LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 33
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Omusango gwa kusalibwa, era abatuukirivu balina essuubi (1-24)

        • Yakuwa Mulamuzi, Muteesi w’amateeka, era Kabaka (22)

        • Tewali n’omu aligamba nti: “Ndi mulwadde” (24)

Isaaya 33:1

Marginal References

  • +2Sk 18:13; Is 10:5
  • +Is 10:12; Nak 3:7

Isaaya 33:2

Footnotes

  • *

    Oba, “maanyi gaffe.”

Marginal References

  • +Zb 123:2
  • +Zb 44:3; Is 52:10
  • +Zb 46:1; Nak 1:7

Isaaya 33:3

Marginal References

  • +Zb 46:6; 68:1; Is 17:13

Isaaya 33:6

Marginal References

  • +Zb 27:1
  • +Nge 19:23

Isaaya 33:8

Footnotes

  • *

    Omulabe y’ayogerwako wano.

Marginal References

  • +2Sk 18:19, 20

Isaaya 33:9

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “ekala.”

Marginal References

  • +Is 37:24
  • +Nak 1:4

Isaaya 33:10

Marginal References

  • +Zb 46:10

Isaaya 33:11

Marginal References

  • +Is 5:24

Isaaya 33:12

Marginal References

  • +Is 9:18

Isaaya 33:14

Marginal References

  • +Ma 28:66, 67
  • +Ma 32:22; Nak 1:6; Beb 12:29

Isaaya 33:15

Marginal References

  • +Ezk 18:17
  • +1By 29:17
  • +Kuv 23:8; Ma 16:19

Isaaya 33:16

Marginal References

  • +1Sk 19:5, 6; Zb 34:9, 10; Is 65:13

Isaaya 33:18

Footnotes

  • *

    Oba, “olifumiitiriza ku ntiisa.”

Marginal References

  • +2Sk 15:19

Isaaya 33:19

Marginal References

  • +Ma 28:49, 50; Is 28:11; Yer 5:15

Isaaya 33:20

Marginal References

  • +Ma 12:5, 6
  • +Zb 125:1

Isaaya 33:22

Marginal References

  • +Lub 18:25; Zb 50:6; 98:9
  • +Lev 26:3; Yak 4:12
  • +Zb 44:4; 97:1; Kub 11:15, 17
  • +Is 12:2; Zef 3:17

Isaaya 33:23

Marginal References

  • +Is 33:4

Isaaya 33:24

Footnotes

  • *

    Oba, “mutuuze.”

Marginal References

  • +Ma 7:15; Kub 21:4; 22:1, 2
  • +Yer 50:20; Mi 7:18, 19

General

Is. 33:12Sk 18:13; Is 10:5
Is. 33:1Is 10:12; Nak 3:7
Is. 33:2Zb 123:2
Is. 33:2Zb 44:3; Is 52:10
Is. 33:2Zb 46:1; Nak 1:7
Is. 33:3Zb 46:6; 68:1; Is 17:13
Is. 33:6Zb 27:1
Is. 33:6Nge 19:23
Is. 33:82Sk 18:19, 20
Is. 33:9Is 37:24
Is. 33:9Nak 1:4
Is. 33:10Zb 46:10
Is. 33:11Is 5:24
Is. 33:12Is 9:18
Is. 33:14Ma 28:66, 67
Is. 33:14Ma 32:22; Nak 1:6; Beb 12:29
Is. 33:15Ezk 18:17
Is. 33:151By 29:17
Is. 33:15Kuv 23:8; Ma 16:19
Is. 33:161Sk 19:5, 6; Zb 34:9, 10; Is 65:13
Is. 33:182Sk 15:19
Is. 33:19Ma 28:49, 50; Is 28:11; Yer 5:15
Is. 33:20Ma 12:5, 6
Is. 33:20Zb 125:1
Is. 33:22Lub 18:25; Zb 50:6; 98:9
Is. 33:22Lev 26:3; Yak 4:12
Is. 33:22Zb 44:4; 97:1; Kub 11:15, 17
Is. 33:22Is 12:2; Zef 3:17
Is. 33:23Is 33:4
Is. 33:24Ma 7:15; Kub 21:4; 22:1, 2
Is. 33:24Yer 50:20; Mi 7:18, 19
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 33:1-24

Isaaya

33 Zikusanze ggwe azikiriza abalala, naye nga ggwe tozikirizibwanga;+

Ggwe alyamu abalala olukwe naye nga ggwe toliibwangamu lukwe!

Bw’olimala okuzikiriza abalala, naawe olizikirizibwa.+

Bw’olimala okulyamu abalala olukwe, naawe oliriibwamu olukwe.

 2 Ai Yakuwa, tukwatirwe ekisa.+

Essuubi lyaffe liri mu ggwe.

Beera mukono gwaffe*+ buli ku makya,

Beera bulokozi bwaffe mu biseera eby’ennaku.+

 3 Amawanga bwe gawulira oluyoogaano gadduka.

Bw’oyimuka, amawanga gasaasaana.+

 4 Ng’enzige ezirya ennyo bwe zikuŋŋaana, n’omunyago gwammwe bwe gutyo bwe gulikuŋŋaanyizibwa;

Abantu baliguyiikira nga balinga ebibinja by’enzige.

 5 Yakuwa aligulumizibwa,

Kubanga abeera waggulu nnyo.

Alijjuza Sayuuni obwenkanya n’obutuukirivu.

 6 Y’aleetawo obutebenkevu mu biseera byammwe;

Obulokozi obw’amaanyi,+ amagezi, okumanya, n’okutya Yakuwa+

—Obwo bwe bugagga bwe.

 7 Laba! Abantu baabwe abazira bakaabira mu nguudo;

Ababaka abatumiddwa okuteesa wabeewo emirembe bakaaba nnyo.

 8 Enguudo teziriimu bantu;

Mu makubo temuli muntu n’omu.

Amenye* endagaano;

Yeesambye ebibuga;

Tewali muntu yenna gw’atwala ng’ekikulu.+

 9 Ensi ekungubaga* era eggwaawo.

Lebanooni eswadde;+ evunze.

Saloni kifuuse ng’eddungu,

Basani ne Kalumeeri bikunkumula ebikoola byabyo.+

10 “Kaakano ŋŋenda kusituka,” Yakuwa bw’agamba,

“Kaakano ŋŋenda kwegulumiza;+

Kaakano ŋŋenda kulaga nga bwe ndi ow’ekitiibwa.

11 Muba embuto ez’ebisubi ebikalu ne muzaala ebisusunku.

Endowooza yammwe eribasaanyaawo ng’omuliro.+

12 Era amawanga galiba ng’ennoni gye bookezza.

Okufaananako amaggwa agatemeddwa, amawanga ago galyokebwa omuliro.+

13 Mmwe abali ewala, muwulire kye ŋŋenda okukola!

Nammwe abali okumpi, mukkirize nti ndi wa maanyi!

14 Aboonoonyi b’omu Sayuuni bali mu kutya;+

Bakyewaggula bakankana era bagamba nti:

‘Ani ku ffe ayinza okubeera awali omuliro ogusaanyaawo?+

Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’ennimi z’omuliro ezitazikira?’

15 Oyo atambulira mu butuukirivu obutaggwaawo,+

Ayogera ebituufu,+

Eyeewala okufuna ebintu mu makubo amakyamu, mu bukumpanya,

Atakkiriza mikono gye kukwata nguzi,+

Aziba amatu ge galeme kuwulira mboozi ezikwata ku kuyiwa musaayi,

Azibiriza amaaso ge galeme kutunuulira bintu bibi

16 —Alibeera waggulu mu nsozi;

Ekifo kye eky’okuddukiramu kiribeera mu bigo eby’amayinja,

Aliweebwa emmere ye,

Era ne w’aliba aggya amazzi tewalikalira.”+

17 Amaaso go galiraba kabaka mu kitiibwa kye;

Galiraba ensi ey’ewala.

18 Mu mutima gwo olijjukira entiisa:*

“Omuwandiisi ali ludda wa?

Oyo eyagerekanga omusolo ali ludda wa?+

Oyo eyabalanga eminaala ali ludda wa?”

19 Toliddamu kulaba bantu batawa balala kitiibwa,

Abantu aboogera olulimi oluzibu ennyo, lw’otosobola kutegeera,

Aboogera ng’abanaanaagira nga tosobola kutegeera bye boogera.+

20 Laba Sayuuni, ekibuga mwe tukwatira embaga zaffe!+

Amaaso go galiraba Yerusaalemi ng’ekifo ekitebenkevu ekibeerwamu,

Weema etaliggibwawo.+

Enninga za weema yaakyo tezirisimbulwa,

Era tewaliba na gumu ku miguwa gyayo ogulikutulwamu.

21 Naye eyo, Yakuwa ow’Ekitiibwa,

Aliba gye tuli ng’ekitundu ekirimu emigga, ekirimu emikutu emigazi,

Omutaliyita bibinja bya maato

Era omutaliyita byombo binene.

22 Yakuwa ye Mulamuzi waffe,+

Yakuwa y’atuwa amateeka,+

Yakuwa ye Kabaka waffe;+

Y’alitulokola.+

23 Emiguwa girisumulukuka;

Tegirisobola kuwanirira mulongooti wadde okuwanika amatanga.

Mu kiseera ekyo omunyago mungi guligabanyizibwamu;

N’abalema balitwala omunyago mungi.+

24 Tewaliba muntu* mu nsi eyo aligamba nti: “Ndi mulwadde.”+

Abantu abalibeerayo baliba basonyiyiddwa ebyonoono byabwe.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share