LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • 1 Abassessalonika 1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Okulamusa (1)

      • Pawulo yeebaza Katonda olw’okukkiriza kw’Abassessalonika (2-10)

1 Abassessalonika 1:1

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Era ayitibwa Siira.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 15:22; 1Pe 5:12
  • +Bik 16:1, 2

1 Abassessalonika 1:2

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Se 1:11, 12

1 Abassessalonika 1:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Pe 1:3, 4

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Obuweereza bw’Obwakabaka,

    2/2000, lup. 4

1 Abassessalonika 1:5

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Ssomero ly’Omulimu, lup. 194

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/2000, lup. 27

    Obuweereza bw’Obwakabaka,

    2/2000, lup. 3-4

1 Abassessalonika 1:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 11:1; Baf 3:17; 2Se 3:9
  • +1Pe 2:21
  • +1Se 2:14

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Obuweereza bw’Obwakabaka,

    2/2000, lup. 3-4

1 Abassessalonika 1:8

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Se 1:4

1 Abassessalonika 1:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 10:14; 12:2; Bag 4:8; 1Yo 5:21

1 Abassessalonika 1:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 1:10, 11; Tit 2:13
  • +1Se 5:2; 2Pe 3:12

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2010, lup. 13

Ebirala

1 Bas. 1:1Bik 15:22; 1Pe 5:12
1 Bas. 1:1Bik 16:1, 2
1 Bas. 1:22Se 1:11, 12
1 Bas. 1:31Pe 1:3, 4
1 Bas. 1:61Ko 11:1; Baf 3:17; 2Se 3:9
1 Bas. 1:61Pe 2:21
1 Bas. 1:61Se 2:14
1 Bas. 1:82Se 1:4
1 Bas. 1:91Ko 10:14; 12:2; Bag 4:8; 1Yo 5:21
1 Bas. 1:101Se 5:2; 2Pe 3:12
1 Bas. 1:10Bik 1:10, 11; Tit 2:13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Abassessalonika 1:1-10

1 Abassessalonika

1 Nze Pawulo, nga ndi wamu ne Siruvano,*+ ne Timoseewo,+ mpandiikira ekibiina ky’e Ssessalonika ekiri obumu ne Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo:

Ekisa eky’ensusso n’emirembe bibeere nammwe.

2 Bulijjo twebaza Katonda nga tuboogerako mmwenna mu kusaba kwaffe,+ 3 kubanga bulijjo tujjukira mu maaso ga Katonda era Kitaffe omulimu gwe mukola olw’okukkiriza kwammwe, n’okufuba kwammwe okukubirizibwa okwagala, n’obugumiikiriza bwe mulina olw’essuubi+ lye mutadde mu Mukama waffe Yesu Kristo. 4 Ab’oluganda abaagalibwa Katonda, tumanyi nti Katonda ye yabalonda, 5 kubanga amawulire amalungi ge tubuulira tegaalangirirwa gye muli mu bigambo bugambo, naye era gaalangirirwa n’amaanyi, n’omwoyo omutukuvu, era n’obukakafu obw’amaanyi, nga bwe mumanyi engeri gye tweyisaamu ku lwammwe. 6 Mwatukoppa+ era ne mukoppa ne Mukama waffe,+ okuva bwe mwakkiriza ekigambo mu kubonaabona okungi+ nga mulina essanyu ery’omwoyo omutukuvu, 7 ne mubeera ekyokulabirako eri abakkiriza bonna mu Masedoniya ne mu Akaya.

8 Ekituufu kiri nti, ekigambo kya Yakuwa* kiwuliddwa okuva gye muli mu Masedoniya ne mu Akaya, era okukkiriza kwe mulina mu Katonda kubunye mu buli kifo,+ ne kiba nti tetwetaaga na kubaako kye twogera. 9 Kubanga bo bennyini boogera ku lwe twasooka okujja gye muli era n’engeri gye mwaleka ebifaananyi byammwe+ ne mudda eri Katonda, musobole okuweereza Katonda omulamu era ow’amazima, 10 n’okulindirira Omwana we okuva mu ggulu,+ gwe yazuukiza mu bafu, nga ye Yesu, atuwonya obusungu obugenda okujja.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza