Koseya
3 Yakuwa era n’aŋŋamba nti: “Genda nate oyagale omukazi ayagalibwa omusajja omulala era ayenda,+ nga ne Yakuwa bw’ayagala abantu ba Isirayiri+ kyokka nga bo bagenda eri bakatonda abalala,+ era nga baagala okuwaayo gye bali ebitole by’ezzabbibu enkalu.”*
2 Awo ne ngula omukazi oyo ebitundu bya ffeeza 15 ne komeri* ya ssayiri emu n’ekitundu. 3 Ne mmugamba nti: “Ojja kubeera wange okumala ennaku nnyingi. Tokola bwamalaaya era teweegatta na musajja mulala, era nange sijja kwegatta naawe.”
4 Kubanga abantu ba Isirayiri bajja kumala ekiseera kiwanvu* nga tebalina kabaka,+ nga tebalina mwami, nga tebalina ssaddaaka, nga tebalina mpagi esinzibwa, nga tebalina efodi,+ era nga tebalina bifaananyi bya baterafi.*+ 5 Oluvannyuma abantu ba Isirayiri balikomawo ne banoonya Yakuwa Katonda waabwe+ ne Dawudi kabaka waabwe,+ era mu nnaku ezisembayo balijja eri Yakuwa n’eri obulungi bwe nga bakankana.+