2 Samwiri
5 Nga wayiseewo ekiseera, ebika bya Isirayiri byonna byagenda eri Dawudi e Kebbulooni+ ne bimugamba nti: “Laba! Tuli ggumba lyo era tuli mubiri gwo.*+ 2 Mu kiseera Sawulo we yabeerera kabaka waffe, ggwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo zaayo;*+ era Yakuwa yakugamba nti: ‘Ojja kulunda abantu bange Isirayiri, era ojja kubeera mukulembeze wa Isirayiri.’”+ 3 Awo abakadde bonna aba Isirayiri ne bagenda eri kabaka e Kebbulooni, Kabaka Dawudi n’akola nabo endagaano+ e Kebbulooni mu maaso ga Yakuwa. Oluvannyuma ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri.+
4 Dawudi yalina emyaka 30 we yafuukira kabaka, era yafugira emyaka 40.+ 5 Yafuga Yuda okumala emyaka 7 n’emyezi 6 ng’ali mu Kebbulooni, era yafuga Isirayiri yonna ne Yuda okumala emyaka 33 ng’ali mu Yerusaalemi.+ 6 Awo kabaka n’abasajja be ne bagenda e Yerusaalemi okulwanyisa Abayebusi+ abaali babeerayo. Abayebusi ne basoomooza Dawudi nga bagamba nti: “Toliyingira muno, kubanga ne bamuzibe n’abalema balikugoba.” Abayebusi baali balowooza nti: ‘Dawudi taliyingira muno.’+ 7 Wadde kyali kityo, Dawudi yawamba ekigo kya Sayuuni, era ekyo kaakano kye Kibuga kya Dawudi.+ 8 Ku lunaku olwo Dawudi yagamba nti: “Abo abanaalumba Abayebusi bayite mu mukutu gw’amazzi, batte bamuzibe n’abalema Dawudi b’atayagala!” Awo we waava enjogera egamba nti: “Bamuzibe n’abalema tebaliyingira mu nnyumba.” 9 Dawudi n’atandika okubeera mu kigo, era ne kituumibwa* Ekibuga kya Dawudi; awo Dawudi n’atandika okuzimba okwetooloola wonna, okuviira ddala ku Kifunvu*+ okudda munda.+ 10 Bw’atyo Dawudi n’agenda nga yeeyongera okuba ow’amaanyi,+ era Yakuwa Katonda ow’eggye yali naye.+
11 Awo Kabaka Kiramu+ owa Ttuulo n’atuma ababaka eri Dawudi, era n’amuweereza n’embaawo z’entolokyo,+ n’ababazzi, n’abazimbi abazimbisa amayinja, ne batandika okuzimbira Dawudi ennyumba.*+ 12 Dawudi n’ategeera nti Yakuwa yali anywezezza obwakabaka bwe ku Isirayiri+ era nti yali agulumizza obwakabaka bwe+ ku lw’abantu be Isirayiri.+
13 Dawudi yeeyongera okufuna abakazi abalala n’abazaana+ mu Yerusaalemi ng’amaze okuva e Kebbulooni, era baamuzaalira abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala.+ 14 Gano ge mannya g’abaana be yazaalira mu Yerusaalemi: Sammuwa, Sobabu, Nasani,+ Sulemaani,+ 15 Ibukali, Eriswa, Nefegi, Yafiya, 16 Erisaama, Eriyada, ne Erifereti.
17 Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yali afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri,+ bonna ne bagenda okumunoonya.+ Dawudi bwe yakiwulira, n’agenda mu kifo ekizibu okutuukamu.+ 18 Abafirisuuti ne bagenda ne babuna mu Kiwonvu ky’Abaleefa.+ 19 Dawudi ne yeebuuza ku Yakuwa+ ng’agamba nti: “Ŋŋende nnwanyise Abafirisuuti? Onoobawaayo mu mukono gwange?” Yakuwa n’agamba Dawudi nti: “Genda, kubanga nja kuwaayo Abafirisuuti mu mukono gwo.”+ 20 Dawudi n’agenda e Bbaali-perazimu n’abalwanyisa n’abatta. N’agamba nti: “Yakuwa ankulembeddemu n’awaguza mu balabe bange+ ng’amazzi bwe gawaguza.” Eyo ye nsonga lwaki ekifo ekyo yakituuma Bbaali-perazimu.*+ 21 Abafirisuuti ne baleka eyo ebifaananyi byabwe ebisinzibwa, Dawudi n’abasajja be ne babitwala.
22 Oluvannyuma Abafirisuuti baddayo ne babuna mu Kiwonvu ky’Abaleefa.+ 23 Dawudi ne yeebuuza ku Yakuwa, naye n’amugamba nti: “Tobalumba butereevu, wabula weetooloole obave emabega obalumbire mu maaso g’obuti bwa bbaka. 24 Bw’onoowulira mu masanso g’obuti bwa bbaka omusinde gw’abatambula, ositukiramu n’obaako ky’okolawo, kubanga Yakuwa ajja kuba akukulembeddemu okutta eggye ly’Abafirisuuti.” 25 Dawudi n’akola nga Yakuwa bwe yamulagira, n’atta Abafirisuuti+ okuva e Geba+ okutuukira ddala e Gezeri.+