LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Samwiri 11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Sawulo awangula Abaamoni (1-11)

      • Sawulo akakasibwa nga kabaka (12-15)

1 Samwiri 11:1

Marginal References

  • +Ma 2:19
  • +Bal 21:8; 1Sa 31:11, 12

1 Samwiri 11:4

Marginal References

  • +1Sa 10:26; 14:2

1 Samwiri 11:6

Marginal References

  • +Bal 3:9, 10; 6:34; 11:29; 14:5, 6; 1Sa 10:10, 11; 16:13

1 Samwiri 11:7

Footnotes

  • *

    Obut., “ng’omuntu omu.”

1 Samwiri 11:10

Marginal References

  • +1Sa 11:3

1 Samwiri 11:11

Footnotes

  • *

    Okuva ku ssaawa nga 8 ez’ekiro okutuuka ku ssaawa 12 ez’oku makya.

Marginal References

  • +1Sa 11:1

1 Samwiri 11:12

Marginal References

  • +1Sa 10:26, 27

1 Samwiri 11:13

Marginal References

  • +2Sa 19:22

1 Samwiri 11:14

Marginal References

  • +1Sa 7:15, 16
  • +1Sa 10:17, 24

1 Samwiri 11:15

Marginal References

  • +Lev 7:11
  • +1Sk 1:39, 40; 2Sk 11:12, 14; 1By 12:39, 40

General

1 Sam. 11:1Ma 2:19
1 Sam. 11:1Bal 21:8; 1Sa 31:11, 12
1 Sam. 11:41Sa 10:26; 14:2
1 Sam. 11:6Bal 3:9, 10; 6:34; 11:29; 14:5, 6; 1Sa 10:10, 11; 16:13
1 Sam. 11:101Sa 11:3
1 Sam. 11:111Sa 11:1
1 Sam. 11:121Sa 10:26, 27
1 Sam. 11:132Sa 19:22
1 Sam. 11:141Sa 7:15, 16
1 Sam. 11:141Sa 10:17, 24
1 Sam. 11:15Lev 7:11
1 Sam. 11:151Sk 1:39, 40; 2Sk 11:12, 14; 1By 12:39, 40
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Samwiri 11:1-15

1 Samwiri

11 Awo Nakasi Omwamoni+ n’agenda n’asiisira okulwanyisa Yabesi+ eky’omu Gireyaadi. Abasajja bonna ab’e Yabesi ne bagamba Nakasi nti: “Kola endagaano naffe, era tujja kukuweereza.” 2 Nakasi Omwamoni n’abagamba nti: “Nja kukola nammwe endagaano singa munakkiriza okubatungulamu amaaso gammwe aga ddyo. Kino nja kukikola okufeebya Isirayiri yonna.” 3 Awo abakadde b’e Yabesi ne bamuddamu nti: “Tuwe ebbanga lya nnaku musanvu kitusobozese okutuma ababaka mu Isirayiri yonna. Bwe wataabeewo atulokola, tuneewaayo gy’oli.” 4 Ababaka bwe baatuuka e Gibeya+ ekya Sawulo ne babuulira abantu ebigambo ebyo, era abantu bonna ne batema emiranga.

5 Sawulo yali ava ku ttale ng’agoberera eggana ly’ente, era n’agamba nti: “Kiki ekituuse ku bantu? Bakaabira ki?” Awo ne bamubuulira ebyo abasajja b’e Yabesi bye baali boogedde. 6 Sawulo bwe yabiwulira, omwoyo gwa Katonda ne gumuwa amaanyi,+ era n’asunguwala nnyo. 7 Awo n’addira ente ennume bbiri n’azitemaatemamu ebitundutundu, n’abiwa ababaka ne babitwala mu bitundu byonna ebya Isirayiri, nga bagamba nti: “Oyo yenna ataagoberere Sawulo ne Samwiri, ente ze zijja kukolebwa bwe ziti!” Entiisa ya Yakuwa n’ejja ku bantu, ne bajja nga bassa kimu.* 8 Awo n’abalira abantu e Bezeki, era Abayisirayiri baali 300,000 ate abasajja ba Yuda baali 30,000. 9 Awo ne bagamba ababaka abaali bazze nti: “Mugambe abasajja b’e Yabesi mu Gireyaadi nti, ‘Enkya, awo nga mu ttuntu, mujja kulokolebwa.’” Ababaka ne bagenda ne bategeeza abasajja b’e Yabesi, era ne basanyuka nnyo. 10 Awo abasajja b’e Yabesi ne bagamba Abaamoni nti: “Enkya tujja kwewaayo gye muli, era mujja kutukola kyonna kye mulaba nga kye kirungi mu maaso gammwe.”+

11 Enkeera Sawulo yayawulamu abantu ebibinja bisatu, ne bagenda wakati mu lusiisira mu kisisimuka eky’oku makya,* ne batta Abaamoni+ okutuusa mu ttuntu. Abo abaawonawo baasaasaana, era buli omu yadduka yekka. 12 Awo abantu ne bagamba Samwiri nti: “Baani abaali bagamba nti, ‘Sawulo anaatufuga?’+ Abasajja abo mubatuwe tubatte.” 13 Naye Sawulo n’agamba nti: “Tewali muntu yenna asaanidde kuttibwa ku lunaku luno,+ kubanga leero Yakuwa anunudde Isirayiri.”

14 Oluvannyuma Samwiri yagamba abantu nti: “Mujje tugende e Girugaali+ tuddemu okulangirira Sawulo nga kabaka.”+ 15 Awo abantu bonna ne bagenda e Girugaali, era nga bali eyo e Girugaali, ne bafuula Sawulo kabaka mu maaso ga Yakuwa. Oluvannyuma ne baweerayo eyo ssaddaaka ez’emirembe mu maaso ga Yakuwa,+ era Sawulo n’abasajja ba Isirayiri bonna ne bajaganya nnyo.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share