LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Nakkumu 2
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Nineeve kya kuzikirizibwa (1-13)

        • “Emiryango gy’emigga giriggulwawo” (6)

Nakkumu 2:1

Footnotes

  • *

    Wano boogera ku Nineeve.

  • *

    Obut., “Munyweze ebiwato byammwe.”

Marginal References

  • +Yer 25:9

Nakkumu 2:2

Marginal References

  • +2Sk 17:6

Nakkumu 2:6

Footnotes

  • *

    Oba, “luligwa.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2007, lup. 9

Nakkumu 2:7

Footnotes

  • *

    Obut., “bakuba emitima gyabwe.”

Nakkumu 2:8

Marginal References

  • +Lub 10:8, 11
  • +Zef 2:13

Nakkumu 2:10

Marginal References

  • +Zef 2:15

Nakkumu 2:11

Marginal References

  • +Yer 2:14, 15; 50:17

Nakkumu 2:13

Marginal References

  • +Is 10:12
  • +Zb 46:9; Is 37:24
  • +2Sk 18:17

General

Nak. 2:1Yer 25:9
Nak. 2:22Sk 17:6
Nak. 2:8Lub 10:8, 11
Nak. 2:8Zef 2:13
Nak. 2:10Zef 2:15
Nak. 2:11Yer 2:14, 15; 50:17
Nak. 2:13Is 10:12
Nak. 2:13Zb 46:9; Is 37:24
Nak. 2:132Sk 18:17
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Nakkumu 2:1-13

Nakkumu

2 Oyo asaasaanya akulumbye.*+

Kuuma ebigo byo.

Tunuulira ekkubo.

Mwenyweze* era mukozese amaanyi gammwe gonna.

 2 Yakuwa alizzaawo ekitiibwa kya Yakobo,

Awamu n’ekitiibwa kya Isirayiri,

Kubanga abanyazi babanyaze;+

Era boonoonye amatabi gaabwe.

 3 Engabo z’abasajja be ab’amaanyi zisiigiddwako langi emmyufu,

Abalwanyi be bambadde engoye eza kasaayi.

Ebyuma ebiri ku magaali ge ag’olutalo byakaayakana ng’omuliro

Ku lunaku lwe yeeteekerateekera olutalo,

N’amafumu ge agaakolebwa mu miti gy’emiberosi gagaluddwa.

 4 Amagaali ge ag’olutalo gagenda gawalabuka mu nguudo.

Geetawulira mu bibangirizi ebya lukale.

Gaakaayakana ng’emimuli, era gamyansa ng’ebimyanso.

 5 Kabaka aliyita abaami be.

Balyesittala nga bagenda.

Banguwa okugenda ku bbugwe we,

Bassaawo emisanvu.

 6 Emiryango gy’emigga giriggulwawo,

Era olubiri lulisaanyizibwawo.*

 7 Kisaliddwawo: Ayanikiddwa,

Atwalibwa mu buwambe, era abazaana be bakaaba,

Bakaaba ng’amayiba nga bwe bakuba mu bifuba byabwe.*

 8 Okuva edda n’edda Nineeve+ kibadde ng’ekidiba ky’amazzi,

Naye kati badduka.

Waliwo ababagamba nti: “Muyimirire! Muyimirire!”

Naye tewali akyuka kutunula mabega.+

 9 Munyage ffeeza, munyage zzaabu!

Eby’obugagga byakyo tebiriiko kkomo.

Kijjudde ebintu ebirungi ebya buli ngeri.

10 Ekibuga kisigadde kyereere, kifuuse matongo, era kyonooneddwa.+

Emitima gyabwe gisaanuuse olw’okutya, amaviivi gaabwe geewese, era bbunwe waabwe akankana,

Bonna bamyukiridde mu maaso.

11 Ekisulo ky’empologoma kiruwa,+ empologoma envubuka mwe ziriira,

Empologoma mw’efuluma ng’ekulembeddemu omwana gwayo,

Nga tewali azitiisa?

12 Empologoma ensajja yayuzaayuzanga omuyiggo n’ewa abaana baayo ebibamala,

Era yatugiranga n’enkazi zaayo omuyiggo.

Yajjuzanga ebinnya byayo omuyiggo,

Era ebifo byayo mwe yeekwekanga yabijjuzanga ensolo ezitaaguddwataaguddwa.

13 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Laba! Ndikulwanyisa,+

Era ndyokya amagaali go ag’olutalo mu mukka,+

Era ekitala kirisaanyaawo empologoma zo envubuka.

Ndimalawo omuyiggo gwo ku nsi,

Era eddoboozi ly’ababaka bo teririddamu kuwulirwa.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share