1 Ebyomumirembe Ekisooka
16 Bwe batyo ne baleeta Essanduuko ya Katonda ow’amazima ne bagiteeka mu weema Dawudi gye yali agisimbidde;+ ne bawaayo eri Katonda ow’amazima ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka ez’emirembe.+ 2 Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa+ ne ssaddaaka ez’emirembe,+ n’ayagaliza abantu emikisa mu linnya lya Yakuwa. 3 Ate era yagabira Abayisirayiri bonna eby’okulya. Buli musajja na buli mukazi yamuwa omugaati omwetooloovu, ekitole ky’entende, n’ekitole ky’ezzabbibu enkalu. 4 N’assaawo abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’Essanduuko ya Yakuwa,+ okuwa Yakuwa Katonda wa Isirayiri ekitiibwa,* okumwebazanga, n’okumutenderezanga. 5 Asafu+ ye yali abakulira, n’addirirwa Zekkaliya; Yeyeri ne Semiramosi ne Yekyeri+ ne Mattisiya ne Eriyaabu ne Benaya ne Obedi-edomu ne Yeyeri baakubanga ebivuga eby’enkoba n’entongooli;+ Asafu yakubanga ebitaasa,+ 6 Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga bulijjo amakondeere mu maaso g’essanduuko y’endagaano ya Katonda ow’amazima.
7 Ku lunaku olwo Dawudi yayiiya oluyimba olw’okwebaza Yakuwa, era ku lunaku olwo lwe yasooka okuwa Asafu+ ne baganda be oluyimba baluyimbe:
10 Mwenyumiririze mu linnya lye ettukuvu.+
Omutima gw’abo abanoonya Yakuwa ka gusanyuke.+
11 Munoonye Yakuwa+ n’amaanyi ge.
Mumunoonyenga bulijjo.+
12 Mujjukire ebikolwa eby’ekitalo bye yakola,+
Ebyamagero bye n’emisango gye yalangirira,
13 Mmwe ezzadde lya* Isirayiri omuweereza we,+
Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.+
14 Ye Yakuwa Katonda waffe,+
Alamula ensi yonna.+
15 Mujjukire endagaano ye emirembe n’emirembe,
Mujjukire ekyo kye yasuubiza,* okutuusa emirembe olukumi,+
16 Endagaano gye yakola ne Ibulayimu,+
N’ekirayiro kye yalayirira Isaaka.+
17 Ekirayiro kye yanyweza kibeere ng’etteeka eri Yakobo,+
Kibeere ng’endagaano ey’olubeerera eri Isirayiri,
18 Ng’agamba nti, ‘Ndikuwa ensi ya Kanani,+
Okuba omugabo gw’obusika bwo.’+
19 Ekyo yakyogera nga bakyali batono nnyo,
Baali bakyali batono nnyo era nga bagwira mu nsi eyo.+
20 Baatambulanga okuva mu ggwanga erimu okudda mu ddala,
N’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bulala.+
21 Teyakkiriza muntu n’omu kubabonyaabonya,+
Naye yanenya bakabaka ku lwabwe,+
22 Ng’agamba nti, ‘Temukwata ku bantu bange abaafukibwako amafuta,
Era bannabbi bange temubakolako kabi.’+
23 Muyimbire Yakuwa mmwe ensi yonna!
Mulangirire obulokozi bwe buli lunaku!+
24 Mulangirire ekitiibwa kye mu mawanga,
Mulangirire ebikolwa bye eby’ekitalo mu bantu bonna.
25 Kubanga Yakuwa mukulu era agwanidde okutenderezebwa.
Atiibwa okusinga bakatonda abalala bonna.+
28 Mutendereze Yakuwa, mmwe ebika eby’amawanga,
Mutendereze Yakuwa olw’ekitiibwa kye n’olw’amaanyi ge.+
Muvunnamire* Yakuwa nga mwambadde ebyambalo ebitukuvu.*+
30 Mukankanire mu maaso ge, mmwe ensi yonna!
Ensi yanywezebwa; teyinza kusagaasagana.+
32 Ennyanja n’ebigirimu byonna ka biwulugume,
Olukalu ne byonna ebiruliko ka bijaganye.
33 N’emiti gyonna egy’omu kibira ka gireekaane olw’essanyu mu maaso ga Yakuwa,
Kubanga ajja* okulamula ensi.
35 Era mugambe nti, ‘Tulokole Ai Katonda ow’obulokozi bwaffe,+
Tukuŋŋaanye otununule mu mawanga,
Tusobole okutendereza erinnya lyo ettukuvu,+
Awo abantu bonna ne bagamba nti, “Amiina!”* era ne batendereza Yakuwa.
37 Awo Dawudi n’aleka Asafu+ ne baganda be mu maaso g’essanduuko y’endagaano ya Yakuwa, okuweerezanga mu maaso g’Essanduuko,+ ng’enkola eya buli lunaku bwe yali.+ 38 Obedi-edomu ne baganda be baali 68, era Obedi-edomu mutabani wa Yedusuni ne Kosa baali bakuumi ba ku miryango. 39 Zadooki+ kabona ne bakabona banne abalala baali mu maaso ga weema ya Yakuwa entukuvu mu kifo ekigulumivu e Gibiyoni,+ 40 okuwangayo eri Yakuwa obutayosa ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto ky’ebiweebwayo ebyokebwa, ku makya n’akawungeezi, n’okukola ebyo byonna ebyawandiikibwa mu mateeka ga Yakuwa ge yalagira Isirayiri.+ 41 Era baali wamu ne Kemani ne Yedusuni+ n’abasajja abalala abaalondebwa okwebazanga Yakuwa,+ kubanga “okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.”+ 42 Kemani+ ne Yedusuni baali wamu nabo okufuuwanga amakondeere n’okukuba ebitaasa n’ebivuga ebirala ebikozesebwa mu kutendereza* Katonda ow’amazima; ate abaana ba Yedusuni+ baali ku mulyango. 43 Awo abantu bonna ne baddayo buli omu ewuwe. Dawudi naye n’addayo okusabira ab’ennyumba ye omukisa.