Yobu
26 Awo Yobu n’addamu nti:
2 “Ng’oyambye oyo atalina maanyi!
Ng’olokodde omukono ogutalina maanyi!+
3 Amagezi g’owadde oyo atalina magezi nga mangi nnyo,+
Ng’omanyisizza amagezi go!
4 Ani gw’ogezaako okwogera naye,
Era ani eyakuleetedde okwogera ebigambo ng’ebyo?*
5 Abaafa bakankana;
Bali wansi n’okusinga amazzi n’ebyo ebigalimu.
7 Abamba eggulu ery’ebukiikakkono* mu bbanga ejjereere.+
Era awanika ensi awatali kigiwanirira.
10 Ateeka ensalo ku mazzi;+
Ateekawo ensalo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza.
11 Empagi z’eggulu zeenyeenya;
Bw’akangula ku ddoboozi zikankana.
12 Afuukuula ennyanja ng’akozesa amaanyi ge,+
Era ng’akozesa okutegeera kwe, amenyaamenya ogusolo ogunene ogw’omu nnyanja.*+
13 Omukka gw’assa gwerula eggulu;
Engalo ze zifumita omusota omuzibu okukwata.
14 Naye ebyo bitono nnyo ku ebyo by’akola;
Bye tumuwulirako bye bitono ddala.+
Kale ani ayinza okutegeera engeri gy’aleeteramu eggulu okubwatuka n’amaanyi?”+