LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Olubereberye 18
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Bamalayika basatu bakyalira Ibulayimu (1-8)

      • Saala asuubizibwa okuzaala omwana ow’obulenzi; aseka (9-15)

      • Ibulayimu yeegayirira ku lwa Sodomu (16-33)

Olubereberye 18:1

Marginal References

  • +Lub 16:7; Bal 13:21
  • +Lub 13:18; 14:13

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1996, lup. 24

Olubereberye 18:2

Marginal References

  • +Lub 19:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1996, lup. 24

Olubereberye 18:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1996, lup. 25

Olubereberye 18:4

Marginal References

  • +Lub 19:2; 24:32

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1996, lup. 25

Olubereberye 18:5

Footnotes

  • *

    Obut., “muzzeemu emitima gyammwe amaanyi.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1996, lup. 25

Olubereberye 18:6

Footnotes

  • *

    Obut., “ebigera bya seya.” Seya yali egyaamu lita 7.33. Laba Ebyong. B14.

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2014, lup. 7

    10/1/1996, lup. 24-25

Olubereberye 18:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1996, lup. 24-25

Olubereberye 18:8

Marginal References

  • +Beb 13:2

Olubereberye 18:9

Marginal References

  • +Lub 17:15

Olubereberye 18:10

Marginal References

  • +Lub 17:21; 21:2; Bar 9:9

Olubereberye 18:11

Marginal References

  • +Lub 17:17
  • +Bar 4:19

Olubereberye 18:12

Marginal References

  • +Beb 11:11; 1Pe 3:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 5 2017 lup. 14

Olubereberye 18:14

Marginal References

  • +Is 40:29; Mat 19:26; Luk 1:36, 37

Olubereberye 18:16

Marginal References

  • +Lub 13:12

Olubereberye 18:17

Marginal References

  • +Zb 25:14; Am 3:7

Olubereberye 18:18

Footnotes

  • *

    Oba, “galyefunira omukisa.”

Marginal References

  • +Lub 12:1-3; Bag 3:14

Olubereberye 18:19

Marginal References

  • +Ma 4:9

Olubereberye 18:20

Marginal References

  • +2Pe 2:7, 8
  • +Lub 13:13; Yud 7

Olubereberye 18:21

Marginal References

  • +Lub 11:5; Kuv 3:7, 8; Zb 14:2

Indexes

  • Research Guide

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 202

Olubereberye 18:22

Marginal References

  • +Lub 31:11; 32:30

Olubereberye 18:23

Marginal References

  • +Kbl 16:22

Olubereberye 18:25

Marginal References

  • +Zb 37:10, 11; Nge 29:16; Mal 3:18; Mat 13:49
  • +Ma 32:4
  • +Yob 34:12; Is 33:22

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    4/2017, lup. 18

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2010, lup. 6

    4/15/2010, lup. 14

    4/1/2009, lup. 20

    8/1/2003, lup. 16-17

    2/1/1994, lup. 22

Olubereberye 18:28

Marginal References

  • +Kbl 14:18; Zb 86:15

Olubereberye 18:30

Marginal References

  • +Kuv 34:6

Indexes

  • Research Guide

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 203-204

Olubereberye 18:32

Indexes

  • Research Guide

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 203-204

Olubereberye 18:33

Marginal References

  • +Lub 18:2, 22

General

Lub. 18:1Lub 16:7; Bal 13:21
Lub. 18:1Lub 13:18; 14:13
Lub. 18:2Lub 19:1
Lub. 18:4Lub 19:2; 24:32
Lub. 18:8Beb 13:2
Lub. 18:9Lub 17:15
Lub. 18:10Lub 17:21; 21:2; Bar 9:9
Lub. 18:11Lub 17:17
Lub. 18:11Bar 4:19
Lub. 18:12Beb 11:11; 1Pe 3:6
Lub. 18:14Is 40:29; Mat 19:26; Luk 1:36, 37
Lub. 18:16Lub 13:12
Lub. 18:17Zb 25:14; Am 3:7
Lub. 18:18Lub 12:1-3; Bag 3:14
Lub. 18:19Ma 4:9
Lub. 18:202Pe 2:7, 8
Lub. 18:20Lub 13:13; Yud 7
Lub. 18:21Lub 11:5; Kuv 3:7, 8; Zb 14:2
Lub. 18:22Lub 31:11; 32:30
Lub. 18:23Kbl 16:22
Lub. 18:25Zb 37:10, 11; Nge 29:16; Mal 3:18; Mat 13:49
Lub. 18:25Ma 32:4
Lub. 18:25Yob 34:12; Is 33:22
Lub. 18:28Kbl 14:18; Zb 86:15
Lub. 18:30Kuv 34:6
Lub. 18:33Lub 18:2, 22
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 18:1-33

Olubereberye

18 Oluvannyuma Yakuwa+ n’amulabikira okumpi n’emiti eminene egy’e Mamule+ bwe yali ng’atudde ku mulyango gwa weema mu ttuntu. 2 Bwe yayimusa amaaso n’alaba abasajja basatu nga bayimiridde, nga beesudde akabanga okuva we yali.+ Bwe yabalaba n’ava ku mulyango gwa weema n’adduka okubasisinkana, era n’avunnama wansi. 3 Awo n’agamba nti: “Yakuwa, bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, nkwegayiridde toyita ku muweereza wo. 4 Ka baleete amazzi ebigere byammwe binaazibwe,+ oluvannyuma muwummulireko wansi w’omuti. 5 Kale nga bwe muzze wano ew’omuweereza wammwe, ka ndeete emmere mulye,* bwe munaamala mweyongereyo.” Awo ne bagamba nti: “Kale, kola nga bw’ogambye.”

6 Awo Ibulayimu n’ayanguwa n’agenda mu weema eri Saala n’amugamba nti: “Yanguwa ofune ebigera* bisatu eby’obuwunga obulungi ennyo, obukande ofumbe emigaati.” 7 Ibulayimu n’adduka mbiro mu kiraalo n’aggyayo ente ento ennume enyirira n’agiwa omuweereza, n’ayanguwa okugenda okugifumba. 8 Ibulayimu n’addira omuzigo n’amata n’ennyama gye yali afumbye n’abiteeka mu maaso gaabwe. N’ayimirira ku mabbali wansi w’omuti nga bo bwe balya.+

9 Awo ne bamubuuza nti: “Mukazi wo Saala ali ludda wa?”+ N’abaddamu nti: “Ali awo mu weema.” 10 Omu ku bo n’amugamba nti: “Nja kukomawo gy’oli omwaka ogujja mu kiseera nga kino, era laba! Saala mukazi wo ajja kuba alina omwana ow’obulenzi.”+ Saala yali ku mulyango gwa weema ng’awuliriza, era weema yali mabega wa musajja. 11 Ibulayimu ne Saala baali bakuze nga bakaddiye nnyo.+ Saala yali ayisizza mu myaka egy’okuzaala.+ 12 Awo Saala n’atandika okuseka mu mutima gwe ng’agamba nti: “Nnaafuna essanyu lino nga nkaddiye bwe nti, era nga ne mukama wange akaddiye?”+ 13 Awo Yakuwa n’agamba Ibulayimu nti: “Lwaki Saala asese n’agamba nti, ‘Ddala nnaazaala omwana nga nkaddiye bwe nti?’ 14 Waliwo ekitasoboka eri Yakuwa?+ Nja kukomawo gy’oli mu kiseera kye kimu omwaka ogujja, era Saala ajja kuba alina omwana ow’obulenzi.” 15 Naye Saala ne yeegaana ng’agamba nti: “Sisese,” kubanga yatya. N’amugamba nti: “Osese.”

16 Abasajja bwe baasituka okugenda, ne batunula e Sodomu,+ era Ibulayimu yali atambula nabo ng’abawerekerako. 17 Yakuwa n’agamba nti: “Nnaakisa Ibulayimu kye ŋŋenda okukola?+ 18 Ibulayimu agenda kufuuka eggwanga eddene era ery’amaanyi, era okuyitira mu ye amawanga gonna ag’oku nsi galiweebwa omukisa.*+ 19 Kyenvudde mmumanya asobole okulagira abaana be n’ab’ennyumba ye abalimuddirira okukwata ekkubo lya Yakuwa nga bakola eby’obutuukirivu n’eby’obwenkanya,+ Yakuwa alyoke awe Ibulayimu byonna bye yamusuubiza.”

20 Awo Yakuwa n’agamba nti: “Okwemulugunya ku Sodomu ne Ggomola kwa maanyi nnyo,+ n’ekibi kyabwe kinene nnyo.+ 21 Nja kugendayo ndabe obanga ddala bakola ng’okwemulugunya okutuuse gye ndi bwe kuli. Bwe kinaaba nga si bwe kiri, nakyo nja kukimanya.”+

22 Awo abasajja ne bava eyo ne boolekera Sodomu, naye Yakuwa+ n’asigala ne Ibulayimu. 23 Ibulayimu n’asembera n’agamba nti: “Ddala onoozikiriza abatuukirivu awamu n’ababi?+ 24 Mu kibuga bwe muba mulimu abatuukirivu 50, onoozikiriza ekibuga kyonna n’otakisonyiwa ku lw’abatuukirivu 50 abakirimu? 25 Mazima ddala toyinza kukola bw’otyo, otte abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu n’ababi batuukibweko ekintu kye kimu!+ Toyinza kukola bw’otyo.+ Omulamuzi w’ensi yonna taakole kituufu?”+ 26 Awo Yakuwa n’amugamba nti: “Mu Sodomu bwe nnaasangamu abatuukirivu 50, nja kusonyiwa ekibuga kyonna ku lwabwe.” 27 Naye Ibulayimu era n’amuddamu nti: “Nneetantadde okwogera ne Yakuwa wadde nga ndi nfuufu era vvu. 28 Ku batuukirivu 50 bwe kunaaba kubulako bataano, onoozikiriza ekibuga kyonna olw’abataano ababulako?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza bwe nnaasangamu abatuukirivu 45.”+

29 Ibulayimu n’addamu n’amugamba nti: “Ate bwe munaabaamu 40?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza ku lw’abo 40.” 30 Naye n’ayongera n’agamba nti: “Nkwegayiridde Yakuwa, tosunguwala,+ ka nneeyongere okwogera: Bwe munaabaamu 30?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza singa nsangamu 30.” 31 N’ayongera n’agamba nti: “Nneetantadde okwogera ne Yakuwa: Bwe munaabaamu 20?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza ku lw’abo 20.” 32 Ku nkomerero n’agamba nti: “Nkwegayiridde Yakuwa, tosunguwala, ka njogere omulundi omulala gumu: Singa musangibwamu kkumi bokka?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza ku lw’abo ekkumi.” 33 Yakuwa bwe yamala okwogera ne Ibulayimu, n’agenda,+ Ibulayimu naye n’addayo ewuwe.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share