LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Bassekabaka 1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Eriya alagula okufa kwa Akaziya (1-18)

2 Bassekabaka 1:1

Marginal References

  • +Lub 19:36, 37; 2Sa 8:2; Zb 60:8

2 Bassekabaka 1:2

Marginal References

  • +Yos 13:2, 3; 1Sa 5:10
  • +2Sk 1:16

2 Bassekabaka 1:3

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Katonda Wange Ye Yakuwa.”

Marginal References

  • +1Sk 17:1; 18:36
  • +Is 8:19; Yer 2:11

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2014

2 Bassekabaka 1:6

Marginal References

  • +1By 10:13, 14

2 Bassekabaka 1:8

Marginal References

  • +1Sk 19:19; Zek 13:4; Beb 11:32, 37
  • +Mat 3:4

2 Bassekabaka 1:9

Marginal References

  • +Ma 33:1

2 Bassekabaka 1:10

Marginal References

  • +Kbl 11:1; 16:35; Luk 9:54; Yud 7

2 Bassekabaka 1:16

Marginal References

  • +Yos 13:2, 3
  • +2Sk 1:3

2 Bassekabaka 1:17

Marginal References

  • +2Sk 3:1; 9:22
  • +2Sk 8:16

2 Bassekabaka 1:18

Marginal References

  • +1Sk 22:51

General

2 Bassek. 1:1Lub 19:36, 37; 2Sa 8:2; Zb 60:8
2 Bassek. 1:2Yos 13:2, 3; 1Sa 5:10
2 Bassek. 1:22Sk 1:16
2 Bassek. 1:31Sk 17:1; 18:36
2 Bassek. 1:3Is 8:19; Yer 2:11
2 Bassek. 1:61By 10:13, 14
2 Bassek. 1:81Sk 19:19; Zek 13:4; Beb 11:32, 37
2 Bassek. 1:8Mat 3:4
2 Bassek. 1:9Ma 33:1
2 Bassek. 1:10Kbl 11:1; 16:35; Luk 9:54; Yud 7
2 Bassek. 1:16Yos 13:2, 3
2 Bassek. 1:162Sk 1:3
2 Bassek. 1:172Sk 3:1; 9:22
2 Bassek. 1:172Sk 8:16
2 Bassek. 1:181Sk 22:51
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Bassekabaka 1:1-18

2 Bassekabaka

1 Oluvannyuma lw’okufa kwa Akabu, Mowaabu+ yajeemera Isirayiri.

2 Mu kiseera ekyo Akaziya yawanuka waggulu n’ayita mu kitindiro eky’ekisenge ekya waggulu ku nnyumba ye mu Samaliya n’agwa wansi n’alumizibwa nnyo. Awo n’atuma ababaka n’abagamba nti: “Mugende mwebuuze ku Bbaali-zebubi katonda wa Ekulooni,+ mmanye obanga nnaawona ebisago bino.”+ 3 Naye malayika wa Yakuwa n’agamba Eriya*+ Omutisubi nti: “Situka ogende osisinkane ababaka ba kabaka wa Samaliya obagambe nti, ‘Mu Isirayiri temuli Katonda, mulyoke mugende okwebuuza ku Bbaali-zebubi katonda wa Ekulooni?+ 4 Kale nno bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Tojja kuva ku kitanda ky’oliko, kubanga ojja kufa.”’” Eriya n’agenda.

5 Ababaka bwe baddayo eri kabaka, n’ababuuza nti: “Kiki ekibakomezzaawo?” 6 Ne bamuddamu nti: “Waliwo omusajja atusisinkanye n’atugamba nti: ‘Muddeeyo eri kabaka abatumye, mumugambe nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Mu Isirayiri temuli Katonda olyoke otume ababaka okwebuuza ku Bbaali-zebubi katonda wa Ekulooni? Kale nno tojja kuva ku kitanda ky’oliko, kubanga ojja kufa.’”’”+ 7 Awo kabaka n’abagamba nti: “Omusajja abasisinkanye n’abagamba ebigambo ebyo abadde afaanana atya?” 8 Ne bamugamba nti: “Omusajja abadde ayambadde ekyambalo eky’ebyoya,+ era nga yeesibye mu kiwato olukoba olw’eddiba.”+ Kabaka n’agamba nti: “Oyo abadde Eriya Omutisubi.”

9 Awo kabaka n’atumira Eriya omukulu eyali akulira 50 ng’ali wamu n’abasajja be 50. Bwe yayambuka gye yali, yamusanga atudde waggulu ku lusozi, n’amugamba nti: “Ggwe omusajja wa Katonda ow’amazima,+ kabaka agambye nti, ‘Serengeta.’” 10 Naye Eriya n’agamba eyali akulira 50 nti: “Bwe mba nga ndi musajja wa Katonda, omuliro ka guve mu ggulu+ gukwokye ggwe n’abasajja bo 50.” Omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya n’abasajja be 50.

11 Awo Kabaka n’addamu n’atumira Eriya omusajja omulala eyali akulira 50 ng’ali wamu n’abasajja be 50. Yagenda n’amugamba nti: “Ggwe omusajja wa Katonda ow’amazima, kabaka agambye nti, ‘Serengeta mangu.’” 12 Naye Eriya n’abaddamu nti: “Bwe mba nga ndi musajja wa Katonda ow’amazima, omuliro ka guve mu ggulu gukwokye ggwe n’abasajja bo 50.” Omuliro gwa Katonda ne guva mu ggulu ne gumwokya n’abasajja be 50.

13 Kabaka era n’addamu n’atumira Eriya omukulu omulala ow’okusatu eyali akulira 50, ng’ali wamu n’abasajja be 50. Naye omukulu ow’okusatu eyali akulira abasajja 50 n’ayambuka n’afukamira mu maaso ga Eriya n’amwegayirira amukwatirwe ekisa, ng’agamba nti: “Omusajja wa Katonda ow’amazima, nkwegayiridde, obulamu bwange n’obulamu bw’abaweereza bo bano 50 ka bubeere bwa muwendo mu maaso go. 14 Kubanga omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abakulira 50 ababiri abaasoose awamu n’ebibinja byabwe eby’abasajja 50, naye kaakano obulamu bwange ka bubeere bwa muwendo mu maaso go.”

15 Awo malayika wa Yakuwa n’agamba Eriya nti: “Genda naye. Tomutya.” N’ayimuka n’agenda naye eri kabaka. 16 Eriya n’agamba kabaka nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Watuma ababaka okwebuuza ku Bbaali-zebubi katonda wa Ekulooni.+ Wakikola lwa kuba nti mu Isirayiri temuli Katonda?+ Lwaki tewamwebuuzaako? Kale tojja kuva ku kitanda ky’oliko, kubanga ojja kufa.’” 17 Awo Akaziya n’afa, ng’ekigambo kya Yakuwa bwe kyali Eriya kye yayogera; era olw’okuba Akaziya teyalina mwana wa bulenzi, muganda we Yekolaamu+ n’amusikira ku bwakabaka mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwa Yekolaamu+ mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda.

18 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Akaziya,+ ebyo bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Isirayiri.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share