LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 46
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Eby’okuweebwayo ku nnaku ezimu (1-15)

      • Okusikira ebintu by’omwami (16-18)

      • Ebifo eby’okufumbiramu ebiweebwayo (19-24)

Ezeekyeri 46:1

Marginal References

  • +Ezk 40:32
  • +Ezk 44:1, 2
  • +Kuv 20:9

Ezeekyeri 46:2

Marginal References

  • +Ezk 44:3

Ezeekyeri 46:3

Marginal References

  • +Zb 81:3; Is 66:23

Ezeekyeri 46:4

Marginal References

  • +Kbl 28:9, 10; Ezk 45:17

Ezeekyeri 46:5

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. B14.

  • *

    Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Ezk 46:11

Ezeekyeri 46:6

Marginal References

  • +Kbl 28:11-15

Ezeekyeri 46:8

Marginal References

  • +Ezk 46:2

Ezeekyeri 46:9

Marginal References

  • +Kuv 23:14; Ma 16:16
  • +Ezk 40:20
  • +Ezk 40:24

Ezeekyeri 46:10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1999, lup. 24

Ezeekyeri 46:11

Marginal References

  • +Ezk 45:21, 24; 46:6, 7

Ezeekyeri 46:12

Marginal References

  • +Lev 1:3
  • +Ezk 45:17
  • +Ezk 46:1, 2

Ezeekyeri 46:13

Marginal References

  • +Kuv 29:38; Kbl 28:3, 5

Ezeekyeri 46:17

Marginal References

  • +Lev 25:10

Ezeekyeri 46:19

Marginal References

  • +Ezk 42:9
  • +Ezk 42:1

Ezeekyeri 46:20

Footnotes

  • *

    Obut., “ne batukuza abantu.”

Marginal References

  • +Lev 2:4, 5
  • +Ezk 44:19

Ezeekyeri 46:22

Footnotes

  • *

    Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.

Ezeekyeri 46:24

Marginal References

  • +2By 35:13

General

Ezk. 46:1Ezk 40:32
Ezk. 46:1Ezk 44:1, 2
Ezk. 46:1Kuv 20:9
Ezk. 46:2Ezk 44:3
Ezk. 46:3Zb 81:3; Is 66:23
Ezk. 46:4Kbl 28:9, 10; Ezk 45:17
Ezk. 46:5Ezk 46:11
Ezk. 46:6Kbl 28:11-15
Ezk. 46:8Ezk 46:2
Ezk. 46:9Kuv 23:14; Ma 16:16
Ezk. 46:9Ezk 40:20
Ezk. 46:9Ezk 40:24
Ezk. 46:11Ezk 45:21, 24; 46:6, 7
Ezk. 46:12Lev 1:3
Ezk. 46:12Ezk 45:17
Ezk. 46:12Ezk 46:1, 2
Ezk. 46:13Kuv 29:38; Kbl 28:3, 5
Ezk. 46:17Lev 25:10
Ezk. 46:19Ezk 42:9
Ezk. 46:19Ezk 42:1
Ezk. 46:20Lev 2:4, 5
Ezk. 46:20Ezk 44:19
Ezk. 46:242By 35:13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 46:1-24

Ezeekyeri

46 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Omulyango gw’oluggya olw’omunda ogutunudde ebuvanjuba+ gunaabanga muggale+ mu nnaku omukaaga+ ezikolerwamu emirimu, naye gunaggulwanga ku Ssabbiiti ne ku lunaku olw’okuboneka kw’omwezi. 2 Omwami anaayingiriranga mu kisasi ky’oku mulyango,+ n’ayimirira okumpi n’omwango gw’omulyango. Bakabona banaawangayo ekiweebwayo kye ekyokebwa ne ssaddaaka ze ez’emirembe, era anaavunnamanga ku mulyango, olwo n’alyoka afuluma. Naye omulyango gunaasigalanga muggale okutuusa akawungeezi. 3 Ku Ssabbiiti ne ku kuboneka kw’omwezi+ abantu b’omu nsi nabo banaavunnamanga ku mulyango ogwo mu maaso ga Yakuwa.

4 “‘Ekiweebwayo ekyokebwa omwami ky’anaaleetanga eri Yakuwa ku Ssabbiiti kinaabanga endiga ento ennume mukaaga, ennamu obulungi, n’endiga emu ennume ennamu obulungi.+ 5 Ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eky’oku ndiga ennume kinaabanga efa* emu, ate ku ndiga ento ennume anaaleeterangako kyonna ky’anaasobolanga okuwaayo. Ku buli efa+ anaaleeterangako yini* y’amafuta g’ezzeyituuni. 6 Ku lunaku olw’okuboneka kw’omwezi, ekiweebwayo kinaabanga ente ento ennume ennamu obulungi, endiga ento ennume mukaaga, n’endiga ennume emu, nga zonna nnamu bulungi.+ 7 Ku nte ento ennume anaaleeterangako efa emu ey’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ne ku ndiga ennume anaaleeterangako efa emu ey’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Ku ndiga ento ennume anaaleeterangako kyonna ky’anaasobolanga okuwaayo. Era ku buli efa anaaleeterangako yini y’amafuta g’ezzeyituuni.

8 “‘Omwami bw’anaayingiranga, anaayingiriranga mu kisasi eky’oku mulyango, era omwo mw’anaafulumiranga.+ 9 Abantu bwe banajjanga mu maaso ga Yakuwa mu kiseera eky’embaga,+ abo abanaayingiriranga mu mulyango ogw’ebukiikakkono okusinza+ banaafulumiranga mu mulyango ogw’ebukiikaddyo,+ n’abo abanaayingiriranga mu mulyango ogw’ebukiikaddyo banaafulumiranga mu mulyango ogw’ebukiikakkono. Tewabangawo n’omu afulumira mu mulyango gwe yayingiriddemu, wabula banaafulumiranga mu mulyango ogutunuuliganye n’ogwo mwe baayingiridde. 10 Omwami ali mu bo anaayingiranga nga bayingira era anaafulumanga nga bafuluma. 11 Mu kiseera eky’embaga n’eky’enkuŋŋaana entukuvu, ku nte ento ennume kunaagenderangako efa emu ey’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ne ku ndiga ennume kunaagenderangako efa emu ey’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Ku ndiga ento ennume anaaleeterangako kyonna ky’anaasobolanga okuwaayo, era ku buli efa+ anaaleeterangako yini y’amafuta g’ezzeyituuni.

12 “‘Omwami bw’anaategekanga ekiweebwayo ekyokebwa+ oba ssaddaaka ez’emirembe ng’ekiweebwayo ekya kyeyagalire eri Yakuwa, banaamuggulirangawo omulyango ogutunudde ebuvanjuba, n’ategeka ekiweebwayo kye ekyokebwa ne ssaddaaka ze ez’emirembe nga bw’akola ku lunaku olwa Ssabbiiti.+ Ng’amaze okufuluma, banaggalangawo omulyango.+

13 “‘Buli lunaku onootegekanga endiga ento ennume ey’omwaka ogumu ennamu obulungi okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Yakuwa.+ Onookolanga bw’otyo buli ku makya. 14 Era buli ku makya onoogitegekerangako kimu kya mukaaga ekya efa ey’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’ekimu kya kusatu ekya yini ey’amafuta g’ezzeyituuni ag’okumansira ku buwunga obutaliimu mpulunguse okuba ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaaweebwangayo eri Yakuwa buli lunaku. Lino tteeka lya lubeerera. 15 Buli ku makya banaategekanga endiga ento ennume, ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’amafuta g’ezzeyituuni okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku.’

16 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Omwami bw’awanga buli omu ku baana be ekirabo ng’obusika, obusika obwo bunaabanga bwa baana be. Bunaabanga busika bwabwe. 17 Naye ku busika bwe bw’anaggyangako ekirabo n’akiwa omu ku baweereza be, kinaabanga kikye okutuuka mu mwaka ogw’eddembe,+ olwo ne kiryoka kiddira omwami. Naye ekyo ky’anaabanga awadde abaana be kinaabanga kyabwe lubeerera. 18 Omwami tagobanga bantu bange ku ttaka lyabwe n’atwala obusika bwabwe. Abaana be anaabawanga obusika okuva ku ttaka lye, waleme kubaawo n’omu ku bantu bange agobebwa ku ttaka lye.’”

19 Awo n’annyingiza ng’ampisa mu mulyango+ ogwali guliraanye omulyango oguyingira mu bisenge ebitukuvu ebiriirwamu ebya bakabona, ebyali bitunudde ebukiikakkono,+ era ne ndaba ekifo emabega okwolekera ebugwanjuba. 20 Awo n’aŋŋamba nti: “Ekyo kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw’omusango n’ekiweebwayo olw’ekibi, era we banaafumbiranga ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke,+ baleme okutwala ekintu kyonna mu luggya olw’ebweru ne baleeta obutukuvu ku bantu.”*+

21 Awo n’anfulumya n’antwala mu luggya olw’ebweru, n’ampisa ku nsonda ennya ez’oluggya olwo, ne ndaba nga ku buli nsonda waliwo oluggya. 22 Ku buli emu ku nsonda ennya ez’oluggya waaliwo oluggya olutonotono, nga lwa mikono* 40 obuwanvu n’emikono 30 obugazi. Empya ezo zonna zaali zenkanankana. 23 Zonna ennya zaalina embu z’amayinja wonna okwetooloola, era wansi waago baali bazimbyewo aw’okufumbiranga ebiweebwayo. 24 Awo n’aŋŋamba nti: “Bino bye biyungu abo abaweereza mu yeekaalu mwe banaafumbiranga ssaddaaka abantu ze bawaayo.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share