeere naawe.

3 Nga bwe nnakukubiriza okusigala mu Efeso nga nnaatera okugenda e Masedoniya, ne kaakano nkukubiriza osigaleyo osobole okulagira abamu obutayigiriza njigiriza za bulimba, 4 n’obutassaayo mwoyo ku ngero ez’obulimba+ ne ku nnyiriri z’obuzaale. Ebintu ng’ebyo tebivaamu kalungi konna,+ wabula bireetawo okuteebereza mu kifo ky’okuleeta ebintu ebiva eri Katonda ebinyweza okukkiriza. 5 Mazima ddala, ekigendererwa ky’ekiragiro kino kwe kuba n’okwagala+ okuva mu mutima omulongoofu, mu muntu ow’omunda omulungi, ne mu kukkiriza+ okutaliimu bukuusa. 6 Abamu bavudde ku bintu bino ne badda mu kwogera ebitaliimu.+ 7 Baagala okubeera abayigiriza+ b’amateeka naye nga tebategeera bye boogera wadde bye bakalambirako.

8 Tukimanyi nti Amateeka gaba malungi singa omuntu agakozesa mu ngeri entuufu 9 ng’akimanyi nti amateeka tegaateekerwawo muntu mutuukirivu, wabula abamenyi b’amateeka,+ abajeemu, abatatya Katonda, aboonoonyi, abatali beesigwa,* abatassa kitiibwa mu bintu ebitukuvu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era abatta n’abantu abalala, 10 abagwenyufu,* abasajja abalya ebisiyaga,* abawamba abantu, abalimba, abalayira eby’obulimba, n’abo abakola ebintu ebirala byonna ebikontana n’okuyigiriza okw’omuganyulo.+ 11 Okuyigiriza kuno kwesigamiziddwa ku mawulire amalungi ag’ekitiibwa aga Katonda omusanyufu ge nnakwasibwa.+

12 Nneebaza Kristo Yesu Mukama waffe eyampa amaanyi, kubanga yantwala okuba omwesigwa n’ankwasa obuweereza+ 13 wadde ng’edda nnali muvvoozi, ayigganya abalala, era atawa balala kitiibwa.+ Naye nnasaasirwa kubanga nnabikolanga mu butamanya era nga sirina kukkiriza. 14 Naye Mukama waffe yandaga ekisa kingi nnyo, era nnafuna okukkiriza n’okwagala okuli mu Kristo Yesu. 15 Ebigambo bino byesigika era bisaana okukkirizibwa mu bujjuvu: Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi.+ Mu boonoonyi abo nze nsingayo.+ 16 Naye nnasaasirwa, Kristo Yesu asobole okulaga obugumiikiriza bwe bwonna okuyitira mu nze omwonoonyi asingayo, ndyoke mbeere ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiririzaamu basobole okufuna obulamu obutaggwaawo.+

17 Kabaka ow’emirembe n’emirembe,+ ataggwaawo,+ atalabika,+ Katonda omu yekka,+ aweebwe ettendo n’ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

18 Nkuwa ekiragiro kino mwana wange Timoseewo ekikwatagana n’obunnabbi obwali bukusongako, olyoke olwane olutalo olulungi ng’obunnabbi obwo bwe bwalaga,+ 19 ng’okuuma okukkiriza n’omuntu ow’omunda omulungi+ abamu gwe balagajjalidde, okukkiriza kwabwe ne kusaanawo ng’emmeeri emenyesemenyese. 20 Kumenaayo+ ne Alekizanda be bamu ku bo, era mbawaddeyo eri Sitaani,+ okukangavvulwa kubayigirize obutavvoola.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share