LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • 2 Timoseewo 4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • “Tuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwo” (1-5)

        • Buulira ekigambo n’obunyiikivu (2)

      • “Nnwanye olutalo olulungi” (6-8)

      • Ayogera ebimukwatako (9-18)

      • Okulamusa (19-22)

2 Timoseewo 4:1

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yok 5:22; Bik 17:31; 2Ko 5:10
  • +Yok 5:28, 29; Bik 10:42
  • +1Ti 6:14, 15; 1Pe 5:4
  • +Kub 11:15; 12:10

2 Timoseewo 4:2

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Ti 2:15
  • +1Ti 5:20; Tit 1:7, 9, 13; 2:15
  • +2Ti 2:24, 25

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 165

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2012, lup. 15-16

    1/15/2008, lup. 8-9

    4/1/1999, lup. 8

    Ssomero ly’Omulimu, lup. 266

    Obuweereza bw’Obwakabaka,

    2/2000, lup. 1

2 Timoseewo 4:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ti 1:9, 10
  • +1Ti 4:1

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2012, lup. 15-16

    7/1/2005, lup. 5-6

2 Timoseewo 4:4

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2011, lup. 17

    10/1/2002, lup. 15-16

2 Timoseewo 4:5

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “weeyongere okubuulira amawulire amalungi.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Ti 1:8; 2:3
  • +Bar 15:19; Bak 1:25

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    4/2019, lup. 2-7

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/15/2009, lup. 16-17

    4/1/2004, lup. 12-13, 17

2 Timoseewo 4:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kbl 28:6, 7
  • +Baf 1:23

2 Timoseewo 4:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 9:26; 1Ti 6:12
  • +Baf 3:14

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1999, lup. 27

2 Timoseewo 4:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 9:25; Yak 1:12
  • +Yok 5:22
  • +1Pe 5:4; Kub 2:10

2 Timoseewo 4:9

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2015, lup. 15

    6/1/2004, lup. 17-18

2 Timoseewo 4:10

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “by’enteekateeka y’ebintu eno.” Laba Awanny.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bak 4:14; Fir 23, 24

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2018, lup. 10-11

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/15/2015, lup. 16

2 Timoseewo 4:11

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2010, lup. 8-9

2 Timoseewo 4:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bef 6:21; Bak 4:7

2 Timoseewo 4:13

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2011, lup. 18-19

    9/15/2008, lup. 31

    5/15/2008, lup. 22

2 Timoseewo 4:14

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 28:4; 62:12; Nge 24:12

2 Timoseewo 4:16

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2015, lup. 24-25

2 Timoseewo 4:17

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 9:15
  • +Zb 22:21

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2015, lup. 24-26, 28

2 Timoseewo 4:18

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 20:4

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2015, lup. 25

2 Timoseewo 4:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 16:3
  • +2Ti 1:16

2 Timoseewo 4:20

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 19:22
  • +Bik 21:29

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2015, lup. 25

2 Timoseewo 4:22

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2012, lup. 12-13

    10/1/1994, lup. 11

Ebirala

2 Tim. 4:1Yok 5:22; Bik 17:31; 2Ko 5:10
2 Tim. 4:1Yok 5:28, 29; Bik 10:42
2 Tim. 4:11Ti 6:14, 15; 1Pe 5:4
2 Tim. 4:1Kub 11:15; 12:10
2 Tim. 4:22Ti 2:15
2 Tim. 4:21Ti 5:20; Tit 1:7, 9, 13; 2:15
2 Tim. 4:22Ti 2:24, 25
2 Tim. 4:31Ti 1:9, 10
2 Tim. 4:31Ti 4:1
2 Tim. 4:52Ti 1:8; 2:3
2 Tim. 4:5Bar 15:19; Bak 1:25
2 Tim. 4:6Kbl 28:6, 7
2 Tim. 4:6Baf 1:23
2 Tim. 4:71Ko 9:26; 1Ti 6:12
2 Tim. 4:7Baf 3:14
2 Tim. 4:81Ko 9:25; Yak 1:12
2 Tim. 4:8Yok 5:22
2 Tim. 4:81Pe 5:4; Kub 2:10
2 Tim. 4:10Bak 4:14; Fir 23, 24
2 Tim. 4:12Bef 6:21; Bak 4:7
2 Tim. 4:14Zb 28:4; 62:12; Nge 24:12
2 Tim. 4:17Bik 9:15
2 Tim. 4:17Zb 22:21
2 Tim. 4:18Kub 20:4
2 Tim. 4:19Bar 16:3
2 Tim. 4:192Ti 1:16
2 Tim. 4:20Bik 19:22
2 Tim. 4:20Bik 21:29
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Timoseewo 4:1-22

2 Timoseewo

4 Nkukuutira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu aliramula+ abalamu n’abafu+ bw’alirabisibwa+ era bw’alijja mu Bwakabaka bwe:+ 2 Buuliranga ekigambo;+ kibuulire n’obunyiikivu mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu; nenyanga,+ labulanga, buuliriranga, ng’olaga obugumiikiriza era ng’oyigiriza mu ngeri ennungi.+ 3 Kubanga ekiseera kijja abantu lwe bataligumiikiriza kuyigiriza okw’omuganyulo,+ naye nga bagoberera okwegomba kwabwe, balyekuŋŋaanyiza abayigiriza abalibabuulira ebyo bye baagala okuwulira.+ 4 Baligaana okuwuliriza amazima ne bawuliriza ebintu eby’obulimba. 5 Naye ggwe, beera ng’otegeera bulungi mu bintu byonna, gumira ebizibu,+ kola omulimu gw’omubuulizi w’enjiri,* tuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwo.+ 

6 Kaakano nfukibwa ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa,+ era ekiseera eky’okuteebwa kwange+ kinaatera okutuuka. 7 Nnwanye olutalo olulungi,+ embiro nzimalirizza,+ okukkiriza nkukuumye. 8 Okuva mu kiseera kino, nterekeddwa engule ey’obutuukirivu+ Mukama waffe omulamuzi omutuukirivu+ gy’alimpa ng’empeera ku lunaku luli,+ naye si nze nzekka wabula n’abo bonna abaagala okulabisibwa kwe.

9 Fuba nnyo okujja gye ndi mu bwangu. 10 Dema+ yandekawo olw’okuba yayagala ebintu by’ensi eno,* era yagenda Ssessalonika; Kulesuke yagenda Ggalatiya, ate Tito yagenda Dalumatiya. 11 Lukka yekka y’ali nange. Jjangu ne Makko kubanga wa mugaso nnyo gye ndi mu buweereza. 12 Naye Tukiko+ nnamutuma Efeso. 13 Bw’obanga ojja ondeeteranga ekyambalo kye nnaleka mu Tulowa ewa Kappo era oleetanga n’emizingo, naddala egy’amaliba.

14 Alekizanda omuweesi w’ekikomo yampisa bubi nnyo. Yakuwa* ajja kumusasula okusinziira ku bikolwa bye.+ 15 Naawe mwekuume kubanga yaziyiza nnyo obubaka bwaffe.

16 Mu kwewozaako kwange okwasooka tewali n’omu yali nange, bonna banjabulira—ekyo ka kireme kubavunaanibwa. 17 Naye Mukama waffe yali kumpi nange n’ampa amaanyi nsobole okubuulira mu bujjuvu amawulire amalungi, amawanga gonna gasobole okugawulira;+ era nnawonyezebwa okuva mu kamwa k’empologoma.+ 18 Mukama waffe ajja kumponya ebintu ebibi byonna era ajja kundokola antwale mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu.+ Aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

19 Nnamusiza Pulisika ne Akula+ awamu n’ab’ennyumba ya Onesifolo.+

20 Erasuto+ yasigala mu Kkolinso, naye Tulofiimo+ nnamuleka Mireeto nga mulwadde. 21 Fuba nnyo okujja ng’ekiseera eky’obutiti tekinnatuuka.

Ewubulo ne Pudene ne Liino ne Kulawudiya awamu n’ab’oluganda bonna bakulamusizza.

22 Mukama waffe abeere n’omwoyo gw’olaga. Ekisa kye eky’ensusso kibeere nammwe.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza