Eseza
4 Moluddekaayi+ bwe yamanya byonna ebyali bikoleddwa,+ n’ayuza ebyambalo bye n’ayambala ebibukutu ne yeeyiira evvu; n’agenda wakati mu kibuga n’atema emiranga. 2 Oluvannyuma yagenda n’akoma ku mulyango gwa kabaka, kubanga tewaali yalina kuyingira mu mulyango gwa kabaka ng’ayambadde ebibukutu. 3 Mu buli ssaza+ ekigambo kya kabaka n’etteeka lye gye byatuuka, waaliyo okukungubaga okw’amaanyi mu Bayudaaya, n’okusiiba,+ n’okukaaba, n’okukuba ebiwoobe. Bangi baagalamira ku bibukutu ne mu vvu.+ 4 Abaweereza ba Eseza abakazi n’abalaawe be bwe baagenda ne bamutegeeza, Nnaabakyala Eseza n’anakuwala nnyo. Awo n’aweereza Moluddekaayi engoye ez’okwambala aggyemu ebibukutu, naye n’azigaana. 5 Eseza n’ayita Kasaki omu ku balaawe ba kabaka, kabaka gwe yali ataddewo okumuweereza, n’amutuma eri Moluddekaayi amubuulire ekyali kibaddewo.
6 Awo Kasaki n’agenda eri Moluddekaayi mu kibangirizi ky’ekibuga mu maaso g’omulyango gwa kabaka. 7 Moluddekaayi n’amubuulira byonna ebyali bimutuuseeko, era n’amutegeeza ne ssente+ Kamani ze yali agambye okuwaayo mu ggwanika lya kabaka Abayudaaya basobole okuzikirizibwa.+ 8 Yamuwa n’ekiwandiiko ekyalimu etteeka eryali liweereddwa mu Susani*+ okubazikiriza. Yali wa kukiraga Eseza, akimunnyonnyole era amugambe+ agende eri kabaka amusabe abakwatirwe ekisa, era ye kennyini amwegayirire ku lw’abantu be.
9 Awo Kasaki n’addayo n’ategeeza Eseza ebyo Moluddekaayi bye yali amugambye. 10 Eseza n’atuma Kasaki agambe Moluddekaayi nti:+ 11 “Abaweereza ba kabaka bonna n’abantu b’omu masaza ga kabaka bakimanyi nti omusajja oba omukazi yenna agenda eri kabaka mu luggya olw’omunda+ nga tayitiddwa, etteeka liragira nti alina okuttibwa, okuggyako nga kabaka amugololedde omuggo gwe ogwa zzaabu.+ Naye nze kati mmaze ennaku 30 nga siyitibwa kugenda eri kabaka.”
12 Bwe baategeeza Moluddekaayi ekyo Eseza kye yali agambye, 13 Moluddekaayi n’addamu Eseza nti: “Tolowooza nti mu Bayudaaya bonna ggwe ojja okuwonawo olw’okuba oli mu nnyumba ya kabaka. 14 Bw’onoosirika mu kiseera kino, obuyambi n’okununulibwa kw’Abayudaaya bijja kuva mu kifo ekirala,+ naye ggwe n’ab’ennyumba ya kitaawo mujja kuzikirira. Era ani amanyi obanga eno ye nsonga lwaki wafuuka nnaabakyala?”+
15 Eseza n’addamu Moluddekaayi nti: 16 “Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susani* musiibe+ ku lwange, era temulya wadde okunywa okumala ennaku ssatu,+ emisana n’ekiro. Nange nja kusiiba awamu n’abaweereza bange abakazi, olwo ndyoke ŋŋende eri kabaka, wadde nga tekikkirizibwa mu mateeka. Bwe nnaaba wa kufa kale nnaafa.” 17 Awo Moluddekaayi n’agenda n’akola byonna Eseza bye yamugamba.