Okuva
10 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Genda eri Falaawo, kubanga ndese omutima gwe n’emitima gy’abaweereza be okukakanyala,+ ndyoke nkole obubonero bwange mu maaso ge,+ 2 era olyoke obuulire abaana bo ne bazzukulu bo engeri gye mbonerezzaamu Misiri n’obubonero bwe nkoze mu bo;+ era mujja kumanya nti nze Yakuwa.”
3 Musa ne Alooni ne bagenda eri Falaawo ne bamugamba nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda w’Abebbulaniya bw’agamba, ‘Onootuusa wa okugaana okuŋŋondera?+ Leka abantu bange bagende bampeereze. 4 Bw’oneeyongera okugaana abantu bange okugenda, ŋŋenda kuleeta enzige mu nsi yo enkya. 5 Zijja kubikka ensi era omuntu ajja kuba tasobola kulaba ttaka. Zijja kulya bye mwasigazaawo ebitaayonoonebwa muzira, era zijja kulya emiti gyonna egiri ku ttale.+ 6 Era ennyumba zo, n’ennyumba z’abaweereza bo bonna, n’ennyumba z’omu Misiri yonna, zijja kujjula enzige ku kigero bakitaabo ne bajjajjaabo kye batalabangako kasookedde babeera mu nsi eno n’okutuusa leero.’”+ Awo n’akyuka n’ava awaali Falaawo.
7 Awo abaweereza ba Falaawo ne bamugamba nti: “Omusajja ono alituusa wa okutuleetera emitawaana?* Leka abantu bagende baweereze Yakuwa Katonda waabwe. Tolaba nti Misiri esaanawo?” 8 Awo Musa ne Alooni ne bakomezebwawo eri Falaawo, n’abagamba nti: “Mugende muweereze Yakuwa Katonda wammwe. Naye baani abagenda?” 9 Musa n’amugamba nti: “Tujja kugenda n’abantu baffe abato n’abakulu, era ne batabani baffe, ne bawala baffe, n’endiga zaffe, n’ente zaffe,+ kubanga tugenda kukwata mbaga mu linnya lya Yakuwa.”+ 10 Awo Falaawo n’abagamba nti: “Bwe nnaabaleka ne mugenda mmwe n’abaana bammwe, ddala Yakuwa anaaba ali nammwe!+ Kyeyoleka kaati nti mulina ekikyamu kye mwagala okukola. 11 Abasajja be baba bagenda baweereze Yakuwa, kubanga ekyo kye mwasabye.” Awo ne bagobebwa mu maaso ga Falaawo.
12 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Golola omukono gwo ku nsi ya Misiri enzige zijje ku nsi ya Misiri zirye ebimera byonna eby’omu nsi ya Misiri, byonna omuzira bye gwalekawo.” 13 Amangu ago Musa n’agolola omuggo gwe ku nsi ya Misiri, Yakuwa n’aleeta embuyaga okuva ebuvanjuba n’ekunta ku nsi ya Misiri yonna emisana n’ekiro. Bwe bwakya ku makya, embuyaga eyava ebuvanjuba n’ereeta enzige. 14 Enzige zajja ne zibikka ensi yonna eya Misiri.+ Embeera yali mbi nnyo.+ Waali tewabangawo nzige nnyingi bwe zityo era teziriddamu kubaawo. 15 Zaabikka ensi yonna n’ekwata ekizikiza, ne zirya ebimera byonna eby’omu nsi n’ebibala byonna eby’oku miti omuzira bye gwalekawo; tewaasigala kikoola na kimu ku miti ne ku bimera byonna eby’omu nsi yonna eya Misiri.
16 Awo Falaawo n’ayita mangu Musa ne Alooni n’abagamba nti: “Nsobezza eri Yakuwa Katonda wammwe ne gye muli. 17 Era kaakano mbeegayiridde munsonyiwe ekibi kyange omulundi guno gwokka era mwegayirire Yakuwa Katonda wammwe anzigyeko ekibonyoobonyo kino.” 18 Awo n’ava* awaali Falaawo ne yeegayirira Yakuwa.+ 19 Yakuwa n’aleetera embuyaga ey’amaanyi ennyo okukunta ng’edda ebugwanjuba, n’etwala enzige n’ezisuula mu Nnyanja Emmyufu. Tewali nzige n’emu eyasigala mu nsi yonna eya Misiri. 20 Kyokka Yakuwa n’aleka omutima gwa Falaawo ne guba mukakanyavu,+ n’ataleka Bayisirayiri kugenda.
21 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Golola omukono gwo eri eggulu wabeewo ekizikiza mu nsi ya Misiri—ekizikiza ekikutte zigizigi.” 22 Amangu ago Musa n’agolola omukono gwe eri eggulu, ekizikiza eky’amaanyi ennyo ne kiba mu nsi yonna eya Misiri okumala ennaku ssatu.+ 23 Tewali yali asobola kulaba munne era tewali yava mu kifo we yali okumala ennaku ssatu; naye Abayisirayiri bonna baalina ekitangaala mu maka gaabwe.+ 24 Oluvannyuma Falaawo n’ayita Musa n’amugamba nti: “Mugende muweereze Yakuwa.+ Endiga zammwe n’ente zammwe ze zokka ezijja okusigala. Abaana bammwe nabo bayinza okugenda nammwe.” 25 Naye Musa n’amugamba nti: “Era ojja kutuwa* ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa, tubiweeyo eri Yakuwa Katonda waffe.+ 26 Era tujja kugenda n’ensolo zaffe. Tewali nsolo* n’emu egenda kusigala kubanga ezimu ku zo tujja kuzikozesa mu kusinza Yakuwa Katonda waffe. Tetumanyi ze tunaawaayo mu kusinza Yakuwa okutuusa nga tutuuseeyo.” 27 Yakuwa n’aleka omutima gwa Falaawo ne guba mukakanyavu, n’atabaleka kugenda.+ 28 Awo Falaawo n’amugamba nti: “Nva mu maaso! Era togeza n’okomawo mu maaso gange, kubanga ku lunaku lw’onookomawo mu maaso gange, ojja kufa.” 29 Awo Musa n’amugamba nti: “Nga bw’ogambye, sijja kukomawo mu maaso go.”