Amosi
1 Ebigambo bya Amosi,* eyali omu ku balunzi b’endiga ab’omu Tekowa,+ ebikwata ku Isirayiri ebyamutegeezebwa mu kwolesebwa, mu kiseera kya Uzziya+ kabaka wa Yuda ne mu kiseera kya Yerobowaamu+ mutabani wa Yowaasi,+ kabaka wa Isirayiri, ng’ebula emyaka ebiri wabeewo musisi.+ 2 Yagamba nti:
“Yakuwa aliwuluguma ng’ayima mu Sayuuni,
Era aliyimusa eddoboozi lye ng’ayima mu Yerusaalemi.
Amalundiro g’abasumba galikungubaga,
N’omuddo oguli ku ntikko ya Kalumeeri gulikala.”+
3 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘“Olwa Ddamasiko okujeema emirundi esatu, n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa;
Kubanga baawuula Gireyaadi n’ebiwuula eby’ekyuma.+
5 Ndimenya ebisiba enzigi za Ddamasiko;+
Ndizikiriza ababeera mu Bikasu-aveni
N’oyo afuga* mu Besu-edeni;
Abantu b’omu Busuuli baligenda mu buwaŋŋanguse e Kiri,”+ Yakuwa bw’agamba.’
6 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘“Olwa Gaaza okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa;
Kubanga baawaayo eri Edomu abantu bonna be baawamba.+
7 Kyendiva nsindika omuliro ku bbugwe wa Gaaza,+
Era gulyokya eminaala gyakyo.
8 Ndizikiriza ababeera mu Asudodi,+
Era n’oyo afuga* mu Asukulooni;+
Omukono gwange gulibonereza Ekulooni,+
Era Abafirisuuti abasigaddewo balisaanawo,”+ Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba.’
9 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘Olwa Ttuulo okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa;
Kubanga baawaayo eri Edomu abantu bonna be baawamba,
Era tebajjukira ndagaano ya ba luganda.+
10 Kyendiva nsindika omuliro ku bbugwe wa Ttuulo,
Era gulyokya eminaala gyakyo.’+
11 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘Olwa Edomu okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa,
Kubanga yagoba muganda we n’ekitala,+
Era yagaana okumusaasira;
Mu busungu bwe abayuzaayuza obutaddirira,
Era asigala abasunguwalidde ebbanga lyonna.+
13 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘“Olw’Abaamoni okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa,
Kubanga baabaaga abakazi b’omu Gireyaadi abaali embuto, basobole okugaziya ensi yaabwe.+
14 Kyendiva nkoleeza omuliro ku bbugwe wa Labba,+
Era gulyokya eminaala gyakyo.
Walibaawo okulaya enduulu z’olutalo ku lunaku olw’olutalo,
Ne kibuyaga ow’amaanyi ku lunaku olw’omuyaga.
15 Kabaka waabwe aligenda mu buwaŋŋanguse awamu n’abaami be,”+ Yakuwa bw’agamba.’