Isaaya
56 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Mukole eby’obwenkanya,+ era mukole eby’obutuukirivu,
Kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja,
N’obutuukirivu bwange bujja kubikkulwa.+
2 Alina essanyu omuntu akola ekyo;
Omwana w’omuntu akinywererako,
Akwata Ssabbiiti era atakola bintu bigimalamu kitiibwa,+
Era aziyiza omukono gwe okukola ekintu kyonna ekibi.
3 Omugwira eyeegatta ku Yakuwa+ tagambanga nti,
‘Mazima ddala Yakuwa ajja kunzigya mu bantu be.’
N’omulaawe tagambanga nti, ‘Laba! Ndi muti mukalu.’”
4 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Abalaawe abakwata ssabbiiti zange era abalondawo ebyo ebinsanyusa era abanywerera ku ndagaano yange,
5 Ndibawa ekijjukizo n’erinnya mu nnyumba yange, ne munda w’ebisenge byange;
Ndibawa ekintu ekisinga abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala.
Ndibawa erinnya ery’olubeerera,
Eritaliggwaawo.
6 Ate bo abagwira abeegatta ku Yakuwa okumuweerezanga,
N’okwagalanga erinnya lya Yakuwa,+
N’okubeeranga abaweereza be,
Abo bonna abakwata Ssabbiiti era abatakola bintu bigimalamu kitiibwa
Era abanywerera ku ndagaano yange,
7 Ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu+
Ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu.
Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange.
Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabirwamu amawanga gonna.”+
8 Yakuwa Mukama Afuga Byonna, akuŋŋaanya abantu ba Isirayiri abaasaasaana,+ agamba nti:
“Ndimukuŋŋaanyiza abalala mbagatte ku abo abaakuŋŋaanyizibwa.”+
9 Mmwe mmwenna ensolo ez’omu nsiko, mujje mulye;
Mmwe mmwenna ensolo eziri mu kibira.+
10 Abakuumi be bazibe ba maaso,+ tewali n’omu ku bo alabye.+
Bonna mbwa ezitanyega, ezitasobola kuboggola.+
Bawejjawejja era bagalamidde wansi; banyumirwa kwebaka.
11 Mbwa ezaagala ennyo okulya;
Tebakkuta.
Basumba abatategeera.+
Buli omu akutte kkubo lye;
Buli omu ku bo yeenoonyeza okubaako bye yeefunira mu makubo amakyamu, era agamba nti:
12 “Mujje, ka ndeete omwenge,
Ka tugwekamirire.+
N’olw’enkya lujja kuba ng’olwa leero, era n’okulusinga!”