Koseya
1 Ekigambo kya Yakuwa ekyajjira Koseya* mutabani wa Beeri mu kiseera kya Uzziya,+ Yosamu,+ Akazi,+ ne Keezeekiya,+ bakabaka ba Yuda,+ ne mu kiseera kya Yerobowaamu+ mutabani wa Yowaasi,+ kabaka wa Isirayiri. 2 Yakuwa bwe yatandika okutegeeza ekigambo kye ng’ayitira mu Koseya, Yakuwa yagamba Koseya nti: “Genda owase omukazi ajja okukola obwamalaaya* era ojja kufuna abaana abazaaliddwa mu bwamalaaya, kubanga olw’obwenzi, ensi eno eviiridde ddala ku Yakuwa.”+
3 Awo n’agenda n’awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu, Gomeri n’aba olubuto, n’amuzaalira omwana ow’obulenzi.
4 Awo Yakuwa n’agamba Koseya nti: “Mutuume Yezuleeri,* kubanga mu kiseera kitono ŋŋenda kuvunaana ennyumba ya Yeeku+ olw’ebikolwa bya Yezuleeri eby’okuyiwa omusaayi, era nja kuggyawo obwakabaka bwa Isirayiri.+ 5 Ku lunaku olwo nja kumenyera omutego gwa Isirayiri ogw’obusaale mu Kiwonvu ky’e Yezuleeri.”
6 Awo Gomeri n’aba olubuto nate, era n’azaala omwana ow’obuwala. Katonda n’agamba Koseya nti: “Mutuume Lolukama,* kubanga sijja kuddamu kusaasira+ nnyumba ya Isirayiri, era nja kubagoba.+ 7 Naye nja kusaasira ennyumba ya Yuda,+ era nze Yakuwa Katonda waabwe nja kubalokola;+ sijja kubalokola nga nkozesa mutego gwa busaale, oba kitala, oba lutalo, oba mbalaasi, oba abeebagala embalaasi.”+
8 Gomeri bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, n’addamu n’aba olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi. 9 Katonda n’agamba Koseya nti: “Mutuume Lo-ami,* kubanga temuli bantu bange, era nange siri Katonda wammwe.
10 “Kyokka abantu* ba Isirayiri baliba ng’omusenyu gw’ennyanja ogutasobola kupimibwa wadde okubalibwa.+ Era mu kifo gye baagambirwanga nti, ‘Temuli bantu bange,’+ baligambibwa nti, ‘Muli baana ba Katonda omulamu.’+ 11 Era abantu ba Yuda n’aba Isirayiri balikuŋŋaanyizibwa ne baba bumu,+ era balyerondera omukulembeze omu ne bava mu nsi eyo, kubanga olunaku lwa Yezuleeri+ luliba lukulu.