LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Ebyomumirembe Ekisooka 21
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Dawudi yeetulinkiriza okubala abantu (1-6)

      • Ekibonerezo okuva eri Yakuwa (7-17)

      • Dawudi azimba ekyoto (18-30)

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:1

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “omuziyiza.”

Marginal References

  • +2Sa 24:1-3

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:2

Marginal References

  • +2Sa 8:16
  • +Bal 18:29; 2Sa 17:11

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:4

Marginal References

  • +2Sa 24:4, 8

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:5

Marginal References

  • +2Sa 24:9

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:6

Marginal References

  • +Kbl 1:47
  • +1By 27:23, 24

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:8

Marginal References

  • +2Sa 12:13
  • +Zb 25:11; 51:1
  • +2Sa 24:10-14

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:9

Marginal References

  • +1By 29:29

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:12

Marginal References

  • +Lev 26:26
  • +Lev 26:14, 17
  • +Lev 26:25
  • +2Sk 19:35

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:13

Marginal References

  • +Kuv 34:6; Zb 51:1; Is 55:7; Kuk 3:22
  • +2By 28:9

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:14

Marginal References

  • +Kbl 16:46
  • +2Sa 24:15, 16

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:15

Marginal References

  • +Kuv 32:14; Ma 32:36
  • +Zb 90:13
  • +2By 3:1
  • +2Sa 5:6

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:16

Marginal References

  • +Kbl 22:31; Yos 5:13
  • +2Sa 24:17; 2Sk 19:1

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:17

Marginal References

  • +Zb 51:4
  • +Kuv 32:12; Kbl 16:22

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:18

Marginal References

  • +2Sa 24:11
  • +2Sa 24:18-23; 2By 3:1

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:22

Footnotes

  • *

    Obut., “Mpa.”

Marginal References

  • +Kbl 25:8

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:23

Marginal References

  • +Is 28:27

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:24

Marginal References

  • +2Sa 24:24, 25

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:25

Footnotes

  • *

    Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:26

Marginal References

  • +Kuv 20:25
  • +Lev 9:23, 24; 1Sk 18:38; 2By 7:1

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:27

Marginal References

  • +2Sa 24:16; Zb 103:20

1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:29

Marginal References

  • +1Sk 3:4; 1By 16:39; 2By 1:3

General

1 Byom. 21:12Sa 24:1-3
1 Byom. 21:22Sa 8:16
1 Byom. 21:2Bal 18:29; 2Sa 17:11
1 Byom. 21:42Sa 24:4, 8
1 Byom. 21:52Sa 24:9
1 Byom. 21:6Kbl 1:47
1 Byom. 21:61By 27:23, 24
1 Byom. 21:82Sa 12:13
1 Byom. 21:8Zb 25:11; 51:1
1 Byom. 21:82Sa 24:10-14
1 Byom. 21:91By 29:29
1 Byom. 21:12Lev 26:26
1 Byom. 21:12Lev 26:14, 17
1 Byom. 21:12Lev 26:25
1 Byom. 21:122Sk 19:35
1 Byom. 21:13Kuv 34:6; Zb 51:1; Is 55:7; Kuk 3:22
1 Byom. 21:132By 28:9
1 Byom. 21:14Kbl 16:46
1 Byom. 21:142Sa 24:15, 16
1 Byom. 21:15Kuv 32:14; Ma 32:36
1 Byom. 21:15Zb 90:13
1 Byom. 21:152By 3:1
1 Byom. 21:152Sa 5:6
1 Byom. 21:16Kbl 22:31; Yos 5:13
1 Byom. 21:162Sa 24:17; 2Sk 19:1
1 Byom. 21:17Zb 51:4
1 Byom. 21:17Kuv 32:12; Kbl 16:22
1 Byom. 21:182Sa 24:11
1 Byom. 21:182Sa 24:18-23; 2By 3:1
1 Byom. 21:22Kbl 25:8
1 Byom. 21:23Is 28:27
1 Byom. 21:242Sa 24:24, 25
1 Byom. 21:26Kuv 20:25
1 Byom. 21:26Lev 9:23, 24; 1Sk 18:38; 2By 7:1
1 Byom. 21:272Sa 24:16; Zb 103:20
1 Byom. 21:291Sk 3:4; 1By 16:39; 2By 1:3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:1-30

1 Ebyomumirembe Ekisooka

21 Awo Sitaani* n’asalawo okulumba Isirayiri era n’asendasenda Dawudi okubala Abayisirayiri.+ 2 Dawudi n’agamba Yowaabu+ n’abaami b’abantu nti: “Mugende mubale Abayisirayiri okuva e Beeru-seba okutuuka e Ddaani,+ oluvannyuma muntegeeze omuwendo gwabwe ngumanye.” 3 Naye Yowaabu n’agamba nti: “Yakuwa k’ayongere ku bungi bw’abantu be emirundi 100! Mukama wange kabaka, bonna si baweereza ba mukama wange? Lwaki mukama wange ayagala okukola kino? Lwaki aleetera Isirayiri okubaako omusango?”

4 Kyokka ekigambo kya kabaka ne kisinza ekya Yowaabu amaanyi. Bw’atyo Yowaabu n’agenda n’atalaaga Isirayiri yonna, oluvannyuma n’ajja e Yerusaalemi.+ 5 Yowaabu n’awa Dawudi omuwendo gw’abantu abaali babaliddwa. Abayisirayiri bonna baali abasajja 1,100,000 abaali bakwata ebitala, ate mu Yuda baali abasajja 470,000 abaali bakwata ebitala.+ 6 Naye Yowaabu teyawandiika ba mu kika kya Leevi+ n’ekya Benyamini olw’okuba ekigambo kya kabaka teyakyagala.+

7 Ekintu kino kyanyiiza nnyo Katonda ow’amazima, bw’atyo n’abonereza Isirayiri. 8 Awo Dawudi n’agamba Katonda ow’amazima nti: “Nnyonoonye+ nnyo olw’okukola ekintu kino. Kaakano nkwegayiridde, sonyiwa omuweereza wo ensobi gy’akoze,+ kubanga kye nkoze kya busirusiru nnyo.”+ 9 Awo Yakuwa n’ayogera ne Gaadi,+ eyategeezanga Dawudi okwolesebwa okwavanga eri Katonda, n’amugamba nti: 10 “Genda ogambe Dawudi nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Nkuteereddewo ebibonerezo bisatu. Londako kimu kye mba nkuwa.”’” 11 Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Londako kimu ku bino: 12 emyaka esatu egy’enjala,+ oba emyezi esatu ng’abalabe bo bakumalawo, ng’ekitala kyabwe kikutuukako,+ oba wabeewo ekitala kya Yakuwa okumala ennaku ssatu—endwadde ey’amaanyi mu nsi+—nga malayika wa Yakuwa aleeta okuzikirira+ mu nsi ya Isirayiri yonna.’ Kaakano salawo kye mba nziramu Oyo antumye.” 13 Dawudi n’agamba Gaadi nti: “Kino kinzitooweredde nnyo. Ka ngwe mu mukono gwa Yakuwa, kubanga musaasizi nnyo;+ naye tondeka kugwa mu mukono gwa muntu.”+

14 Awo Yakuwa n’aleeta endwadde ey’amaanyi+ mu Isirayiri, ne mufaamu abantu 70,000.+ 15 Ate era Katonda ow’amazima n’atuma malayika e Yerusaalemi okukizikiriza. Naye Yakuwa bwe yalaba ng’anaatera okukizikiriza, n’akwatirwa abantu be ekisa olw’endwadde gye yali aleese,+ n’agamba malayika eyali azikiriza nti: “Ekyo kimala!+ Omukono gwo gusse.” Malayika wa Yakuwa yali ayimiridde kumpi n’egguuliro lya Olunaani+ Omuyebusi.+

16 Dawudi bwe yayimusa amaaso ge, n’alaba malayika wa Yakuwa ng’ayimiridde wakati w’ensi n’eggulu ng’akutte mu ngalo ze ekitala ekisowoddwa+ era ng’akyolekezza Yerusaalemi. Amangu ago Dawudi n’abakadde ne bavunnama, era baali bambadde ebibukutu.+ 17 Awo Dawudi n’agamba Katonda ow’amazima nti: “Si nze nnalagira okubala abantu? Nze nnayonoona+ era ne nkola ekibi; naye endiga zino zikoze ki? Ai Yakuwa Katonda wange, nkwegayiridde, omukono gwo ka gube ku nze ne ku nnyumba ya kitange; naye toleeta ku bantu bo kirwadde kino.”+

18 Awo malayika wa Yakuwa n’agamba Gaadi+ okugamba Dawudi agende azimbire Yakuwa ekyoto ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.+ 19 Dawudi n’agenda, nga Gaadi bwe yamugamba mu linnya lya Yakuwa. 20 Mu kiseera ekyo Olunaani yakyuka n’alaba malayika, era batabani be abana abaali naye ne beekweka. Olunaani yali awuula ŋŋaano. 21 Awo Dawudi n’agenda eri Olunaani. Olunaani bwe yamulaba, amangu ago n’ava mu gguuliro n’avunnamira Dawudi. 22 Dawudi n’agamba Olunaani nti: “Nguza* ekifo ekyo awali egguuliro, nzimbirewo Yakuwa ekyoto. Kinguze ssente zennyini ezikigyaamu, ekirwadde kisobole okuggibwa ku bantu.”+ 23 Naye Olunaani n’agamba Dawudi nti: “Kitwale, era mukama wange kabaka akole ekyo ky’alaba nga kirungi gy’ali. Laba, nkuwadde ente ez’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebibaawo ebiwuula+ bibe enku, n’eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Byonna mbikuwadde.”

24 Kyokka Kabaka Dawudi n’agamba Olunaani nti: “Nedda, nja kubigula ssente ezibigyaamu, kubanga sijja kutwala bibyo mbiwe Yakuwa oba mbiweeyo nga ssaddaaka ezookebwa nga sirina kye nsasudde.”+ 25 Awo Dawudi n’awa Olunaani sekeri* za zzaabu 600 okusasulira ekifo. 26 Dawudi n’azimbira Yakuwa ekyoto+ mu kifo ekyo, era n’awaayo ssaddaaka ezookebwa ne ssaddaaka ez’emirembe, n’akoowoola Yakuwa, era n’amuddamu ng’asindika omuliro+ okuva mu ggulu ne gukka ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 27 Awo Yakuwa n’alagira malayika+ okuzza ekitala kye mu kiraato kyakyo. 28 Dawudi bwe yalaba nga Yakuwa amuzzeemu ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, Dawudi ne yeeyongera okuweeranga eyo ssaddaaka. 29 Naye mu kiseera ekyo weema ya Yakuwa Musa gye yakolera mu ddungu n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa byali mu kifo ekigulumivu e Gibiyoni.+ 30 Kyokka Dawudi teyasobola kugendayo kwebuuza ku Katonda kubanga yali atidde nnyo olw’ekitala kya malayika wa Yakuwa.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share