LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Samwiri 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Samwiri ayitibwa okuba nnabbi (1-21)

1 Samwiri 3:1

Marginal References

  • +1Sa 2:11, 18
  • +Kbl 12:6; 1By 17:15

1 Samwiri 3:2

Marginal References

  • +1Sa 4:15

1 Samwiri 3:3

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, weema entukuvu.

Marginal References

  • +Lev 24:2
  • +1Sa 1:9; 3:15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2005, lup. 29-30

1 Samwiri 3:5

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 64

1 Samwiri 3:7

Marginal References

  • +Am 3:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2003, lup. 8

1 Samwiri 3:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2018, lup. 24

1 Samwiri 3:10

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 64

1 Samwiri 3:11

Marginal References

  • +1Sa 4:17

1 Samwiri 3:12

Marginal References

  • +Kbl 23:19; 1Sa 2:31-34; Is 55:10, 11

1 Samwiri 3:13

Marginal References

  • +1Sa 2:22, 23; Yok 15:22; Yak 4:17
  • +Kbl 15:30; 1Sa 2:12, 17
  • +Mub 8:11

1 Samwiri 3:14

Marginal References

  • +1Sa 4:11; 22:21; 1Sk 2:27

1 Samwiri 3:19

Footnotes

  • *

    Obut., “kugwa ku nsi.”

Marginal References

  • +1Sa 2:21

1 Samwiri 3:21

Marginal References

  • +1Sa 3:1, 4; Zb 99:6

General

1 Sam. 3:11Sa 2:11, 18
1 Sam. 3:1Kbl 12:6; 1By 17:15
1 Sam. 3:21Sa 4:15
1 Sam. 3:3Lev 24:2
1 Sam. 3:31Sa 1:9; 3:15
1 Sam. 3:7Am 3:7
1 Sam. 3:111Sa 4:17
1 Sam. 3:12Kbl 23:19; 1Sa 2:31-34; Is 55:10, 11
1 Sam. 3:131Sa 2:22, 23; Yok 15:22; Yak 4:17
1 Sam. 3:13Kbl 15:30; 1Sa 2:12, 17
1 Sam. 3:13Mub 8:11
1 Sam. 3:141Sa 4:11; 22:21; 1Sk 2:27
1 Sam. 3:191Sa 2:21
1 Sam. 3:211Sa 3:1, 4; Zb 99:6
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Samwiri 3:1-21

1 Samwiri

3 Mu kiseera ekyo, omwana Samwiri yali aweereza+ Yakuwa mu maaso ga Eli, naye mu nnaku ezo ekigambo kya Yakuwa kyali kya bbalirirwe; okwolesebwa+ tekwali kungi.

2 Amaaso ga Eli gaali gayimbadde nga takyalaba.+ Lwali lumu bwe yali ng’agalamidde mu kisenge kye, 3 ng’ettaala ya Katonda+ tennazikizibwa, kino ne kibaawo: Samwiri bwe yali agalamidde mu yeekaalu*+ ya Yakuwa omwali Essanduuko ya Katonda, 4 Yakuwa n’ayita Samwiri. Samwiri n’addamu nti: “Wangi!” 5 Awo n’adduka n’agenda eri Eli n’amugamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Naye n’amuddamu nti “Sikuyise. Ddayo weebake.” N’addayo ne yeebaka. 6 Yakuwa n’addamu n’amuyita nti: “Samwiri!” Awo Samwiri n’ayimuka n’agenda eri Eli n’amugamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Naye n’amuddamu nti: “Sikuyise mwana wange. Ddayo weebake.” 7 (Samwiri yali tannamanya bulungi Yakuwa, era n’ekigambo kya Yakuwa kyali tekinnamubikkulirwa.)+ 8 Awo Yakuwa n’amuyita omulundi ogw’okusatu nti: “Samwiri!” Samwiri n’ayimuka n’agenda eri Eli n’amugamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.”

Awo Eli n’akitegeera nti Yakuwa ye yali ayita omwana oyo. 9 Eli n’agamba Samwiri nti: “Genda weebake; bw’anaddamu okukuyita, ddamu nti, ‘Yogera Yakuwa, kubanga omuweereza wo awulira.’” Samwiri n’agenda ne yeebaka mu kifo kye.

10 Yakuwa n’addamu n’akoowoola nti: “Samwiri, Samwiri!” Samwiri n’addamu nti: “Yogera, kubanga omuweereza wo awulira.” 11 Yakuwa n’agamba Samwiri nti: “Laba! Ŋŋenda kukola ekintu mu Isirayiri ekinaawaawaaza amatu gombi ag’oyo yenna anaakiwulira.+ 12 Ku lunaku olwo nja kutuukiriza ku Eli ebyo byonna bye nnayogera ku nnyumba ye, okuva ku kisooka okutuuka ku kisembayo.+ 13 Ate era mugambe nti ennyumba ye ŋŋenda kugibonereza emirembe gyonna olw’ensobi gy’amanyi,+ olw’okuba batabani be bakolimira Katonda,+ naye tabakangavvudde.+ 14 Eyo ye nsonga lwaki ndayiridde ab’ennyumba ya Eli nti ensobi yaabwe teritangirirwa na ssaddaaka wadde ebiweebwayo.”+

15 Samwiri ne yeebaka okutuusa ku makya, oluvannyuma n’aggulawo enzigi z’ennyumba ya Yakuwa. Samwiri yali atya okubuulira Eli ebyo bye yali ayoleseddwa. 16 Naye Eli n’ayita Samwiri nti: “Samwiri mwana wange!” Samwiri n’amuddamu nti: “Nzuuno.” 17 N’amubuuza nti: “Kiki kye yakugambye? Nkwegayiridde tokinkisa. Katonda akubonereze era ayongere ku kibonerezo kyo singa onkisa ekigambo kyonna ku ebyo byonna bye yakugambye.” 18 Awo Samwiri n’amubuulira byonna, era n’atamukisa kintu kyonna. Eli n’agamba nti: “Ye Yakuwa. K’akole ekyo ky’alaba nga kye kirungi mu maaso ge.”

19 Samwiri yeeyongera okukula era Yakuwa yali naye,+ era teyaganya kigambo kye kyonna butatuukirira.* 20 Abayisirayiri bonna okuva e Ddaani okutuuka e Beeru-seba baakitegeera nti Samwiri yali akakasiddwa okuba nnabbi wa Yakuwa. 21 Yakuwa yeeyongera okulabika mu Siiro, kubanga e Siiro Yakuwa gye yeeyolekeranga eri Samwiri okuyitira mu kigambo kya Yakuwa.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share