Yobu
5 “Kale koowoola! Waliwo omuntu yenna akuyitaba?
Ani ku batukuvu gw’onookoowoola?
2 Kubanga okusiba ekiruyi kujja kutta omusirusiru,
N’obuggya bujja kutta oyo atalina magezi.
3 Ndabye omusirusiru ng’asimba amakanda,
Naye mangu ddala ekifo w’abeera ne kikolimirwa.
4 Abaana be tebalina bukuumi bwonna,
Era babetentebwa ku mulyango gw’ekibuga+ nga tewali abataasa.
5 By’akungula biriibwa alumwa enjala,
Abiggya ne mu maggwa,
Era ebintu byabwe bigwa mu mutego.
6 Kubanga ebintu eby’akabi tebimeruka mu nfuufu,
Era emitawaana tegiva mu ttaka.
7 Kubanga omuntu azaalirwa kubonaabona,
Ng’ensasi z’omuliro bwe zimansuka waggulu.
8 Naye nnandijulidde eri Katonda,
Era Katonda gwe nnandyanjulidde ensonga zange,
9 Oyo akola ebikulu era ebitanoonyezeka,
Akola ebintu eby’ekitalo ebitabalika.
10 Atonnyesa enkuba ku nsi
N’afukirira ennimiro.
11 Agulumiza abeetoowaze,
N’abennyamivu abagulumiza ne bafuna obulokozi.
12 Alemesa enteekateeka z’ab’enkwe,
Emirimu gy’emikono gyabwe ne gigwa butaka.
13 Akwasa abagezi mu bukujjukujju bwabwe,+
Enteekateeka z’abagezigezi ne zigootaana.
14 Baba mu kizikiza emisana,
Era bawammanta mu ttuntu nga gy’obeera kiro.
15 Awonya omuntu ekitala ekiva mu kamwa kaabwe,
N’omwavu amuwonya mu mukono gw’ow’amaanyi,
16 Olwo omunaku n’aba n’essuubi,
Naye akamwa k’abatali batuukirivu ne kaziba.
17 Laba! Alina essanyu oyo Katonda gw’anenya;
Kale togaananga kukangavvulwa Omuyinza w’Ebintu Byonna!
18 Kubanga aleeta obulumi, naye n’asiba ebiwundu;
Amenya, naye n’awonya n’emikono gye.
19 Ajja kukuwonya emitawaana mukaaga,
N’ogw’omusanvu tegujja kukukolako kabi.
20 Anaakununula mu kufa ng’enjala egudde,
Ne mu lutalo anaakuwonya ekitala.
21 Anaakuwonya olulimi olukuba,+
Era okuzikirira bwe kunajja, tookutye.
22 Ojja kusekereranga okuzikirira n’enjala,
Era ensolo z’omu nsiko toozitye.
23 Amayinja g’oku ttale tegajja kukutuusaako kabi,*
Era onoobanga mu mirembe n’ensolo z’omu nsiko.
24 Ojja kumanya nti weema yo eri mu mirembe,*
Bw’onoolambulanga eddundiro lyo tewali ky’onoosanga nga kibuze.
25 Ojja kuba n’abaana bangi,
Era bazzukulu bo bajja kuba bangi ng’omuddo gw’oku ttale.
26 Oligenda mu ntaana ng’okyalina amaanyi,
Ng’ebinywa by’emmere ey’empeke ekunguddwa mu kiseera kyayo.
27 Laba! Bino tubinoonyerezzaako, era bituufu.
Wuliriza era bikkirize.”