LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Olubereberye 8
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Amazzi g’amataba gakalira (1-14)

        • Ejjiba lisindikibwa ebweru (8-12)

      • Okuva mu lyato (15-19)

      • Ekisuubizo kya Katonda eri ensi (20-22)

Olubereberye 8:1

Marginal References

  • +Lub 6:19, 20; Beb 11:7

Olubereberye 8:2

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Lub 7:11.

  • *

    Oba, “n’ekomezebwa.”

Marginal References

  • +Lub 7:11, 12

Olubereberye 8:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2013, lup. 14

Olubereberye 8:5

Marginal References

  • +Lub 7:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2013, lup. 14

Olubereberye 8:6

Marginal References

  • +Lub 6:16

Olubereberye 8:9

Footnotes

  • *

    Oba, “wa kussa kigere kyalyo.”

Marginal References

  • +Lub 7:19

Olubereberye 8:11

Marginal References

  • +Lub 7:20; 8:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2004, lup. 8-9

Olubereberye 8:13

Marginal References

  • +Lub 7:6, 11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2013, lup. 14

Olubereberye 8:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2013, lup. 14

Olubereberye 8:16

Marginal References

  • +Lub 7:7; 1Pe 3:20; 2Pe 2:5

Olubereberye 8:17

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Lub 1:24.

Marginal References

  • +Lub 6:19, 20; 7:14, 15
  • +Lub 1:22

Olubereberye 8:18

Marginal References

  • +Lub 6:10

Olubereberye 8:19

Marginal References

  • +Lub 7:13, 14

Olubereberye 8:20

Marginal References

  • +Lub 12:7
  • +Lub 7:2; Lev 20:25
  • +Ma 27:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2013, lup. 14-15

Olubereberye 8:21

Marginal References

  • +Lub 3:17; 5:29
  • +Lub 6:5; Mub 7:20; Mat 15:19
  • +Lub 6:7, 17; 9:11; Is 54:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    6/2017, lup. 8

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2013, lup. 15

    11/1/1996, lup. 22-23

Olubereberye 8:22

Marginal References

  • +Lub 1:14; Zb 74:17; Mub 1:4

General

Lub. 8:1Lub 6:19, 20; Beb 11:7
Lub. 8:2Lub 7:11, 12
Lub. 8:5Lub 7:20
Lub. 8:6Lub 6:16
Lub. 8:9Lub 7:19
Lub. 8:11Lub 7:20; 8:3
Lub. 8:13Lub 7:6, 11
Lub. 8:16Lub 7:7; 1Pe 3:20; 2Pe 2:5
Lub. 8:17Lub 6:19, 20; 7:14, 15
Lub. 8:17Lub 1:22
Lub. 8:18Lub 6:10
Lub. 8:19Lub 7:13, 14
Lub. 8:20Lub 12:7
Lub. 8:20Lub 7:2; Lev 20:25
Lub. 8:20Ma 27:6
Lub. 8:21Lub 3:17; 5:29
Lub. 8:21Lub 6:5; Mub 7:20; Mat 15:19
Lub. 8:21Lub 6:7, 17; 9:11; Is 54:9
Lub. 8:22Lub 1:14; Zb 74:17; Mub 1:4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 8:1-22

Olubereberye

8 Naye Katonda n’ajjukira Nuuwa n’ensolo zonna ez’omu nsiko awamu n’ez’awaka ezaali naye mu lyato,+ Katonda n’akunsa empewo ku nsi amazzi ne gatandika okukendeera. 2 Ensulo z’oguyanja* n’ebituli eby’eggulu ne bizibikirwa, enkuba n’erekera awo okutonnya.*+ 3 Amazzi ne gatandika okukendeera mpolampola ku nsi, era oluvannyuma lw’ennaku 150, amazzi gaali gakendeeredde ddala. 4 Mu mwezi ogw’omusanvu ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu, eryato ne lituula ku nsozi za Alalati. 5 Amazzi ne geeyongera okukendeera okutuuka mu mwezi ogw’ekkumi. Mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olusooka, entikko z’ensozi ne zirabika.+

6 Ku nkomerero y’ennaku 40 Nuuwa n’aggulawo eddirisa+ lye yakola ku lyato. 7 N’asindika nnamuŋŋoona ebweru, nnamuŋŋoona n’abuuka mu bbanga ng’agenda bw’adda okutuusa amazzi lwe gaakalira ku nsi.

8 Oluvannyuma n’asindika ejjiba ebweru okulaba obanga amazzi gaali gakendedde ku nsi. 9 Ejjiba ne litafuna kifo wa kugwa,* bwe lityo ne lidda gy’ali mu lyato kubanga amazzi gaali gakyabisse ensi yonna.+ Bw’atyo n’afulumya omukono gwe ebweru n’alikwata n’aliyingiza mu lyato. 10 N’alinda ennaku endala musanvu, n’addamu n’asindika ejjiba okuva mu lyato. 11 Ejjiba bwe lyakomawo gy’ali nga bunaatera okuwungeera, Nuuwa n’alaba nga mu kamwa kaalyo mulimu akakoola k’omuzeyituuni akabisi, n’amanya nti amazzi gaali gakendedde ku nsi.+ 12 N’alinda ennaku endala musanvu, n’addamu n’asindika ejjiba, naye teryakomawo gy’ali nate.

13 Mu mwaka ogw’olukaaga mu ogumu+ ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogusooka, ku lunaku olusooka, amazzi gaali gawedde ku nsi; Nuuwa n’aggyako ekisaanikira ky’eryato n’alaba nga kungulu ku ttaka kugenda kukala. 14 Mu mwezi ogw’okubiri, ku lunaku olw’abiri mu omusanvu ensi yali ekalidde ddala.

15 Katonda n’agamba Nuuwa nti: 16 “Fuluma mu lyato ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo, ne baka batabani bo.+ 17 Fuluma na buli kiramu ekya buli ngeri:+ ebibuuka, ensolo, n’ensolo ezeewalula* ez’oku nsi, byeyongere obungi mu nsi, bizaale era byale mu nsi.”+

18 Awo Nuuwa n’afuluma ne batabani be,+ ne mukazi we, ne baka batabani be. 19 Buli kiramu, buli nsolo eyeewalula, buli ekibuuka, na buli ekitambula ku nsi, ne bifuluma mu lyato okusinziira ku bika byabyo.+ 20 Awo Nuuwa n’azimbira Yakuwa ekyoto,+ n’atoola ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu+ n’aweerayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa.+ 21 Yakuwa n’awulira evvumbe eddungi; Yakuwa n’agamba mu mutima gwe nti: “Siriddamu nate kukolimira nsi+ olw’omuntu, kubanga ebirowoozo by’omu mutima gw’omuntu byekubidde ku kukola kibi okuva mu buto bwe;+ era siriddamu nate kuzikiriza biramu byonna nga bwe nkoze.+ 22 Okuva leero, okusiga ensigo n’okukungula, n’obunnyogovu n’ebbugumu, n’ekiseera eky’omusana n’eky’obutiti, n’emisana n’ekiro, tebirikoma kubaawo ku nsi.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share