LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Keezeekiya akwata Okuyitako (1-27)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:1

Marginal References

  • +2By 11:14, 16
  • +2By 34:1, 6, 7
  • +Kuv 12:43; Lev 23:5; Ma 16:2; 2By 35:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:2

Marginal References

  • +Kbl 9:10, 11

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:3

Marginal References

  • +Kuv 12:18
  • +2By 29:34

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:5

Marginal References

  • +Bal 18:29
  • +2By 35:18

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:6

Footnotes

  • *

    Obut., “abaddusi.”

Marginal References

  • +2Sk 15:29; 1By 5:26; 2By 28:20, 21

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:7

Marginal References

  • +2By 29:8, 9

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:8

Marginal References

  • +Kuv 32:9
  • +Ma 12:5, 6; Zb 132:13
  • +2By 29:10

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:9

Marginal References

  • +1Sk 8:49, 50
  • +Ma 30:1-3
  • +Kuv 34:6; Zb 86:5; Mi 7:18
  • +2By 15:2; Is 55:7; Yak 4:8

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:10

Footnotes

  • *

    Obut., “Abaddusi.”

Marginal References

  • +2By 30:1
  • +2By 36:15, 16

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:11

Marginal References

  • +2By 11:14, 16

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:13

Marginal References

  • +Lev 23:6
  • +Kbl 9:10, 11

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:14

Marginal References

  • +2Sk 18:22
  • +2By 28:24

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:16

Marginal References

  • +Lev 1:5

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:17

Marginal References

  • +2By 29:34

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:18

Marginal References

  • +2By 30:1
  • +Zb 86:5

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:19

Marginal References

  • +2By 19:2, 3; Ezr 7:10
  • +Kbl 9:6, 10

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:20

Footnotes

  • *

    Obut., “n’awonya.”

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:21

Marginal References

  • +Lev 23:6
  • +Ma 12:5, 7; Nek 8:10
  • +2By 29:25

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:22

Marginal References

  • +Lev 23:6
  • +Lev 3:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:23

Marginal References

  • +1Sk 8:65

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:24

Marginal References

  • +2By 35:7, 8
  • +2By 29:34

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:25

Marginal References

  • +2By 30:11, 18
  • +Kuv 12:49

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:26

Marginal References

  • +1Sk 8:65, 66

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:27

Marginal References

  • +Kbl 6:23-26; Ma 10:8

General

2 Byom. 30:12By 11:14, 16
2 Byom. 30:12By 34:1, 6, 7
2 Byom. 30:1Kuv 12:43; Lev 23:5; Ma 16:2; 2By 35:1
2 Byom. 30:2Kbl 9:10, 11
2 Byom. 30:3Kuv 12:18
2 Byom. 30:32By 29:34
2 Byom. 30:5Bal 18:29
2 Byom. 30:52By 35:18
2 Byom. 30:62Sk 15:29; 1By 5:26; 2By 28:20, 21
2 Byom. 30:72By 29:8, 9
2 Byom. 30:8Kuv 32:9
2 Byom. 30:8Ma 12:5, 6; Zb 132:13
2 Byom. 30:82By 29:10
2 Byom. 30:91Sk 8:49, 50
2 Byom. 30:9Ma 30:1-3
2 Byom. 30:9Kuv 34:6; Zb 86:5; Mi 7:18
2 Byom. 30:92By 15:2; Is 55:7; Yak 4:8
2 Byom. 30:102By 30:1
2 Byom. 30:102By 36:15, 16
2 Byom. 30:112By 11:14, 16
2 Byom. 30:13Lev 23:6
2 Byom. 30:13Kbl 9:10, 11
2 Byom. 30:142Sk 18:22
2 Byom. 30:142By 28:24
2 Byom. 30:16Lev 1:5
2 Byom. 30:172By 29:34
2 Byom. 30:182By 30:1
2 Byom. 30:18Zb 86:5
2 Byom. 30:192By 19:2, 3; Ezr 7:10
2 Byom. 30:19Kbl 9:6, 10
2 Byom. 30:21Lev 23:6
2 Byom. 30:21Ma 12:5, 7; Nek 8:10
2 Byom. 30:212By 29:25
2 Byom. 30:22Lev 23:6
2 Byom. 30:22Lev 3:1
2 Byom. 30:231Sk 8:65
2 Byom. 30:242By 35:7, 8
2 Byom. 30:242By 29:34
2 Byom. 30:252By 30:11, 18
2 Byom. 30:25Kuv 12:49
2 Byom. 30:261Sk 8:65, 66
2 Byom. 30:27Kbl 6:23-26; Ma 10:8
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:1-27

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

30 Awo Keezeekiya n’aweereza ab’omu Isirayiri yonna+ ne Yuda obubaka, era n’awandiikira n’ab’omu Efulayimu ne Manase,+ ng’abagamba bajje ku nnyumba ya Yakuwa mu Yerusaalemi bakwate embaga ey’Okuyitako eya Yakuwa Katonda wa Isirayiri.+ 2 Kabaka n’abaami be n’ekibiina kyonna ekyali mu Yerusaalemi baasalawo okukwata embaga ey’Okuyitako mu mwezi ogw’okubiri,+ 3 kubanga tebaasobola kugikwata mu mwezi ogusooka+ olw’okuba omuwendo gwa bakabona abaali beetukuzza gwali tegumala,+ ate nga n’abantu baali tebakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi. 4 Enteekateeka eyo n’eba nnungi mu maaso ga kabaka ne mu maaso g’ekibiina kyonna. 5 Ne basalawo okulangirira mu Isirayiri yonna, okuva e Beeru-seba okutuuka e Ddaani,+ nti abantu bajje e Yerusaalemi bakwate embaga ey’Okuyitako eya Yakuwa Katonda wa Isirayiri; kubanga baali tebagikwatira wamu ng’ekibiina okusinziira ku biri mu byawandiikibwa.+

6 Awo ababaka* abaalina amabaluwa okuva eri kabaka n’abaami be ne batalaaga Isirayiri yonna ne Yuda, nga kabaka bwe yali abalagidde, nga bagamba nti: “Mmwe abantu ba Isirayiri, mukomeewo eri Yakuwa Katonda wa Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, naye akomewo eri abo abasigaddewo abaawonawo mu mukono gwa bakabaka ba Bwasuli.+ 7 Temuba nga bajjajjammwe ne baganda bammwe abaakola ebitali bya bwesigwa eri Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe, n’abafuula ekintu eky’entiisa, nga bwe mulaba.+ 8 Kaakano temuba bakakanyavu nga bajjajjammwe.+ Mugondere Yakuwa mujje mu kifo kye ekitukuvu+ kye yatukuza emirembe gyonna, era muweereze Yakuwa Katonda wammwe, obusungu bwe obubuubuuka busobole okubavaako.+ 9 Bwe munaakomawo eri Yakuwa, abo abaawamba baganda bammwe n’abaana bammwe bajja kubasaasira+ babakkirize okudda mu nsi eno,+ kubanga Yakuwa Katonda wammwe wa kisa era musaasizi.+ Tajja kukyuka kubaggyako maaso ge, bwe munaakomawo gy’ali.”+

10 Ababaka* ne bagenda mu buli kibuga mu nsi yonna eya Efulayimu ne mu Manase+ ne mu Zebbulooni; naye abantu ne babasekerera era ne babajerega.+ 11 Kyokka abantu abamu okuva mu Aseri, ne mu Manase, ne mu Zebbulooni beetoowaza ne bajja e Yerusaalemi.+ 12 Omukisa gwa Katonda ow’amazima era gwali ne ku bantu ba Yuda ne baba bumu bonna mu kugondera ekiragiro kya kabaka n’eky’abaami nga Yakuwa bwe yalagira.

13 Awo abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi okukwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse+ mu mwezi ogw’okubiri.+ Kyali kibiina kinene nnyo! 14 Ne bayimuka ne baggyawo ebyoto ebyali mu Yerusaalemi+ n’ebyoto byonna ebyayoterezebwangako obubaani,+ ne babisuula mu Kiwonvu Kidulooni. 15 Bwe baamala ne batta ensolo ey’embaga ey’Okuyitako ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’okubiri. Bakabona n’Abaleevi baakwatibwa ensonyi ne beetukuza ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Yakuwa. 16 Ne bayimirira mu kifo kyabwe ng’Amateeka ga Musa omusajja wa Katonda ow’amazima bwe gaali galagira. Awo bakabona ne bamansira ku kyoto omusaayi+ Abaleevi gwe baabawa. 17 Waaliwo bangi mu kibiina abaali bateetukuzza, era Abaleevi batta ensolo ez’embaga ey’Okuyitako ku lw’abo bonna abataali balongoofu,+ okusobola okubatukuza mu maaso ga Yakuwa. 18 Abantu bangi nnyo, naddala abo abaava mu Efulayimu ne mu Manase+ ne mu Isakaali ne mu Zebbulooni, baali tebeetukuzza naye ne balya Okuyitako, era nga kino kikontana n’ebyawandiikibwa mu Mateeka. Naye Keezeekiya n’abasabira ng’agamba nti: “Yakuwa omulungi+ asonyiwe 19 buli muntu ateeseteese omutima gwe okunoonya Yakuwa Katonda ow’amazima,+ Katonda wa bajjajjaabe, wadde nga tatukuziddwa ng’omutindo gw’obutukuvu bwe guli.”+ 20 Bw’atyo Yakuwa n’awuliriza Keezeekiya n’asonyiwa* abantu.

21 Awo Abayisirayiri abaali mu Yerusaalemi ne bakwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse+ okumala ennaku musanvu nga basanyufu nnyo;+ era Abaleevi ne bakabona baali batendereza Yakuwa buli lunaku, nga bakuba ebivuga byabwe mu ddoboozi erya waggulu okutendereza Yakuwa.+ 22 Ate era Keezeekiya yayogera n’Abaleevi bonna abaali baweereza Yakuwa n’amagezi, n’abazzaamu amaanyi. Ne bamala ennaku musanvu ez’embaga nga balya,+ nga bawaayo ssaddaaka ez’emirembe,+ era nga beebaza Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe.

23 Awo ekibiina kyonna ne kisalawo okukwata embaga eyo okumala ennaku endala musanvu, bwe batyo ne bagikwata okumala ennaku endala musanvu nga basanyuka.+ 24 Keezeekiya kabaka wa Yuda n’awa ekibiina ente ennume 1,000 n’endiga 7,000, ate bo abaami ne bawa ekibiina ente ennume 1,000 n’endiga 10,000+ era bakabona bangi nnyo ne beetukuza.+ 25 Ekibiina kyonna ekya Yuda, ne bakabona, n’Abaleevi, n’ekibiina kyonna ekyava mu Isirayiri,+ n’abagwira+ abaava mu nsi ya Isirayiri n’abo abaali babeera mu Yuda ne beeyongera okusanyuka. 26 Waaliwo essanyu lingi mu Yerusaalemi, kubanga okuva mu nnaku za Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isirayiri, ekintu ng’ekyo kyali tekibangawo mu Yerusaalemi.+ 27 Awo bakabona Abaleevi ne bayimirira ne basabira abantu omukisa,+ Katonda n’awulira eddoboozi lyabwe, era okusaba kwabwe ne kutuuka mu ggulu, ekifo kye ekitukuvu gy’abeera.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share