Ekyabalamuzi
17 Waaliwo omusajja eyali ayitibwa Mikka, ow’omu kitundu kya Efulayimu+ eky’ensozi. 2 N’agamba nnyina nti: “Ebitundu bya ffeeza 1,100 bye baakutwalako era n’okolimira eyabibba nga mpulira, nze nnabitwala era mbirina.” Awo nnyina n’agamba nti: “Yakuwa akuwe omukisa mwana wange.” 3 N’addiza nnyina ebitundu bya ffeeza 1,100; naye nnyina n’agamba nti: “Nja kutukuza ffeeza eri Yakuwa okuva mu mukono gwange ku lwa mutabani wange, ffeeza oyo akozesebwe okukola ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi eky’ekyuma.*+ Kaakano mmukuddizza.”
4 Bwe yamala okuddiza nnyina ffeeza, nnyina n’addira ebitundu bya ffeeza 200 n’abiwa omuweesi. Omuweesi n’akola ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi eky’ekyuma,* ne biteekebwa mu nnyumba ya Mikka. 5 Mikka yalina ennyumba ya bakatonda, era yakola efodi+ n’ebifaananyi bya baterafi,*+ n’assaawo omu* ku batabani be okuweereza nga kabona we.+ 6 Mu nnaku ezo tewaaliwo kabaka mu Isirayiri.+ Buli muntu yakolanga ekyo kye yalabanga* nga kye kituufu mu maaso ge.+
7 Waaliwo omuvubuka Omuleevi+ eyali abeera mu Besirekemu+ eky’omu Yuda. Okumala ekiseera yali abeera n’ab’omu luggya lwa Yuda. 8 Omuvubuka oyo n’ava mu kibuga Besirekemu eky’omu Yuda n’agenda abeere mu kifo ekirala. Awo bwe yali atambula n’atuuka ku nnyumba ya Mikka mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi.+ 9 Mikka n’amubuuza nti: “Ova wa?” N’amuddamu nti: “Ndi Muleevi, nva mu Besirekemu eky’omu Yuda, era nnoonya wa kubeera.” 10 Mikka n’amugamba nti: “Beera nange obeere nga kitange* era kabona wange, nange nja kukuwanga ebitundu bya ffeeza kkumi omwaka, n’ebyambalo ebyetaagisa, n’eby’okulya.” Awo Omuleevi n’ayingira. 11 Bw’atyo Omuleevi n’akkiriza okubeera n’omusajja oyo, era n’aba ng’omu ku batabani be. 12 Mikka n’assaawo Omuleevi* oyo okuweereza nga kabona we+ era n’abeera mu nnyumba ye. 13 Awo Mikka n’agamba nti: “Kaakano nkimanyi nti Yakuwa ajja kunkolera ebirungi, kubanga Omuleevi afuuse kabona wange.”