Yobu
12 Awo Yobu n’addamu nti:
2 “Mazima ddala mmwe bantu abamanyi,
Era bwe mulifa amagezi galikoma!
3 Naye nange ntegeera.*
Temunsinga n’akatono.
Ani atamanyi bintu ebyo?
Omuntu omutuukirivu era ataliiko kya kunenyezebwa kaakano asekererwa.
5 Omuntu ateefiirayo akudaalira ababonaabona,
Ng’alowooza nti okubonaabona kw’abo bokka abatateredde.
6 Weema z’abanyazi zirimu emirembe,+
N’abo abanyiiza Katonda tebalina kibatiisa,+
Abo abalina katonda waabwe mu ngalo zaabwe.
7 Naye buuza ebisolo, bijja kukuyigiriza;
Buuza n’ebinyonyi eby’omu bbanga, bijja kukubuulira.
8 Oba weetegereze ensi,* ejja kukuyigiriza;
N’eby’ennyanja ebiri mu nnyanja bijja kukubuulira.
9 Kiruwa ku ebyo byonna ekitamanyi
Nti omukono gwa Yakuwa gwe gukoze kino?
11 Okutu tekugezesa bigambo
Ng’olulimi bwe lulega ku mmere?+
12 Abakadde si be baba n’amagezi,+
Era abo abawangadde si be baba n’okutegeera?
14 Bw’amenya ekintu, tekiyinza kuddamu kuzimbibwa;+
Ky’aggala tewali ayinza kukiggula.
16 Alina amaanyi n’amagezi;+
Oyo awaba n’oyo awabya bombi babe;
17 Aleetera abawi b’amagezi okutambula nga tebambadde ngatto,*
Era n’abalamuzi abafuula basirusiru.+
18 Asumulula enjegere za bakabaka,+
N’abasiba enkoba mu biwato.
19 Aleetera bakabona okutambula nga tebambadde ngatto,+
Era aggyako abafuzi abanyweredde mu buyinza;+
20 Asirisa abawi b’amagezi abantu be beesiga,
N’abakadde abaggyako okutegeera;
21 Ab’ekitiibwa abaleetera okunyoomebwa,+
Era ab’amaanyi abafuula banafu;*
22 Abikkula ebintu eby’ebuziba ebiri mu kizikiza,+
Amulisa ekitangaala mu bifo ebikutte ekizikiza;
23 Amawanga agafuula ga maanyi agazikirize;
Agaziya amawanga agatwale mu buwaŋŋanguse.