Okukungubaga
5 Ai Yakuwa, jjukira ekitutuuseeko.
Tunula olabe bwe tuswadde.+
2 Obusika bwaffe buweereddwa abantu be tutamanyi, ennyumba zaffe ziweereddwa abagwira.+
3 Tufuuse bamulekwa abatalina kitaabwe; bannyaffe balinga bannamwandu.+
4 Amazzi ge tunywa gaffe naye tugasasulira,+ n’enku zaffe naye tuzigula buguzi.
5 Abatugoba banaatera okutukwata;
Tukooye naye tebatuganya kuwummula.+
6 Twesigama ku Misiri+ ne Bwasuli+ okufuna emmere etumala.
7 Bajjajjaffe abaayonoona tebakyaliwo, naye ffe tusasulidde ensobi zaabwe.
8 Abaweereza kati be batufuga; tewali ayinza kutununula mu mukono gwabwe.
9 Olw’ekitala ekiri mu ddungu, tussa obulamu bwaffe mu kabi+ nga tugenze okuleeta emmere.
10 Olususu lwaffe lwokya ng’ekyokero, olw’enjala ey’amaanyi.+
11 Baka basajja abali mu Sayuuni n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bafeebezeddwa.*+
12 Buli mukungu yasibibwa omukono n’alengejja,+ era abakadde tebassibwamu kitiibwa.+
13 Abavubuka basitula olubengo, n’abalenzi beesittala olw’okwetikka enku ezizitowa.
14 Abasajja abakadde tebakyatuula ku miryango gya kibuga;+abavubuka tebakyakuba bivuga byabwe.+
15 Tetukyalina ssanyu mu mitima gyaffe; amazina gaffe gafuuse kukungubaga.+
16 Engule evudde ku mutwe gwaffe n’egwa. Zitusanze kubanga twonoonye!
17 Ebyo bireetedde omutima gwaffe okulwala,+
N’amaaso gaffe okuyimbaala,+
18 Olw’okuba Olusozi Sayuuni lufuuse matongo;+ ebibe kati kwe bitambulira.
19 Naye ggwe, Ai Yakuwa, otuula ku ntebe ey’obwakabaka emirembe gyonna.
Entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.+
20 Lwaki otwerabira emirembe gyonna, era n’otwabulira okumala ekiseera ekiwanvu bwe kityo?+
21 Tukomyewo gy’oli, Ai Yakuwa, naffe tujja kudda gy’oli kyeyagalire.+
Ebintu byonna ka bibe nga bwe byabanga edda.+
22 Kyokka, otwesambidde ddala.
Okyatusunguwalidde nnyo.+