LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Nakkumu 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • “Zisanze ekibuga ekiyiwa omusaayi!” (1-19)

        • Ensonga lwaki Nineeve kisaliddwa omusango (1-7)

        • Nineeve kya kugwa nga No-amoni (8-12)

        • Mu buli ngeri Nineeve kiteekwa okugwa (13-19)

Nakkumu 3:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2013, lup. 10

Nakkumu 3:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2007, lup. 9

Nakkumu 3:5

Footnotes

  • *

    Wano boogera ku Nineeve.

Marginal References

  • +Nak 2:13

Nakkumu 3:6

Marginal References

  • +Zef 2:15

Nakkumu 3:7

Marginal References

  • +Nak 2:8

Nakkumu 3:8

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, Tebesi.

Marginal References

  • +Yer 46:25; Ezk 30:14
  • +Is 19:6

Nakkumu 3:9

Marginal References

  • +Lub 10:6
  • +2By 16:8; Yer 46:8, 9

Nakkumu 3:10

Marginal References

  • +Is 20:4

Nakkumu 3:11

Marginal References

  • +Zb 75:8; Yer 25:15

Nakkumu 3:14

Marginal References

  • +2By 32:3, 4

Nakkumu 3:15

Marginal References

  • +Zef 2:13
  • +Kuv 10:14, 15

Nakkumu 3:18

Marginal References

  • +Nak 2:8

Nakkumu 3:19

Marginal References

  • +Zef 2:15
  • +Is 10:5, 6; 37:18

General

Nak. 3:5Nak 2:13
Nak. 3:6Zef 2:15
Nak. 3:7Nak 2:8
Nak. 3:8Yer 46:25; Ezk 30:14
Nak. 3:8Is 19:6
Nak. 3:9Lub 10:6
Nak. 3:92By 16:8; Yer 46:8, 9
Nak. 3:10Is 20:4
Nak. 3:11Zb 75:8; Yer 25:15
Nak. 3:142By 32:3, 4
Nak. 3:15Zef 2:13
Nak. 3:15Kuv 10:14, 15
Nak. 3:18Nak 2:8
Nak. 3:19Zef 2:15
Nak. 3:19Is 10:5, 6; 37:18
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Nakkumu 3:1-19

Nakkumu

3 Zisanze ekibuga ekiyiwa omusaayi.

Kijjudde obulimba n’obunyazi,

Era tekirekera awo kunyaga!

 2 Enkoba ziwulirwa nga zivuga, nnamuziga ziwulirwa nga ziguluba,

Embalaasi zifubutuka, n’amagaali gawalabuka.

 3 Abeebagazi b’embalaasi, ebitala ebyakaayakana, amafumu agatemagana,

Abantu abangi ennyo abattiddwa, era n’entuumu ez’emirambo

—Emirambo tegibalika olw’obungi bwagyo.

Batambula beesittala ku mirambo.

 4 Ekyo kiri bwe kityo olw’ebikolwa bya malaaya ebingi eby’obwamalaaya,

Malaaya oyo asikiriza ennyo era omukugu mu by’obulogo,

Asuula amawanga mu kyambika olw’ebikolwa bye eby’obwamalaaya n’olw’obulogo bwe.

 5 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, “Nja kukulwanyisa;*+

Nja kukufungula, engoye zo nzizze waggulu ku mutwe gwo,

Era nja kuleetera amawanga okulaba obwereere bwo,

N’obwakabaka okulaba obuswavu bwo.

 6 Nja kukusuulako ebintu ebicaafu,

Nkufuule ekintu ekyenyinyaza,

Era nja kukufuula ekyerolerwa.+

 7 Buli anaakulaba ajja kukudduka+ era agambe nti,

‘Nineeve kyonooneddwa.

Ani anaakikwatirwa ekisa?’

Wa gye nnaggya abanaakubudaabuda?

 8 Osinga No-amoni*+ ekibuga ekyali okumpi n’obugga obuva ku Kiyira?+

Kyonna kyali kyetooloddwa amazzi,

Ng’obugagga bwakyo kibuggya mu nnyanja, era ng’ennyanja ye bbugwe waakyo.

 9 Esiyopiya ne Misiri ze zaali ensibuko y’amaanyi gaakyo agataaliko kkomo.

Puti+ n’Abalibiya be baakiyambanga.+

10 Naye nakyo kyagenda mu buwaŋŋanguse,

Era kyatwalibwa mu buwambe.+

N’abaana baakyo baabetenterwa mu makoona g’enguudo zonna.

Abasajja baakyo ab’ebitiibwa baakubwako akalulu,

N’abakulu baakyo bonna baasibibwa empingu.

11 Naawe ojja kutamiira;+

Ojja kwekweka.

Ojja kuddukira eri omulabe okufuna obukuumi.

12 Ebigo byo byonna biringa emitiini egiriko ebibala ebisooka okwengera,

Bwe ginyeenyezebwa, ebibala bigwa mu kamwa k’abalyi baabyo.

13 Laba! Amagye go galinga abakazi mu ggwe.

Abalabe bo bajja kuggulirwawo enzigi z’ensi yo.

Omuliro gujja kwokya ebisiba by’enzigi zo.

14 Sena amazzi oteeketeeke okuzingiza!+

Nyweza ebigo byo.

Genda mu bitoomi, era sambirira ebbumba,

Kwata akatiba k’amatoffaali.

15 Ne bwe kinaaba kityo, omuliro gujja kukusaanyaawo.

Ekitala kijja kukuzikiriza.+

Bijja kukusaanyaawo ng’enzige ento bwe zikola.+

Yaza omuwendo gwo mube bangi nnyo ng’enzige ento!

Yaza omuwendo gwo gube mungi nnyo ng’ogw’enzige.

16 Oyazizza abasuubuzi bo ne baba bangi okusinga emmunyeenye eziri ku ggulu.

Enzige ento zeeyubula ne zibuuka ne zigenda.

17 Abakuumi bo balinga enzige

N’abaami bo balinga ekibinja ky’enzige.

Zeekukuma mu bikomera eby’amayinja ng’obudde bunnyogovu.

Enjuba bw’evaayo nga zibuuka zigenda,

Tewaba amanya gye ziraze.

18 Ggwe kabaka wa Bwasuli, abasumba bo babongoota,

Abakungu bo basigala mu mayumba gaabwe.

Abantu bo basaasaanidde ku nsozi,

Era tewali abakuŋŋaanya.+

19 Tewali kiyinza kukuwonya kabi k’olimu.

Ekiwundu kyo si kya kuwona.

Bonna abanaawulira ebikufaako bajja kukuba mu ngalo;+

Kubanga ani ataabonaabona olw’obukambwe bwo obutaaliko kkomo?”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share