Nekkemiya
6 Sanubalaati ne Tobiya+ ne Gesemu Omuwalabu+ n’abalabe baffe abalala olwagambibwa nti nnali nzimbye bbugwe+ era nti tasigaddeemu kituli na kimu (wadde nga mu kiseera ekyo nnali sinnaba kuwanga nzigi mu miryango),+ 2 amangu ago Sanubalaati ne Gesemu ne bampeereza obubaka nga bagamba nti: “Tukole enteekateeka tusisinkane mu kimu ku byalo ebiri mu Lusenyi lwa Ono.”+ Naye baali bakola olukwe okuntuusaako akabi. 3 Awo ne mbatumira ababaka nga ŋŋamba nti: “Sisobola kujja kubanga omulimu gwe ndiko munene. Nga lwaki ndeka omulimu okuyimirira ne nzija gye muli?” 4 Bampeereza obubaka bwe bumu emirundi ena, era ne mbaddamu mu ngeri y’emu ku buli mulundi.
5 Oluvannyuma Sanubalaati yantumira omuweereza we omulundi ogw’okutaano ng’alina obubaka bwe bumu, era ng’aleese n’ebbaluwa etaali nsibe. 6 Ebbaluwa eyo yali egamba nti: “Kiwuliddwa mu mawanga era ne Gesemu+ akyogera, nti ggwe n’Abayudaaya muteekateeka okujeema.+ Eyo ye nsonga lwaki ozimba bbugwe, era okusinziira ku ebyo ebyogerwa, ggwe ogenda okufuuka kabaka waabwe. 7 Olonze ne bannabbi bakulangirire mu Yerusaalemi yonna nga bagamba nti, ‘Mu Yuda mulimu kabaka!’ Ebintu bino bijja kutegeezebwa kabaka. Kaakano jjangu tubyogereko.”
8 Kyokka ne mmutumira nga ŋŋamba nti: “Ebintu ebyo by’oyogera tebibangawo, ggwe obyeyiiyirizza.”* 9 Bonna baali bagezaako okututiisatiisa nga bagamba nti: “Bajja kuggwaamu amaanyi bave ku mulimu, era tegujja kumalirizibwa.”+ Naye kaakano Ai Katonda, nkusaba ompe amaanyi.+
10 Awo ne nnyingira mu nnyumba ya Semaaya mutabani wa Deraya mutabani wa Meketaberi, era yali yeesibiddemu. N’aŋŋamba nti: “Tulagaane ekiseera tusisinkane mu nnyumba ya Katonda ow’amazima, munda mu yeekaalu, era tuggalewo enzigi za yeekaalu, kubanga bajja okukutta. Bagenda kujja ekiro bakutte.” 11 Naye ne ŋŋamba nti: “Omusajja nga nze nziruke? Omuntu alinga nze ayinza okuyingira mu yeekaalu n’asigala nga mulamu?+ Sijja kuyingirayo!” 12 Awo ne nkitegeera nti Katonda si ye yali amutumye, wabula nti Tobiya ne Sanubalaati+ be baali bamuguliridde aŋŋambe obunnabbi obwo. 13 Baamugulirira antiisetiise era andeetere okwonoona, olwo bafune kwe bandisinzidde okwonoona erinnya lyange, bwe batyo banvumirire.
14 Ai Katonda wange, teweerabira bintu ebyo Tobiya+ ne Sanubalaati bye bakoze, era jjukira ne nnabbi omukazi Nowadiya ne bannabbi abalala ababadde bagezaako okuntiisatiisa olutata.
15 Oluvannyuma bbugwe yaggwa okuzimbibwa ku lunaku olw’abiri mu ettaano olw’omwezi gwa Eruli;* yazimbibwa mu nnaku 52.
16 Abalabe baffe bonna olwakiwulira era n’ab’amawanga gonna agaali gatuliraanye olwakiraba, obuswavu ne bujula okubatta,+ era ne bakitegeera nti Katonda waffe ye yatuyamba okukola omulimu ogwo. 17 Ate era mu nnaku ezo abakungu+ b’omu Yuda baaweerezanga Tobiya amabaluwa mangi, nga Tobiya naye agaddamu. 18 Bangi mu Yuda baali balayidde okukolagana naye, kubanga Sekaniya mutabani wa Ala+ ye yali kitaawe wa mukazi we, era nga ne Yekokanani mutabani we yali awasizza muwala wa Mesulamu+ mutabani wa Berekiya. 19 Ate era baamwogerangako bulungi gye ndi, era ne bamutwaliranga bye nnayogeranga. Tobiya yampeerezanga amabaluwa okuntiisatiisa.+