LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 32
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Kabaka n’abaami balifuga okuleetawo obwenkanya obwa nnamaddala (1-8)

      • Abakazi abateefiirayo balabulwa (9-14)

      • Emikisa egirifunibwa ng’omwoyo gufukiddwa (15-20)

Isaaya 32:1

Marginal References

  • +Lub 49:10; Zb 2:6; Luk 1:32, 33; Yok 1:49
  • +Zb 45:6; 72:1; Is 9:7; 11:4, 5; Yer 23:5; Zek 9:9; Beb 1:9; Kub 19:11

Indexes

  • Research Guide

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 164-166

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2007, lup. 16

    3/1/1999, lup. 25

    12/1/1995, lup. 21-23

Isaaya 32:2

Footnotes

  • *

    Oba, “eky’okuddukiramu.”

Marginal References

  • +Is 35:6

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 20

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    1/2017, lup. 3

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2014, lup. 16

    3/1/1999, lup. 25

    12/1/1995, lup. 21-23

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 166-167

    Emirembe n’Obutebenkevu, lup. 184-185

Isaaya 32:4

Marginal References

  • +Is 35:6

Isaaya 32:6

Marginal References

  • +Mi 2:1

Isaaya 32:7

Marginal References

  • +Yer 5:26; Mi 7:3
  • +1Sk 21:9, 10

Isaaya 32:9

Marginal References

  • +Is 3:16

Isaaya 32:10

Marginal References

  • +Kuk 2:12; Zef 1:13

Isaaya 32:11

Marginal References

  • +Is 3:24

Isaaya 32:13

Marginal References

  • +Is 22:2; Kuk 2:15

Isaaya 32:14

Marginal References

  • +2Sk 25:9, 10
  • +2By 27:1, 3; Nek 3:26
  • +Is 27:10

Isaaya 32:15

Marginal References

  • +Is 44:3
  • +Is 29:17; 35:1, 2

Isaaya 32:16

Marginal References

  • +Is 42:1, 4; 60:21

Isaaya 32:17

Marginal References

  • +Zb 119:165; Is 55:12
  • +Ezk 37:26; Mi 4:3, 4

Isaaya 32:18

Marginal References

  • +Is 60:18; 65:22; Yer 23:6; Ezk 34:25; Kos 2:18

Isaaya 32:20

Marginal References

  • +Is 30:23, 24

General

Is. 32:1Lub 49:10; Zb 2:6; Luk 1:32, 33; Yok 1:49
Is. 32:1Zb 45:6; 72:1; Is 9:7; 11:4, 5; Yer 23:5; Zek 9:9; Beb 1:9; Kub 19:11
Is. 32:2Is 35:6
Is. 32:4Is 35:6
Is. 32:6Mi 2:1
Is. 32:7Yer 5:26; Mi 7:3
Is. 32:71Sk 21:9, 10
Is. 32:9Is 3:16
Is. 32:10Kuk 2:12; Zef 1:13
Is. 32:11Is 3:24
Is. 32:13Is 22:2; Kuk 2:15
Is. 32:142Sk 25:9, 10
Is. 32:142By 27:1, 3; Nek 3:26
Is. 32:14Is 27:10
Is. 32:15Is 44:3
Is. 32:15Is 29:17; 35:1, 2
Is. 32:16Is 42:1, 4; 60:21
Is. 32:17Zb 119:165; Is 55:12
Is. 32:17Ezk 37:26; Mi 4:3, 4
Is. 32:18Is 60:18; 65:22; Yer 23:6; Ezk 34:25; Kos 2:18
Is. 32:20Is 30:23, 24
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 32:1-20

Isaaya

32 Laba! Kabaka+ alifuga okuleetawo obutuukirivu,+

N’abaami balifuga okuleetawo obwenkanya.

 2 Era buli omu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu okuwona embuyaga,

Ng’ekifo eky’okweggamamu* enkuba ey’amaanyi,

Aliba ng’emigga mu nsi etaliimu mazzi,+

Ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi enkalu.

 3 Mu kiseera ekyo, amaaso g’abo abalaba tegalizibirira nate,

N’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.

 4 Omutima gw’abo abapakuka gulifumiitiriza ku kumanya,

N’olulimi olunanaagira lulyogera bulungi era mu ngeri etegeerekeka.+

 5 Omusirusiru aliba takyayitibwa mugabi,

N’omuntu ow’empisa embi taliyitibwa wa kitiibwa;

 6 Kubanga omusirusiru alyogera eby’obusirusiru,

Era omutima gwe guligunja ebintu eby’akabi,+

Okwogera ebintu ebitali bituufu ku Yakuwa n’okuleetera abalala okwewaggula,

Okuleka omuyala okugenda enjala,

N’okumma alumwa ennyonta eky’okunywa.

 7 Ebintu omuntu ow’empisa embi by’ateekateeka bibi;+

Aleetera abalala okwenyigira mu bikolwa eby’obuswavu

Okwonoona omunaku ng’ayogera eby’obulimba,+

Omwavu ne bw’ayogera ekituufu.

 8 Naye omugabi ayagala okugabira abalala,

Era anyiikirira ebikolwa eby’okugaba.

 9 “Mmwe abakazi abateefiirayo, muyimuke muwulirize eddoboozi lyange!

Mmwe abawala abatalina kibeeraliikiriza,+ musseeyo omwoyo ku ebyo bye ŋŋamba!

10 Mu mwaka gumu n’ennaku ntono, mmwe abatalina kibeeraliikiriza mulikankana,

Kubanga tewalibaawo bibala bikunguddwa ng’okukungula kw’ezzabbibu kuwedde.+

11 Mukankane mmwe abakazi abateefiirayo!

Mukankane mmwe abatalina kibeeraliikiriza!

Mweyambule,

Era mwesibe ebibukutu mu biwato.+

12 Mukube mu bifuba byammwe mukaabe

Olw’ekyo ekyatuuka ku nnimiro ennungi ne ku muzabbibu ogubala ennyo.

13 Ettaka ly’abantu bange liribikkibwa amaggwa n’obuti obw’amaggwa;

Biribikka amayumba gonna agaalimu okujaganya,

Ekibuga ekyalimu okusanyuka.+

14 Kubanga ekigo kyabuliddwa;

Ekibuga ekibaddemu okuyoogaana tekisigaddeemu muntu.+

Oferi+ n’omunaala gw’omukuumi bifuuse matongo ag’enkalakkalira,

Bifuuse ssanyu lya ndogoyi ez’omu nsiko,

Bifuuse ddundiro lya bisolo,+

15 Okutuusa lwe tulifukibwako omwoyo okuva waggulu,+

Era eddungu ne lifuuka ennimiro y’emiti egy’ebibala,

N’ennimiro y’emiti egy’ebibala n’eba ng’ekibira.+

16 Olwo obwenkanya bulibeera mu ddungu,

N’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro y’emiti egy’ebibala.+

17 Obutuukirivu obwa nnamaddala bulivaamu emirembe,+

Era obutuukirivu obwa nnamaddala bulireeta obuteefu n’obutebenkevu eby’olubeerera.+

18 Abantu bange balibeera mu kifo ekirimu emirembe eky’enkalakkalira,

Balibeera mu bifo ebirimu obutebenkevu ne mu bifo eby’okuwummuliramu ebiteefu.+

19 Naye omuzira gulikuba ekibira ne kigwa,

N’ekibuga kirisuulirwa ddala wansi.

20 Mulina essanyu mmwe abasiga ensigo ku mabbali g’amazzi gonna,

Mmwe abasumulula ente n’endogoyi.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share