LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 47
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Omugga ogukulukuta nga guva mu yeekaalu (1-12)

        • Amazzi gagenda geeyongera obuwanvu (2-5)

        • Amazzi g’omu Nnyanja Enfu galongooka (8-10)

        • Entobazi tezirongooka (11)

        • Emiti gya kuvaako ebibala n’eddagala (12)

      • Ensalo z’ensi (13-23)

Ezeekyeri 47:1

Marginal References

  • +Ezk 41:2
  • +Zek 13:1; 14:8; Kub 22:1

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 202-203, 205-207, 208-209

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2007, lup. 22-23

    3/1/1999, lup. 19-20, 27-29

    12/1/1988, lup. 20

Ezeekyeri 47:2

Marginal References

  • +Ezk 40:20
  • +Ezk 40:6; 44:1, 2

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 206

Ezeekyeri 47:3

Footnotes

  • *

    Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Ezk 40:3; Kub 21:15

Ezeekyeri 47:5

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 202-203, 206-207, 208-209

Ezeekyeri 47:7

Marginal References

  • +Kub 22:1, 2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1999, lup. 19-20

Ezeekyeri 47:8

Footnotes

  • *

    Oba, “mu ddungu.”

  • *

    Ennyanja Enfu.

Marginal References

  • +Ma 4:47, 49
  • +Zek 14:8

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 202-205, 209-210

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 20

Ezeekyeri 47:9

Footnotes

  • *

    Obut., “emigga ebiri we ginaakulukutira.”

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 202-207, 209-210

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2007, lup. 23

    3/1/1999, lup. 19-20, 27-28, 30, 31-32

    12/1/1988, lup. 20

Ezeekyeri 47:10

Footnotes

  • *

    Ennyanja Meditereniyani.

Marginal References

  • +Yos 15:20, 62; 2By 20:2
  • +Kbl 34:2, 6

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 203-205

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1999, lup. 30

Ezeekyeri 47:11

Marginal References

  • +Ma 29:22, 23; Zb 107:33, 34; Yer 17:6

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 203-208, 209-210

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2007, lup. 23

    3/1/1999, lup. 30, 31-32

Ezeekyeri 47:12

Marginal References

  • +Ezk 47:1
  • +Kub 22:1, 2

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 202-203, 205-206, 207-208, 210

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2007, lup. 23

    3/1/1999, lup. 30, 31-32

    12/1/1988, lup. 20

Ezeekyeri 47:13

Marginal References

  • +Lub 48:5; 1By 5:1; Ezk 48:5

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 213-215

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1999, lup. 26-27, 32

    12/1/1988, lup. 16, 20

Ezeekyeri 47:14

Footnotes

  • *

    Obut., “kukisikira, buli omu nga muganda we.”

Marginal References

  • +Lub 26:3; 28:13

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 213-216

Ezeekyeri 47:15

Marginal References

  • +Ezk 48:1
  • +Kbl 34:2, 8

Ezeekyeri 47:16

Marginal References

  • +Kbl 13:21
  • +2Sa 8:8
  • +Ezk 47:18

Ezeekyeri 47:17

Marginal References

  • +Kbl 34:2, 9
  • +Ezk 48:1

Ezeekyeri 47:18

Footnotes

  • *

    Ennyanja Enfu.

Marginal References

  • +Kbl 32:1

Ezeekyeri 47:19

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, Ekiwonvu ky’e Misiri.

Marginal References

  • +Ma 32:51
  • +Ezk 48:28

Ezeekyeri 47:20

Footnotes

  • *

    Oba, “awayingirirwa e Kamasi.”

Marginal References

  • +Kbl 34:2, 8

Ezeekyeri 47:22

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 216-217

General

Ezk. 47:1Ezk 41:2
Ezk. 47:1Zek 13:1; 14:8; Kub 22:1
Ezk. 47:2Ezk 40:20
Ezk. 47:2Ezk 40:6; 44:1, 2
Ezk. 47:3Ezk 40:3; Kub 21:15
Ezk. 47:7Kub 22:1, 2
Ezk. 47:8Ma 4:47, 49
Ezk. 47:8Zek 14:8
Ezk. 47:10Yos 15:20, 62; 2By 20:2
Ezk. 47:10Kbl 34:2, 6
Ezk. 47:11Ma 29:22, 23; Zb 107:33, 34; Yer 17:6
Ezk. 47:12Ezk 47:1
Ezk. 47:12Kub 22:1, 2
Ezk. 47:13Lub 48:5; 1By 5:1; Ezk 48:5
Ezk. 47:14Lub 26:3; 28:13
Ezk. 47:15Ezk 48:1
Ezk. 47:15Kbl 34:2, 8
Ezk. 47:16Kbl 13:21
Ezk. 47:162Sa 8:8
Ezk. 47:16Ezk 47:18
Ezk. 47:17Kbl 34:2, 9
Ezk. 47:17Ezk 48:1
Ezk. 47:18Kbl 32:1
Ezk. 47:19Ma 32:51
Ezk. 47:19Ezk 48:28
Ezk. 47:20Kbl 34:2, 8
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 47:1-23

Ezeekyeri

47 Awo n’anzizaayo ku mulyango oguyingira mu yeekaalu,+ ne ndaba amazzi nga gava wansi w’omulyango gwa yeekaalu,+ nga gakulukuta nga gadda ebuvanjuba, kubanga yeekaalu yali etunudde buvanjuba. Amazzi gaali gakulukuta nga gava wansi ku ludda olwa ddyo olwa yeekaalu, ebukiikaddyo w’ekyoto.

2 Awo n’anfulumya ng’ampisa mu mulyango ogw’ebukiikakkono,+ n’antwala ebweru n’anneetoolooza okutuuka ku mulyango gw’ebweru ogutunudde ebuvanjuba,+ ne ndaba amazzi agakulukuta okuva ku luuyi olwa ddyo.

3 Omusajja n’agenda ku luuyi olw’ebuvanjuba, ng’akutte omuguwa ogupima,+ n’apima emikono* 1,000, n’ampisa mu mazzi; amazzi gaali gankoma mu bukongovvule.

4 N’apima nate emikono emirala 1,000, n’ampisa mu mazzi, era gaali gankoma mu maviivi.

N’apima emikono emirala 1,000, n’ampisa mu mazzi, era gaali gankoma mu kiwato.

5 Bwe yapima nate emikono emirala 1,000, amazzi gaali ng’omugga, nga siyinza kugusomoka; olw’okuba amazzi gaali mawanvu nnyo, ng’omuntu alina kuwuga buwuzi, nga tasobola kugayitamu ku bigere.

6 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, ekyo okirabye?”

Awo n’aŋŋamba ntambule nzireyo ku lubalama lw’omugga. 7 Bwe nnaddayo, ne ndaba nga ku lubalama lw’omugga kuliko emiti mingi ku njuyi zaagwo zombi.+ 8 Awo n’aŋŋamba nti: “Amazzi gano gakulukuta nga gadda ebuvanjuba, ne gaserengeta ne gayita mu Alaba,*+ ne gayiika mu nnyanja.* Bwe gatuuka mu nnyanja,+ amazzi gaayo ne galongooka. 9 Mu buli kifo amazzi ago gye ganaakulukutira* ebibinja by’ebiramu bijja kusobola okuba ebiramu. Ejja kubaayo ebyennyanja bingi nnyo olw’okuba amazzi ago gajja kukulukutirayo. Amazzi g’ennyanja gajja kulongooka, era ebintu byonna bijja kuba biramu yonna omugga guno gye gunaatuuka.

10 “Abavubi bajja kuyimirira ku mabbali g’ennyanja okuva Eni-gedi+ okutuuka Enegulayimu, awajja okuba ekifo eky’okwanikamu obutimba. Wajja kubaayo ebika by’ebyennyanja bingi, ng’ebyennyanja ebiri mu Nnyanja Ennene.*+

11 “Ennyanja eyo ejja kuba n’ebisenyi n’entobazi, era ebyo tebijja kulongooka. Bijja kufuuka bya lunnyo.+

12 “Emiti egya buli ngeri egy’ebibala ebiriibwa gijja kumera eruuyi n’eruuyi ku lubalama lw’omugga ogwo. Ebikoola byagyo tebijja kuwotoka era tegiireme kussaako bibala. Buli mwezi gijja kubala ebibala ebiggya, kubanga gifuna amazzi agakulukuta okuva mu kifo ekitukuvu.+ Ebibala byagyo binaabanga mmere, ate ebikoola byagyo binaabanga ddagala eriwonya.”+

13 Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Kino kye kitundu kye mujja okugabanyizaamu ebika 12 ebya Isirayiri okuba obusika bwabwe, era Yusufu ajja kufuna emigabo ebiri.+ 14 Mujja kukisikira era mufune emigabo egyenkanankana.* Nnalayira ensi eno okugiwa bajjajjammwe+ era kaakano ebaweereddwa okuba obusika bwammwe.

15 “Eno ye nsalo y’ensi ku luuyi olw’ebukiikakkono: Eva ku Nnyanja Ennene n’eyita ku kkubo erigenda e Kesulooni+ okwolekera e Zedada,+ 16 e Kamasi,+ e Berosa,+ n’e Sibulayimu, ekiri wakati w’ensalo ya Ddamasiko ne Kamasi, n’etuuka e Kazeru-kattikoni ekiri ku nsalo ya Kawulaani.+ 17 Kale ensalo ejja kuva ku nnyanja etuuke e Kazalu-enaani,+ ekiri ku nsalo ya Ddamasiko ku luuyi olw’ebukiikakkono, n’ensalo y’e Kamasi.+ Eno ye nsalo ey’ebukiikakkono.

18 “Ensalo ey’ebuvanjuba ejja kuva wakati wa Kawulaani ne Ddamasiko eyite ku Yoludaani wakati wa Gireyaadi+ n’ensi ya Isirayiri. Mujja kupima okuva ku nsalo okutuuka ku nnyanja ey’ebuvanjuba.* Eyo ye nsalo ey’ebuvanjuba.

19 “Ensalo ey’ebukiikaddyo ejja kuva e Tamali etuuke ku mazzi g’e Meribasu-kadesi,+ awo egende mu Kiwonvu* yeeyongereyo ku Nnyanja Ennene.+ Eyo ye nsalo ey’ebukiikaddyo.

20 “Ku ludda olw’ebugwanjuba eriyo Ennyanja Ennene, okuva ku nsalo okutuuka mu kifo ekitunuuliganye ne Lebo-kamasi.*+ Eyo ye nsalo ey’ebugwanjuba.”

21 “Mujja kugabana ensi eno, mujja kugigabana okusinziira ku bika 12 ebya Isirayiri. 22 Mujja kugigabanyaamu ebe obusika gye muli n’eri abagwira ababeera mu mmwe, abazaalidde mu mmwe abaana, era mujja kubatwala ng’enzaalwa za Isirayiri. Bajja kuweebwa obusika mu bika bya Isirayiri awamu nammwe. 23 Omugwira mujja kumuwa obusika mu kitundu ky’ekika mwe yasenga,” bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share