LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zekkaliya 14
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okusinza okw’amazima kwe kulibaawo kwokka (1-21)

        • Olusozi lw’Emizeyituuni lulibejjukamu wakati (4)

        • Yakuwa aliba omu, era n’erinnya lye liriba limu (9)

        • Ekibonyoobonyo ekirituuka ku balabe ba Yerusaalemi (12-15)

        • Okukwata Embaga ey’Ensiisira (16-19)

        • Buli ntamu eriba ntukuvu mu maaso ga Yakuwa (20, 21)

Zekkaliya 14:1

Footnotes

  • *

    Kino kibuga ekyogerwako mu lunyiriri 2.

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2013, lup. 18

Zekkaliya 14:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2013, lup. 18-19

    7/1/1996, lup. 20-21, 22-23

Zekkaliya 14:3

Marginal References

  • +Ezk 38:23; Yow. 3:2, 14; Kub 16:14
  • +Kuv 15:3; 2By 20:15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2013, lup. 20

    7/1/1996, lup. 22-23

Zekkaliya 14:4

Footnotes

  • *

    Obut., “okutuuka ku nnyanja.”

Marginal References

  • +Luk 19:29; Bik 1:12

Indexes

  • Research Guide

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    12/2017, lup. 4

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2013, lup. 19

Zekkaliya 14:5

Marginal References

  • +Am 1:1
  • +Ma 33:2; Yow. 3:11; Yud 14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2013, lup. 19-20

Zekkaliya 14:6

Marginal References

  • +Is 13:9, 10; Am 5:18

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2013, lup. 20

Zekkaliya 14:7

Marginal References

  • +Yow. 2:31; 1Se 5:2; 2Pe 3:10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2006, lup. 17

Zekkaliya 14:8

Footnotes

  • *

    Ennyanja Enfu.

  • *

    Ennyanja Meditereniyani.

Marginal References

  • +Kub 21:6; 22:17
  • +Yer 17:13; Ezk 47:1; Yow. 3:18; Kub 22:1
  • +Ma 3:17
  • +Yos 1:4

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 204

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2013, lup. 21

    5/1/2006, lup. 17

Zekkaliya 14:9

Marginal References

  • +Zb 97:1; Kub 19:6
  • +Ma 6:4
  • +Is 42:8; 44:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2006, lup. 17

    7/1/1996, lup. 23

Zekkaliya 14:10

Marginal References

  • +Ma 1:7
  • +1Sk 15:22
  • +1By 4:24, 32
  • +Yer 30:18
  • +Yer 37:13
  • +Nek 3:1; Yer 31:38

Zekkaliya 14:11

Marginal References

  • +Is 60:18; Yer 31:40
  • +Yer 23:6; 33:16

Zekkaliya 14:12

Marginal References

  • +2Sk 19:34, 35; Yow. 3:2

Indexes

  • Research Guide

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    12/2017, lup. 4

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2013, lup. 20

    7/1/1996, lup. 23

Zekkaliya 14:13

Marginal References

  • +Bal 7:22; Ezk 38:21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1996, lup. 23

Zekkaliya 14:14

Marginal References

  • +2By 14:13; 20:25; Zek 2:8, 9

Zekkaliya 14:15

Indexes

  • Research Guide

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    12/2017, lup. 4

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2013, lup. 20

Zekkaliya 14:16

Footnotes

  • *

    Oba, “okusinza.”

Marginal References

  • +Is 66:23
  • +Zb 86:9
  • +Lev 23:34; Nek 8:14, 15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1996, lup. 23

Zekkaliya 14:17

Marginal References

  • +Is 60:12

Zekkaliya 14:20

Footnotes

  • *

    Oba, “Entamu ez’emimwa emigazi.”

Marginal References

  • +Kuv 28:36; 39:30
  • +1Sa 2:13, 14
  • +Kuv 25:29; Kbl 4:7

Zekkaliya 14:21

Footnotes

  • *

    Oba, “Entamu ez’emimwa emigazi.”

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “musuubuzi.”

Marginal References

  • +Ezk 44:9

General

Zek. 14:3Ezk 38:23; Yow. 3:2, 14; Kub 16:14
Zek. 14:3Kuv 15:3; 2By 20:15
Zek. 14:4Luk 19:29; Bik 1:12
Zek. 14:5Am 1:1
Zek. 14:5Ma 33:2; Yow. 3:11; Yud 14
Zek. 14:6Is 13:9, 10; Am 5:18
Zek. 14:7Yow. 2:31; 1Se 5:2; 2Pe 3:10
Zek. 14:8Kub 21:6; 22:17
Zek. 14:8Yer 17:13; Ezk 47:1; Yow. 3:18; Kub 22:1
Zek. 14:8Ma 3:17
Zek. 14:8Yos 1:4
Zek. 14:9Zb 97:1; Kub 19:6
Zek. 14:9Ma 6:4
Zek. 14:9Is 42:8; 44:6
Zek. 14:10Ma 1:7
Zek. 14:101Sk 15:22
Zek. 14:101By 4:24, 32
Zek. 14:10Yer 30:18
Zek. 14:10Yer 37:13
Zek. 14:10Nek 3:1; Yer 31:38
Zek. 14:11Is 60:18; Yer 31:40
Zek. 14:11Yer 23:6; 33:16
Zek. 14:122Sk 19:34, 35; Yow. 3:2
Zek. 14:13Bal 7:22; Ezk 38:21
Zek. 14:142By 14:13; 20:25; Zek 2:8, 9
Zek. 14:16Is 66:23
Zek. 14:16Zb 86:9
Zek. 14:16Lev 23:34; Nek 8:14, 15
Zek. 14:17Is 60:12
Zek. 14:20Kuv 28:36; 39:30
Zek. 14:201Sa 2:13, 14
Zek. 14:20Kuv 25:29; Kbl 4:7
Zek. 14:21Ezk 44:9
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Zekkaliya 14:1-21

Zekkaliya

14 “Laba! Olunaku lujja, olunaku lwa Yakuwa, ebirinyagibwa mu ggwe lwe birigabanirwa mu ggwe.* 2 Ndikuŋŋaanya amawanga gonna okulwanyisa Yerusaalemi; ekibuga kiriwambibwa, amayumba galinyagibwa, n’abakazi balikwatibwa. Kimu kya kubiri eky’abantu b’omu kibuga baligenda mu buwaŋŋanguse, naye abalisigalawo tebaliggibwa mu kibuga.

3 “Yakuwa aligenda n’alwanyisa amawanga ago+ nga bwe yalwana ku lunaku olw’olutalo.+ 4 Ku lunaku olwo ebigere bye biriyimirira ku Lusozi olw’Emizeyituuni+ oluli mu maaso ga Yerusaalemi, ku luuyi olw’ebuvanjuba; Olusozi olw’Emizeyituuni lulibejjukamu wakati ebitundu bibiri okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba,* ne wajjawo ekiwonvu ekinene ennyo, era ekitundu ekimu eky’olusozi kiridda ku luuyi olw’ebukiikakkono, ate ekitundu ekirala ne kidda ku luuyi olw’ebukiikaddyo. 5 Muliddukira mu kiwonvu ekiriba wakati w’ensozi zange, kubanga ekiwonvu ekyo kirituukira ddala e Azeri. Mulidduka nga bwe mwadduka olwa musisi eyaliwo mu kiseera kya Uzziya kabaka wa Yuda;+ era Yakuwa Katonda wange alijja, era abatukuvu bonna baliba wamu naye.+

6 “Ku lunaku olwo tewalibaawo kitangaala kya maanyi+—ebintu biriba byekutte wamu. 7 Olunaku olwo luliba lunaku olumanyiddwa ng’olunaku lwa Yakuwa.+ Tebuliba misana ate tebuliba kiro; ne bwe bulituuka akawungeezi walibaawo ekitangaala. 8 Ku lunaku olwo amazzi amalamu+ galikulukuta nga gava mu Yerusaalemi.+ Ekitundu kyago ekimu kirikulukutira mu nnyanja ey’ebuvanjuba,*+ ate ekirala mu nnyanja ey’ebugwanjuba.*+ Ekyo kiribaawo mu kiseera eky’omusana ne mu kiseera eky’obutiti. 9 Yakuwa aliba kabaka w’ensi yonna.+ Ku lunaku olwo Yakuwa aliba omu,+ era n’erinnya lye liriba limu.+

10 “Ensi yonna erifuuka ng’ekiwonvu kya Alaba,+ okuva e Geba+ okutuuka e Limmoni+ ekiri ebukiikaddyo wa Yerusaalemi. Yerusaalemi kiriyimuka ne kibeera mu kifo kyakyo, era kiribeeramu abantu,+ okuva ku Mulyango gwa Benyamini+ okutuuka ku Mulyango Ogusooka, n’okutuukira ddala ku mulyango ogw’oku Nsonda; era n’okuva ku Munaala gwa Kananeri+ okutuukira ddala ku masogolero ga kabaka. 11 Abantu balikibeeramu; era tewaliddamu kubaayo kikolimo kya kuzikirizibwa,+ era abantu balibeera mu Yerusaalemi mu mirembe.+

12 “Kino kye kibonyoobonyo Yakuwa ky’alireeta ku bantu b’amawanga gonna agalirwanyisa Yerusaalemi:+ Emibiri gyabwe girivunda nga bakyayimiridde ku magulu gaabwe; amaaso gaabwe galivundira mu nkompe zaago, n’ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe.

13 “Ku lunaku olwo okutabulwatabulwa okuva eri Yakuwa kulibuna mu bo; balirwanagana era buli omu alirumba munne.+ 14 Yuda nayo eryenyigira mu lutalo olulibeera e Yerusaalemi. Obugagga bw’amawanga gonna ageetooloddewo bulikuŋŋaanyizibwa: zzaabu ne ffeeza n’ebyambalo, nga bingi nnyo nnyini.+

15 “Ekibonyoobonyo ekiringa ekyo kirijjira embalaasi n’ennyumbu n’eŋŋamira n’endogoyi n’ensolo eza buli kika eziriba mu nsiisira ezo.

16 “Abo bonna abalisigalawo okuva mu mawanga gonna agalumba Yerusaalemi baligendanga buli mwaka+ okuvunnamira* Kabaka, Yakuwa ow’eggye,+ n’okukwata Embaga ey’Ensiisira.+ 17 Naye omuntu yenna mu mawanga gonna ag’ensi ataligenda Yerusaalemi kuvunnamira Kabaka, Yakuwa ow’eggye, talifuna nkuba.+ 18 Abantu b’e Misiri bwe bataligenda ne bayingira mu kibuga, nabo tebalifuna nkuba. Yakuwa alibaleetako ekibonyoobonyo ky’alireeta ku mawanga agataligenda kukwata Mbaga ey’Ensiisira. 19 Ekyo kye kibonerezo Misiri ky’erifuna olw’ekibi kyayo, era ekyo kye kibonerezo amawanga gonna agataligenda kukwata Mbaga ey’Ensiisira kye galifuna olw’ekibi kyago.

20 “Ku lunaku olwo, ebigambo ‘Obutukuvu bwa Yakuwa!’+ biriwandiikibwa ku bide ebisibwa ku mbalaasi. Entamu*+ ez’omu nnyumba ya Yakuwa ziriba ng’ebbakuli+ mu maaso g’ekyoto. 21 Entamu* zonna mu Yerusaalemi ne mu Yuda ziriba ntukuvu era nga za Yakuwa ow’eggye, era abo bonna abawaayo ssaddaaka balijja ne bazifumbiramu. Mu kiseera ekyo ennyumba ya Yakuwa ow’eggye teriddamu kubeeramu Mukanani.”*+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share