LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zekkaliya 12
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yakuwa ajja kulwanirira Yuda ne Yerusaalemi (1-9)

        • Yerusaalemi, ‘ejjinja erizitowa’ (3)

      • Okukaabira oyo eyafumitibwa (10-14)

Zekkaliya 12:1

Footnotes

  • *

    Obut., “omwoyo.”

Marginal References

  • +Yob 26:7; Is 42:5
  • +Zb 102:25; Is 45:18

Zekkaliya 12:2

Footnotes

  • *

    Oba, “ekibya.”

Marginal References

  • +Zek 14:14

Zekkaliya 12:3

Marginal References

  • +Zef 3:19
  • +Zek 14:2, 3

Zekkaliya 12:5

Marginal References

  • +Is 41:10; Yow. 3:16; Zek 12:8

Zekkaliya 12:6

Footnotes

  • *

    Oba, “mu kifo kyabwe ekituufu.”

Marginal References

  • +Is 41:15
  • +Mi 4:13; Zek 9:15
  • +Zek 2:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2007, lup. 19

Zekkaliya 12:7

Footnotes

  • *

    Obut., “obulungi.”

Zekkaliya 12:8

Footnotes

  • *

    Obut., “oyo eyeesittala.”

Marginal References

  • +Yer 23:6; Yow. 3:16; Zek 2:5; 9:15
  • +Kuv 14:19; 23:20

Zekkaliya 12:9

Marginal References

  • +Is 54:17; Kag 2:22

Zekkaliya 12:10

Marginal References

  • +Yok 19:34, 37; 20:27; Kub 1:7

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 15

    Yesu—Ekkubo, lup. 303

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2011, lup. 16

Zekkaliya 12:11

Marginal References

  • +2Sk 23:29; 2By 35:22

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2007, lup. 18

Zekkaliya 12:12

Marginal References

  • +2Sa 5:13, 14; Luk 3:23, 31

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    5/2019, lup. 30-31

Zekkaliya 12:13

Marginal References

  • +Kuv 6:16
  • +Kuv 6:17; 1By 23:10

General

Zek. 12:1Yob 26:7; Is 42:5
Zek. 12:1Zb 102:25; Is 45:18
Zek. 12:2Zek 14:14
Zek. 12:3Zef 3:19
Zek. 12:3Zek 14:2, 3
Zek. 12:5Is 41:10; Yow. 3:16; Zek 12:8
Zek. 12:6Is 41:15
Zek. 12:6Mi 4:13; Zek 9:15
Zek. 12:6Zek 2:4
Zek. 12:8Yer 23:6; Yow. 3:16; Zek 2:5; 9:15
Zek. 12:8Kuv 14:19; 23:20
Zek. 12:9Is 54:17; Kag 2:22
Zek. 12:10Yok 19:34, 37; 20:27; Kub 1:7
Zek. 12:112Sk 23:29; 2By 35:22
Zek. 12:122Sa 5:13, 14; Luk 3:23, 31
Zek. 12:13Kuv 6:16
Zek. 12:13Kuv 6:17; 1By 23:10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Zekkaliya 12:1-14

Zekkaliya

12 Ekirangiriro:

“Ekigambo kya Yakuwa ekikwata ku Isirayiri,”

Yakuwa eyabamba eggulu,+

Eyassaawo omusingi gw’ensi,+

Era eyakola omukka* oguli mu muntu, bw’ati bw’agamba:

2 “Laba, nfuula Yerusaalemi ekikopo* ekireetera amawanga gonna agakyetoolodde okutagala; era Yuda ne Yerusaalemi birizingizibwa.+ 3 Ku lunaku olwo ndifuula Yerusaalemi ejjinja eririzitoowerera amawanga gonna. Abo bonna abalirisitula balifuna ebisago eby’amaanyi,+ era amawanga gonna galikuŋŋaana okulwanyisa Yerusaalemi.”+ 4 Bw’ati Yakuwa bw’agamba, “Ku lunaku olwo ndireetera embalaasi zonna okusoberwa, era n’abazeebagala okugwa eddalu; nditeeka amaaso gange ku nnyumba ya Yuda, era embalaasi zonna ez’amawanga ndiziziba amaaso. 5 Abaami ba Yuda baligamba mu mitima gyabwe nti: ‘Abantu b’omu Yerusaalemi ge maanyi gaffe agava eri Katonda waabwe, Yakuwa ow’eggye.’+ 6 Ku lunaku olwo abaami ba Yuda ndibafuula ng’omuliro ogukoleezeddwa mu kibira, era ndibafuula ng’omumuli ogwaka oguli mu binywa by’emmere ey’empeke;+ balyokya amawanga gonna agabaliraanye, ku mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono,+ era abantu b’omu Yerusaalemi balibeera mu kibuga kyabwe,* mu Yerusaalemi.+

7 “Yakuwa alisooka kulokola weema za Yuda, ekitiibwa* ky’ennyumba ya Dawudi n’eky’abantu b’omu Yerusaalemi kireme okusinga eky’abantu ba Yuda. 8 Ku lunaku olwo Yakuwa alikuuma abantu b’omu Yerusaalemi ng’engabo;+ oyo asingayo obunafu* mu bo aliba wa maanyi nga Dawudi ku lunaku olwo, era ennyumba ya Dawudi eriba ya maanyi nga Katonda, eriba nga malayika wa Yakuwa akulembera abantu.+ 9 Ku lunaku olwo ndizikiriza amawanga gonna agalumba Yerusaalemi.+

10 “Ndifuka omwoyo ogw’okusiimibwa n’ogw’okwegayirira ku nnyumba ya Dawudi ne ku bantu b’omu Yerusaalemi, era balitunuulira oyo gwe baafumita;+ balimukaabira ng’abakaabira omwana eyazaalibwa omu yekka, era balimukungubagira nnyo ng’abakungubagira omwana omubereberye. 11 Ku lunaku olwo balikuba ebiwoobe bingi mu Yerusaalemi ng’ebyo bye baakuba mu Kadadulimmoni mu kiwonvu ky’e Megiddo.+ 12 Ensi erikuba ebiwoobe, nga buli maka gabikuba gali gokka; amaka g’ennyumba ya Dawudi gokka, ne bakazi baabwe bokka; amaka g’ennyumba ya Nasani gokka,+ ne bakazi baabwe bokka; 13 amaka g’ennyumba ya Leevi gokka,+ ne bakazi baabwe bokka; amaka g’Abasimeeyi gokka, ne bakazi baabwe bokka;+ 14 amaka gonna agasigaddewo, buli maka gokka, ne bakazi baabwe bokka.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share