LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Bassekabaka 12
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Lekobowaamu addamu na bukambwe (1-15)

      • Ebika ekkumi byewaggula (16-19)

      • Yerobowaamu afuulibwa kabaka wa Isirayiri (20)

      • Lekobowaamu agaanibwa okulwana ne Isirayiri (21-24)

      • Yerobowaamu atandikawo okusinza ennyana (25-33)

1 Bassekabaka 12:1

Marginal References

  • +Lub 12:6; Yos 20:7, 9; Bal 9:1, 2; Bik 7:15, 16
  • +2By 10:1-4

1 Bassekabaka 12:2

Marginal References

  • +1Sk 11:26, 40

1 Bassekabaka 12:4

Footnotes

  • *

    Oba, “ekinyigiriza.”

Marginal References

  • +1Sa 8:11-18; 1Sk 4:7

1 Bassekabaka 12:5

Marginal References

  • +2By 10:5-7

1 Bassekabaka 12:8

Marginal References

  • +2By 10:8-11

1 Bassekabaka 12:12

Marginal References

  • +2By 10:12-15

1 Bassekabaka 12:15

Marginal References

  • +Ma 2:30; 2By 22:7; Bar 9:18
  • +1Sk 11:31

1 Bassekabaka 12:16

Footnotes

  • *

    Obut., “mu weema zaabwe.”

Marginal References

  • +2By 10:16, 17

1 Bassekabaka 12:17

Marginal References

  • +1Sk 11:12, 13; 2By 11:13, 16

1 Bassekabaka 12:18

Marginal References

  • +2Sa 20:24; 1Sk 4:6; 5:13, 14
  • +2By 10:18, 19

1 Bassekabaka 12:19

Marginal References

  • +2Sk 17:21

1 Bassekabaka 12:20

Marginal References

  • +1Sk 11:30, 31
  • +1Sk 11:12, 13; Kos 11:12

1 Bassekabaka 12:21

Footnotes

  • *

    Obut., “abalondemu.”

Marginal References

  • +2By 11:1-4; 25:5

1 Bassekabaka 12:22

Marginal References

  • +2By 12:5

1 Bassekabaka 12:24

Marginal References

  • +1Sk 11:30, 31

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    6/2018, lup. 14

1 Bassekabaka 12:25

Marginal References

  • +1Sk 12:1
  • +Lub 32:30; Bal 8:13, 17

1 Bassekabaka 12:26

Marginal References

  • +1Sk 11:38

1 Bassekabaka 12:27

Marginal References

  • +Ma 12:5, 6

1 Bassekabaka 12:28

Marginal References

  • +Kuv 20:4; 2Sk 10:29
  • +Kuv 32:4, 8; 2By 11:15, 16

1 Bassekabaka 12:29

Marginal References

  • +Lub 12:8, 9; 28:19
  • +Lub 14:14; Ma 34:1; Bal 18:29; 20:1

1 Bassekabaka 12:30

Marginal References

  • +2Sk 10:31; 17:21-23

1 Bassekabaka 12:31

Marginal References

  • +Kbl 3:10; 1Sk 13:33; 2By 11:14; 13:9

1 Bassekabaka 12:32

Marginal References

  • +Lev 23:34
  • +Am 7:13

General

1 Bassek. 12:1Lub 12:6; Yos 20:7, 9; Bal 9:1, 2; Bik 7:15, 16
1 Bassek. 12:12By 10:1-4
1 Bassek. 12:21Sk 11:26, 40
1 Bassek. 12:41Sa 8:11-18; 1Sk 4:7
1 Bassek. 12:52By 10:5-7
1 Bassek. 12:82By 10:8-11
1 Bassek. 12:122By 10:12-15
1 Bassek. 12:15Ma 2:30; 2By 22:7; Bar 9:18
1 Bassek. 12:151Sk 11:31
1 Bassek. 12:162By 10:16, 17
1 Bassek. 12:171Sk 11:12, 13; 2By 11:13, 16
1 Bassek. 12:182Sa 20:24; 1Sk 4:6; 5:13, 14
1 Bassek. 12:182By 10:18, 19
1 Bassek. 12:192Sk 17:21
1 Bassek. 12:201Sk 11:30, 31
1 Bassek. 12:201Sk 11:12, 13; Kos 11:12
1 Bassek. 12:212By 11:1-4; 25:5
1 Bassek. 12:222By 12:5
1 Bassek. 12:241Sk 11:30, 31
1 Bassek. 12:251Sk 12:1
1 Bassek. 12:25Lub 32:30; Bal 8:13, 17
1 Bassek. 12:261Sk 11:38
1 Bassek. 12:27Ma 12:5, 6
1 Bassek. 12:28Kuv 20:4; 2Sk 10:29
1 Bassek. 12:28Kuv 32:4, 8; 2By 11:15, 16
1 Bassek. 12:29Lub 12:8, 9; 28:19
1 Bassek. 12:29Lub 14:14; Ma 34:1; Bal 18:29; 20:1
1 Bassek. 12:302Sk 10:31; 17:21-23
1 Bassek. 12:31Kbl 3:10; 1Sk 13:33; 2By 11:14; 13:9
1 Bassek. 12:32Lev 23:34
1 Bassek. 12:32Am 7:13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Bassekabaka 12:1-33

1 Bassekabaka

12 Lekobowaamu yagenda e Sekemu, olw’okuba Abayisirayiri bonna baali bagenze e Sekemu+ okumufuula kabaka.+ 2 Yerobowaamu mutabani wa Nebati olwakiwulira (yali akyali mu Misiri kubanga yali adduse Kabaka Sulemaani),+ 3 ne bamutumya. Oluvannyuma Yerobowaamu n’ekibiina kya Isirayiri kyonna bajja eri Lekobowaamu ne bamugamba nti: 4 “Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito,+ naye singa ggwe otuwewulira ku mirimu gya kitaawo emizibu ne ku kikoligo ekizito* kye yatuteekako, tujja kukuweerezanga.”

5 N’abagamba nti: “Mugende, mujja kukomawo gye ndi oluvannyuma lw’ennaku ssatu.” Abantu ne bagenda.+ 6 Awo Kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku basajja abakadde abaaweerezanga Sulemaani kitaawe ng’akyali mulamu, n’abagamba nti: “Mumpa magezi ki? Abantu bano mbaddemu ki?” 7 Ne bamuddamu nti: “Bw’onoobeera omuweereza w’abantu abo olwa leero, n’obakolera kye bakusabye, era n’obagamba ebigambo ebirungi, banaabanga baweereza bo bulijjo.”

8 Kyokka yaleka amagezi abasajja abakadde ge baamuwa ne yeebuuza ku bavubuka abaakula naye, abaali abaweereza be mu kiseera ekyo.+ 9 Yababuuza nti: “Mumpa magezi ki? Tuddemu tutya abantu bano abaŋŋambye nti, ‘Wewula ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako’?” 10 Abavubuka abaakula naye ne bamuddamu nti: “Abantu abo abaakugambye nti, ‘Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito, naye ggwe kituwewulireko,’ bagambe nti, ‘Akagalo kange aka nnasswi kajja kuba kanene okusinga ekiwato kya kitange. 11 Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze nja kukyongerako. Kitange yabakubisanga mbooko eza bulijjo naye nze nja kubakubisa embooko eziriko obufumita.’”

12 Awo Yerobowaamu n’abantu bonna ne bakomawo eri Lekobowaamu ku lunaku olw’okusatu nga kabaka bwe yali abagambye nti: “Mukomeewo gye ndi ku lunaku olw’okusatu.”+ 13 Naye kabaka n’addamu abantu n’obukambwe, n’aleka amagezi agaamuweebwa abasajja abakadde. 14 Yayogera nabo ng’akolera ku magezi agaamuweebwa abavubuka, n’agamba nti: “Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze nja kukyongerako. Kitange yabakubisanga mbooko eza bulijjo naye nze nja kubakubisa embooko eziriko obufumita.” 15 Bw’atyo Kabaka n’atawuliriza bantu, kubanga Yakuwa ye yakireetera okuba bwe kityo,+ alyoke atuukirize ekigambo Yakuwa kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayitira mu Akiya+ Omusiiro.

16 Abayisirayiri bonna bwe baalaba nga kabaka tabawulirizza, ne bamugamba nti: “Tulina mugabo ki mu Dawudi? Tetulina busika mu mutabani wa Yese. Buli muntu agende eri bakatonda be, ggwe Isirayiri. Fa ku nnyumba yo ggwe Dawudi!” Awo Abayisirayiri bonna ne baddayo ewaabwe.*+ 17 Naye Lekobowaamu yeeyongera okufuga Abayisirayiri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda.+

18 Awo Kabaka Lekobowaamu n’atuma eri Abayisirayiri Adolaamu+ eyakuliranga abaakozesebwanga emirimu egy’obuddu, naye Abayisirayiri bonna ne bamukuba amayinja n’afa. Kyokka Kabaka Lekobowaamu yasobola okulinnya eggaali lye n’addukira e Yerusaalemi.+ 19 Bwe batyo Abayisirayiri ne bajeemera+ ennyumba ya Dawudi n’okutuusa leero.

20 Isirayiri yonna olwawulira nti Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumya okujja eri ekibiina, ne bamufuula kabaka wa Isirayiri yonna.+ Tewali muntu eyagoberera ennyumba ya Dawudi okuggyako ekika kya Yuda kyokka.+

21 Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, amangu ago n’akuŋŋaanya ab’ennyumba yonna eya Yuda n’ab’ekika kya Benyamini, abasajja 180,000 abalwanyi abatendeke,* balwanyise Isirayiri, bakomyewo obwakabaka eri Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani.+ 22 Awo Katonda ow’amazima n’agamba Semaaya+ omusajja wa Katonda ow’amazima nti: 23 “Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda, n’ab’ennyumba ya Yuda bonna n’eya Benyamini, n’abantu abalala bonna nti, 24 ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Temugenda kulwanyisa baganda bammwe Abayisirayiri. Buli omu addeyo mu nnyumba ye, kubanga ekyo nze nnakireetedde okuba bwe kityo.”’”+ Ne bagondera ekigambo kya Yakuwa ne baddayo ewaabwe nga Yakuwa bwe yabalagira.

25 Yerobowaamu yanyweza Sekemu+ mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi n’abeera eyo. Oluvannyuma yava eyo n’anyweza Penuweri.+ 26 Awo Yerobowaamu n’agamba mu mutima gwe nti: “Kaakano obwakabaka bujja kuddayo mu nnyumba ya Dawudi.+ 27 Abantu bano bwe baneeyongera okugenda okuwaayo ssaddaaka mu nnyumba ya Yakuwa e Yerusaalemi,+ omutima gwabwe gujja kukyuka gudde eri mukama waabwe Lekobowaamu kabaka wa Yuda. Bajja kunzita baddeyo eri Lekobowaamu kabaka wa Yuda.” 28 Awo kabaka ne yeebuuza ku abo abaamuwanga amagezi n’akola ennyana bbiri eza zzaabu,+ n’agamba abantu nti: “Mukaluubirirwa nnyo okwambuka e Yerusaalemi. Ggwe Isirayiri, ono ye Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri.”+ 29 Ennyana emu yagiteeka mu Beseri,+ endala n’agiteeka mu Ddaani.+ 30 Ekyo kyabaleetera okwonoona,+ era abantu baagenda ne batuuka n’e Ddaani okusinza ennyana eyali eyo.

31 Yazimba ennyumba ez’okusinzizaamu ku bifo ebigulumivu era n’alonda bakabona mu bantu abataali Baleevi.+ 32 Ate era Yerobowaamu yassaawo embaga mu mwezi ogw’omunaana ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano, ng’eringa embaga eyabanga mu Yuda.+ Ku kyoto kye yazimba e Beseri,+ yaweerangako ssaddaaka eri ennyana ze yakola, era e Beseri yassaawo bakabona okuweererezanga ku bifo ebigulumivu bye yakola. 33 Ate era yatandika okuwangayo ebiweebwayo ku kyoto kye yali azimbye e Beseri ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omunaana, omwezi gwe yeerondera; yateerawo abantu ba Isirayiri embaga, era yagenda ku kyoto okuwaayo ebiweebwayo era n’anyookereza n’omukka gwa ssaddaaka.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share