Yobu
23 Awo Yobu n’addamu nti:
2 “Ne leero nja kweyongera okwemulugunya;+
Mpeddemu amaanyi olw’okusinda.
3 Kale singa mmanyi gye nnyinza okusanga Katonda!+
Nnandigenze gy’abeera.+
4 Nnandyanjudde ensonga zange mu maaso ge,
Era ne nneewozaako;
5 Nnanditegedde engeri gye yandinzizeemu,
Era nnandissizzaayo omwoyo ku by’aŋŋamba.
6 Yandikozesezza obuyinza bwe obungi okumpakanya?
Nedda, yandimpulirizza.+
7 Eyo omugolokofu yanditereezezza ensonga ze naye,
Era Omulamuzi wange yandinnejjeerezza.
8 Naye bwe ŋŋenda ebuvanjuba, simulabayo;
Era bwe nkomawo, simusanga.
9 Bw’aba akolera ku mukono ogwa kkono, simulaba;
Bw’akyuka n’adda ku mukono ogwa ddyo, era sisobola kumulaba.
10 Kyokka amanyi ekkubo lye nkutte.+
Bw’alimala okungezesa, ndiba nga zzaabu alongooseddwa.+
11 Ebigere byange bigoberedde ebigere bye;
Sikyamye kuva mu kkubo lye.+
12 Sivanga ku biragiro bye.
Ebigambo bye mbyagadde nnyo+ n’okusinga ekyo ky’anneetaagisa.*
13 Bw’aba amaliridde okukola ekintu, ani ayinza okumulemesa?+
Bw’aba alina ky’ayagala okukola, akikola.+
14 Kubanga ajja kutuukiriza byonna by’anteekeddeteekedde,
Era abirina mu bungi.
15 Kyenva mmweraliikirira;
Bwe mmulowoozaako, nneeyongera okutya.
16 Katonda aleetedde omutima gwange okutekemuka,
Omuyinza w’Ebintu Byonna andeetedde okutya.
17 Naye ekizikiza tekinsirisizza,
Wadde nga kibisse amaaso gange.