Isaaya
18 Zisanze ensi erimu ebiwuka ebirina ebiwaawaatiro ebivuuma
Eri mu kitundu ky’emigga gya Esiyopiya!+
2 Etuma ababaka okuyita ku nnyanja,
Bayite ku mazzi nga bali mu maato ag’ebitoogo, ng’egamba nti:
“Mugende mmwe ababaka abadduka ennyo,
Eri eggwanga ery’abantu abawanvu era abalina ensusu empeweevu,*
Eri abantu abatiibwa buli wamu,+
Eri eggwanga ery’amaanyi era eriwanguzi,
Eririna ensi ekuluggusibwa emigga.”
3 Mmwe mmwenna abantu b’omu nsi eyo nammwe ababeera ku nsi,
Kye mulaba kiriba ng’akabonero* akawanikiddwa ku nsozi,
Era muliwulira eddoboozi eriringa ery’eŋŋombe efuuyibwa.
4 Bw’ati Yakuwa bwe yaŋŋamba:
“Ndisirika ne ntunuulira ekifo kyange,*
Okufaananako ebbugumu ery’akasana,
Okufaananako omusulo ogugwa mu bbugumu ery’amakungula.
5 Ng’amakungula tegannatandika,
Ng’okumulisa kuwedde era ng’ebimuli bifuuse ezzabbibu ennyengevu,
Amatabi galisalwako n’ebiwabyo
Era amatabi agalanda galitemebwa ne gaggibwako.
6 Gonna galirekerwa ebinyonyi by’omu nsozi ebirya ennyama
N’ensolo ez’omu nsi.
Ebinyonyi ebirya ennyama birimalako ekiseera eky’omusana nga biri okwo,
N’ensolo zonna ez’omu nsi zirimalako ekiseera eky’amakungula nga ziri okwo.
7 Mu kiseera ekyo ekirabo kirireetebwa eri Yakuwa ow’eggye,
Okuva eri eggwanga ery’abantu abawanvu era abalina ensusu empeweevu,*
Okuva eri abantu abatiibwa buli wamu,
Okuva eri eggwanga ery’amaanyi era eriwanguzi,
Eririna ensi ekuluggusibwa emigga;
Kirireetebwa mu kifo ekiyitibwa erinnya lya Yakuwa ow’eggye, Olusozi Sayuuni.”+