LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Olubereberye 38
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yuda ne Tamali (1-30)

Olubereberye 38:2

Marginal References

  • +Lub 24:2, 3; 28:1

Olubereberye 38:3

Marginal References

  • +Kbl 26:19

Olubereberye 38:5

Marginal References

  • +Yos 19:29, 31

Olubereberye 38:6

Marginal References

  • +Mat 1:3

Olubereberye 38:8

Marginal References

  • +Ma 25:5, 6; Mat 22:24

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2014

Olubereberye 38:9

Marginal References

  • +Lus 4:6
  • +Ma 25:7, 9

Olubereberye 38:10

Marginal References

  • +1By 2:3

Olubereberye 38:11

Marginal References

  • +Kbl 26:19

Olubereberye 38:12

Marginal References

  • +Lub 38:2
  • +Yos 15:10, 12; Bal 14:1
  • +Lub 38:1

Olubereberye 38:14

Marginal References

  • +Ma 25:5

Olubereberye 38:16

Marginal References

  • +Lub 38:11

Olubereberye 38:18

Marginal References

  • +Lub 41:42; 1Sk 21:8

Olubereberye 38:20

Marginal References

  • +Lub 38:1

Olubereberye 38:21

Footnotes

  • *

    Obut., “malaaya w’omu yeekaalu.”

Olubereberye 38:24

Marginal References

  • +Lev 21:9

Olubereberye 38:25

Marginal References

  • +Lub 38:16, 18

Olubereberye 38:26

Marginal References

  • +Lub 38:11; Ma 25:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2004, lup. 17

Olubereberye 38:29

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Okuyuza,” oboolyawo okuyuza ebitundu eby’ekyama.

Marginal References

  • +Lub 46:12; Lus 4:12; 1By 2:4; Luk 3:23, 33

Olubereberye 38:30

Marginal References

  • +Mat 1:3

General

Lub. 38:2Lub 24:2, 3; 28:1
Lub. 38:3Kbl 26:19
Lub. 38:5Yos 19:29, 31
Lub. 38:6Mat 1:3
Lub. 38:8Ma 25:5, 6; Mat 22:24
Lub. 38:9Lus 4:6
Lub. 38:9Ma 25:7, 9
Lub. 38:101By 2:3
Lub. 38:11Kbl 26:19
Lub. 38:12Lub 38:2
Lub. 38:12Yos 15:10, 12; Bal 14:1
Lub. 38:12Lub 38:1
Lub. 38:14Ma 25:5
Lub. 38:16Lub 38:11
Lub. 38:18Lub 41:42; 1Sk 21:8
Lub. 38:20Lub 38:1
Lub. 38:24Lev 21:9
Lub. 38:25Lub 38:16, 18
Lub. 38:26Lub 38:11; Ma 25:5
Lub. 38:29Lub 46:12; Lus 4:12; 1By 2:4; Luk 3:23, 33
Lub. 38:30Mat 1:3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 38:1-30

Olubereberye

38 Awo mu kiseera ekyo Yuda n’ava awaali baganda be n’agenda n’asimba weema ye okuliraana ew’omusajja Omwadulamu ayitibwa Kiira. 2 Yuda n’alaba eyo omuwala w’Omukanani.+ Omukanani oyo yali ayitibwa Suwa. N’amutwala n’amuwasa ne yeegatta naye, 3 n’aba olubuto, era oluvannyuma n’azaala omwana ow’obulenzi, Yuda n’amutuuma Eli.+ 4 Omukazi n’aba olubuto nate n’azaala omwana ow’obulenzi omulala n’amutuuma Onani. 5 Era nate n’azaala omwana ow’obulenzi omulala n’amutuuma Seera. Mu kiseera mukyala we we yazaalira omwana oyo baali babeera Akuzibu.+

6 Oluvannyuma Yuda n’awasiza Eli mutabani we omubereberye omukazi ayitibwa Tamali.+ 7 Naye Eli mutabani wa Yuda omubereberye yakolanga ebinyiiza Yakuwa, bw’atyo Yakuwa n’amutta. 8 Ekyo bwe kyabaawo, Yuda n’agamba Onani nti: “Wasa muka muganda wo otuukirize ekyo muganda wa bba ky’asaanidde okukola, ofunire muganda wo ezzadde.”+ 9 Naye Onani yamanya nti omwana teyanditwaliddwa kuba wuwe;+ bw’atyo bwe yeegatta ne muka muganda we amazzi yagafuka wansi aleme okuzaalira muganda we omwana.+ 10 Kye yakola kyali kibi mu maaso ga Yakuwa, bw’atyo naye n’amutta.+ 11 Yuda n’agamba Tamali muka mwana we nti: “Sigala ng’oli nnamwandu mu nnyumba ya kitaawo okutuusa nga mutabani wange Seera akuze.” Kubanga muli yalowooza nti: ‘Naye ayinza okufa nga baganda be.’+ Awo Tamali n’agenda n’abeera mu nnyumba ya kitaawe.

12 Bwe waayitawo ekiseera muwala wa Suwa,+ muka Yuda, n’afa. Yuda bwe yamalako ekiseera eky’okukungubaga n’ayambuka e Timuna+ awaali abasazi b’ebyoya by’endiga ze ng’ali wamu ne mukwano gwe Kiira Omwadulamu.+ 13 Ne babuulira Tamali nti: “Laba, ssezaala wo agenda e Timuna okusala ebyoya by’endiga ze.” 14 Awo ne yeeyambulamu ebyambalo eby’obwannamwandu, n’asiba ekitambaala ku mutwe ne kimubikka ne mu maaso era ne yeebikkirira olugoye n’atuula ku mulyango gwa Enayimu ekiri ku luguudo olugenda e Timuna, kubanga yalaba nga Seera yali akuze naye ne batamumuwa kumufumbirwa.+

15 Yuda bwe yamulaba n’alowooza nti malaaya, olw’okuba yali yeebisse mu maaso. 16 N’akyama we yali ku mabbali g’oluguudo n’amugamba nti: “Nkusaba onzikirize nneegatte naawe.” Yali tamanyi nti ye muka mwana we.+ Kyokka ye n’amuddamu nti: “Onompa ki olyoke weegatte nange?” 17 N’amugamba nti: “Nja kukuweereza omwana gw’embuzi okuva mu kisibo kyange.” Naye n’amugamba nti: “Onondekera omusingo okutuusa lw’onooguweereza?” 18 N’amuddamu nti: “Kiki kye mba nkusingira?” N’amugamba nti: “Empeta yo eramba,+ n’akaguwa kaayo, n’omuggo gwo oguli mu ngalo zo.” Awo n’abimuwa ne yeegatta naye n’amufunyisa olubuto. 19 Ebyo bwe byaggwa omukazi n’agenda ne yeggyako ekitambaala, n’ayambala ebyambalo bye eby’obwannamwandu.

20 Yuda n’atuma mukwano gwe Omwadulamu+ okutwalayo omwana gw’embuzi omukazi asobole okumuddiza omusingo, naye n’atamusangawo. 21 N’abuuza abasajja b’omu kitundu ekyo nti: “Malaaya* eyabeeranga mu Enayimu ku mabbali g’oluguudo ali ludda wa?” Ne bamuddamu nti: “Mu kifo kino temubangamu malaaya.” 22 Oluvannyuma n’addayo eri Yuda n’amugamba nti: “Simulabye, era n’abasajja b’omu kitundu bagambye nti: ‘Mu kifo kino temubangamu malaaya.’” 23 Yuda n’amugamba nti: “K’abitwale tuleme kuweebuuka. Kasita nnaweerezza omwana gw’embuzi naye n’otomusangayo.”

24 Bwe waayitawo emyezi ng’esatu, ne babuulira Yuda nti: “Tamali muka mwana wo yakola obwamalaaya era yafuna olubuto mu bwamalaaya.” Awo Yuda n’agamba nti: “Mumufulumye ayokebwe.”+ 25 Bwe baali bamufulumya n’aweereza obubaka eri ssezaala we, n’amugamba nti: “Omusajja nnannyini bino ye yanfunyisa olubuto.” Era n’ayongerako nti: “Nkwegayiridde kebera olabe nnannyini mpeta eramba, n’akaguwa kaayo, n’omuggo.”+ 26 Yuda n’abikebera n’agamba nti: “Mutuukirivu okunsinga, kubanga saamuwa mutabani wange Seera.”+ Yuda teyaddamu kwegatta naye mulundi mulala.

27 Awo ekiseera kye eky’okuzaala bwe kyatuuka, mu lubuto lwe mwalimu balongo. 28 Bwe yali azaala, omu n’afulumya omukono gwe, amangu ago omuzaalisa n’addira akawuzi akamyufu n’akasiba ku mukono gwe ng’agamba nti: “Ono y’asoose okufuluma.” 29 Naye olwali okuzzaayo omukono gwe muganda we n’afuluma; omuzaalisa n’agamba nti: “Bw’otyo bw’owaguzza?” Kyeyava atuumibwa Pereezi.*+ 30 Oluvannyuma muganda we gwe baasiba akawuzi akamyufu ku mukono naye n’afuluma, era n’atuumibwa Zeera.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share