LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ekyamateeka 14
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Bye batasaanidde kukola mu kukungubaga (1, 2)

      • Eby’okulya ebirongoofu n’ebitali birongoofu (3-21)

      • Ekimu eky’ekkumi kya Yakuwa (22-29)

Ekyamateeka 14:1

Footnotes

  • *

    Obut., “temwemwanga wakati w’amaaso gammwe.” Oba, “temumwanga ekyenyi.”

Marginal References

  • +Lev 19:28
  • +Lev 21:1, 5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2004, lup. 11

Ekyamateeka 14:2

Footnotes

  • *

    Oba, “eky’omuwendo.”

Marginal References

  • +Lev 19:2; 20:26; Ma 28:9; 1Pe 1:15
  • +Kuv 19:5, 6; Ma 7:6

Ekyamateeka 14:3

Marginal References

  • +Lev 11:43; 20:25; Bik 10:14

Ekyamateeka 14:4

Marginal References

  • +Lev 11:2, 3

Ekyamateeka 14:7

Marginal References

  • +Lev 11:4-8

Ekyamateeka 14:9

Marginal References

  • +Lev 11:9, 10

Ekyamateeka 14:12

Marginal References

  • +Lev 11:13-20

Ekyamateeka 14:19

Footnotes

  • *

    Oba, “N’ebiwuka.”

Ekyamateeka 14:21

Footnotes

  • *

    Obut., “miryango.”

Marginal References

  • +Kuv 22:31; Lev 17:15
  • +Kuv 23:19; 34:26

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2004, lup. 10

Ekyamateeka 14:22

Marginal References

  • +Ma 12:11; 26:12

Ekyamateeka 14:23

Marginal References

  • +Ma 12:5, 17; 15:19, 20
  • +Zb 111:10

Ekyamateeka 14:24

Marginal References

  • +Ma 12:5, 6

Ekyamateeka 14:26

Marginal References

  • +Ma 12:7; 26:11; Zb 100:2

Ekyamateeka 14:27

Marginal References

  • +Kbl 18:21; 2By 31:4; 1Ko 9:13
  • +Kbl 18:20; Ma 10:9

Ekyamateeka 14:28

Marginal References

  • +Ma 26:12

Ekyamateeka 14:29

Footnotes

  • *

    Oba, “mulekwa.”

Marginal References

  • +Kuv 22:21; Ma 10:18; Yak 1:27
  • +Ma 15:10; Zb 41:1; Nge 11:24; 19:17; Mal 3:10; Luk 6:35

General

Ma. 14:1Lev 19:28
Ma. 14:1Lev 21:1, 5
Ma. 14:2Lev 19:2; 20:26; Ma 28:9; 1Pe 1:15
Ma. 14:2Kuv 19:5, 6; Ma 7:6
Ma. 14:3Lev 11:43; 20:25; Bik 10:14
Ma. 14:4Lev 11:2, 3
Ma. 14:7Lev 11:4-8
Ma. 14:9Lev 11:9, 10
Ma. 14:12Lev 11:13-20
Ma. 14:21Kuv 22:31; Lev 17:15
Ma. 14:21Kuv 23:19; 34:26
Ma. 14:22Ma 12:11; 26:12
Ma. 14:23Ma 12:5, 17; 15:19, 20
Ma. 14:23Zb 111:10
Ma. 14:24Ma 12:5, 6
Ma. 14:26Ma 12:7; 26:11; Zb 100:2
Ma. 14:27Kbl 18:21; 2By 31:4; 1Ko 9:13
Ma. 14:27Kbl 18:20; Ma 10:9
Ma. 14:28Ma 26:12
Ma. 14:29Kuv 22:21; Ma 10:18; Yak 1:27
Ma. 14:29Ma 15:10; Zb 41:1; Nge 11:24; 19:17; Mal 3:10; Luk 6:35
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 14:1-29

Ekyamateeka

14 “Muli baana ba Yakuwa Katonda wammwe. Temwesalanga misale+ wadde okumwako ebisige* olw’omuntu afudde.+ 2 Kubanga muli ggwanga ttukuvu+ eri Yakuwa Katonda wammwe, era Yakuwa yabalonda mu mawanga gonna agali ku nsi+ okuba abantu be, era ekintu kye ekiganzi.*

3 “Temulyanga kintu kyonna eky’omuzizo.+ 4 Zino ze nsolo ze munaalyanga:+ ente, endiga, embuzi, 5 empeewo, enjaza, engabi, embulabuzi, enjobe, endiga ey’omu nsiko, n’endiga ey’omu nsozi; 6 era buli nsolo ey’ekinuulo ekyaseemu, ekyeyawuddemu ebitundu bibiri, era ezza obwenkulumu, mugiryanga. 7 Zino ze mutaalyenga mu ezo ezizza obwenkulumu oba ezo ez’ebinuulo ebyeyawuddemu: eŋŋamira, akamyu, n’akamyu ak’omu njazi, kubanga zizza obwenkulumu naye ebinuulo byazo si byaseemu. Si nnongoofu gye muli.+ 8 Embizzi nayo si nnongoofu gye muli, kubanga erina ekinuulo ekyaseemu naye tezza bwenkulumu. Temulyanga ku nnyama y’ensolo ezo wadde okuzikwatako nga zifudde.

9 “Ku byonna ebibeera mu mazzi, bino bye munaalyanga: Buli ekirina amaggwa n’ebigalagamba mukiryanga.+ 10 Naye buli ekitalina maggwa na bigalagamba, temukiryanga. Si kirongoofu gye muli.

11 “Buli kinyonyi ekirongoofu munaakiryanga. 12 Naye bino bye mutaalyenga: empungu, makwanzi, ensega enzirugavu,+ 13 kamunye omumyufu, kamunye omuddugavu, n’ebika bya kamunye ebirala, 14 ne nnamuŋŋoona owa buli kika, 15 ne maaya, n’ekiwuugulu, n’enkunga, ne magga owa buli kika, 16 n’ekiwuugulu ekitono, n’ekiwuugulu eky’amatu amawanvu, n’embaata ey’oku mazzi, 17 n’ekimbala, n’ensega, ne sseddindi, 18 n’enkoonamasonko, ne ssekanyolya owa buli kika, ne dukipaasi, n’ekinyira. 19 N’ebiramu byonna ebibeera mu bibinja era ebirina ebiwaawaatiro* si birongoofu gye muli. Temubiryanga. 20 Buli kiramu ekirongoofu ekibuuka munaakiryanga.

21 “Temulyanga kisolo kyonna ekisangiddwa nga kifudde.+ Munaayinzanga okukiwa abagwira ababeera mu bibuga* byammwe ne bakirya; oba kinaayinzanga okutundibwa eri omugwira, kubanga ggwe oli ggwanga ttukuvu eri Yakuwa Katonda wo.

“Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina waagwo.+

22 “Tolemanga kuwaayo ekimu eky’ekkumi eky’emmere yonna eva mu nsigo z’osiga mu nnimiro buli mwaka.+ 23 Ekimu eky’ekkumi eky’emmere yo, n’omwenge gwo omusu, n’amafuta go, n’ebibereberye by’eggana lyo n’eby’ekisibo kyo, onoobiriiranga mu maaso ga Yakuwa Katonda wo mu kifo ky’anaalonda erinnya lye okubeeramu,+ osobole okuyiga okutya Yakuwa Katonda wo bulijjo.+

24 “Olugendo bwe lunaakubeereranga oluwanvu ennyo, nga tosobola kwetikka bintu ebyo kubitwala mu kifo Yakuwa Katonda wo ky’anaalonda okuba ekifo eky’erinnya lye,+ olw’okuba kinaabanga kiri wala (kubanga Yakuwa Katonda wo ajja kukuwa omukisa), 25 onoobitundanga n’obifunamu ssente, ssente ezo n’ozikwata mu mukono gwo n’ogenda mu kifo Yakuwa Katonda wo ky’anaalonda. 26 Ssente onoozigulangamu kyonna ky’onooyagalanga: ente, endiga, embuzi, envinnyo n’omwenge omulala, na buli kintu ky’onoobanga oyagadde, era onooliiranga eyo mu maaso ga Yakuwa Katonda wo n’osanyuka, ggwe n’ab’omu nnyumba yo.+ 27 Omuleevi abeera mu bibuga byo tomusuuliriranga+ kubanga teyaweebwa mugabo wadde obusika mu mmwe.+

28 “Ku nkomerero ya buli myaka esatu onooleetanga ekimu eky’ekkumi kyonna eky’emmere yo ey’omwaka ogwo, n’okiteeka munda mu bibuga byo.+ 29 Era Omuleevi ataaweebwa mugabo wadde obusika mu mmwe, n’omugwira, n’omwana atalina kitaawe,* ne nnamwandu, abali mu bibuga byo, banajjanga ne balya ne bakkuta,+ Yakuwa Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu byonna by’okola.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share