Amosi
7 Kino Yakuwa Mukama Afuga Byonna kye yandaga: Laba! Yasindika ekibinja ky’enzige ng’ebirime ebisigibwa oluvannyuma* bitandika okumera. Byali birime ebisigibwa oluvannyuma, ng’ebisubi bya kabaka bimaze okusalibwa. 2 Ekibinja ky’enzige bwe kyamala okulya ebimera eby’omu nsi, ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, nkwegayiridde sonyiwa!+ Yakobo anaayinza atya okuwonawo?* Kubanga munafu!”+
3 Awo Yakuwa n’akyusa mu ekyo kye yali asazeewo,*+ era Yakuwa n’agamba nti: “Tekijja kubaawo.”
4 Kino Yakuwa Mukama Afuga Byonna kye yandaga: Laba! Yakuwa Mukama Afuga Byonna yalagira wabeewo okubonereza nga kwa muliro. Gwasaanyaawo obuziba era n’ekitundu ky’ensi eyo. 5 Awo ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, nkwegayiridde tokikola.+ Yakobo anaayinza atya okuwonawo?* Kubanga munafu!”+
6 Awo Yakuwa n’akyusa mu ekyo kye yali asazeewo,*+ era Yakuwa Mukama Afuga Byonna n’agamba nti: “Ekyo nakyo tekijja kubaawo.”
7 Ate era yandaga na kino: Laba! Yakuwa yali ayimiridde ku kisenge kye baazimba nga bakozesa bbirigi, era yali akutte bbirigi mu ngalo ze. 8 Awo Yakuwa n’ambuuza nti: “Amosi, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Bbirigi.” Yakuwa n’agamba nti: “Laba, nteeka bbirigi mu bantu bange, Isirayiri. Siribasonyiwa nate.+ 9 Ebifo bya Isaaka ebigulumivu+ birifuuka matongo, era ebifo bya Isirayiri ebitukuvu birizikirizibwa;+ era ndirumba ennyumba ya Yerobowaamu n’ekitala.”+
10 Awo Amaziya kabona w’e Beseri+ n’aweereza Yerobowaamu+ kabaka wa Isirayiri obubaka buno: “Amosi akwekobedde munda mu nnyumba ya Isirayiri.+ Abantu b’omu nsi tebasobola kugumiikiriza bigambo bye byonna.+ 11 Kubanga bw’ati Amosi bw’agamba, ‘Yerobowaamu ajja kuttibwa n’ekitala, era Isirayiri ejja kuggibwa mu nsi yaayo etwalibwe mu buwaŋŋanguse.’”+
12 Awo Amaziya n’agamba Amosi nti: “Ggwe omulabi, genda, dduka ogende mu nsi ya Yuda, eyo gy’oba ofuna emmere,* era eyo gy’oba olangiririra obunnabbi.+ 13 Naye toddamu kulangirira bunnabbi mu Beseri,+ kubanga kye kifo kya kabaka ekitukuvu,+ era ye nnyumba y’obwakabaka.”
14 Awo Amosi n’agamba Amaziya nti: “Saali nnabbi era saali mwana wa nnabbi; nnali musumba+ era nga ndabirira n’emiti gy’emisukamooli.* 15 Naye Yakuwa yanzigya ku gw’okulunda endiga, era Yakuwa yaŋŋamba nti, ‘Genda olangirire obunnabbi eri abantu bange Isirayiri.’+ 16 Kale kaakano wulira ekigambo kya Yakuwa, ‘Ogamba nti: “Tolangirira bintu bibi ku Isirayiri,+ era toyogera+ bibi ku nnyumba ya Isaaka.” 17 Bw’ati Yakuwa bw’agamba nti: “Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga, era batabani bo ne bawala bo balittibwa n’ekitala. Ettaka lyo baliripima n’omuguwa ogupima ne baligabana, era olifiira mu nsi etali nnoongoofu; ne Isirayiri eriggibwa mu nsi yaayo n’etwalibwa mu buwaŋŋanguse.”’”+