2 Bassekabaka
2 Yakuwa bwe yali ng’anaatera okutwala Eriya+ mu ggulu,* ng’amutwalira mu mbuyaga,+ Eriya ne Erisa+ baava e Girugaali.+ 2 Eriya n’agamba Erisa nti: “Sigala wano, kubanga Yakuwa antumye e Beseri.” Naye Erisa n’amuddamu nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu era nga naawe bw’oli omulamu, sijja kukuvaako.” Awo ne baserengeta e Beseri.+ 3 Awo abaana ba bannabbi* abaali e Beseri ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti: “Okimanyi nti olwa leero Yakuwa agenda kukuggyako mukama wo amutwale?”+ N’abaddamu nti: “Ekyo nkimanyi. Musirike.”
4 Awo Eriya n’amugamba nti: “Erisa, sigala wano, kubanga Yakuwa antumye e Yeriko.”+ Naye Erisa n’amuddamu nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu era nga naawe bw’oli omulamu, sijja kukuvaako.” Awo ne bagenda e Yeriko. 5 Abaana ba bannabbi abaali e Yeriko ne batuukirira Erisa ne bamugamba nti: “Okimanyi nti olwa leero Yakuwa agenda kukuggyako mukama wo amutwale?” Erisa n’abaddamu nti: “Ekyo nkimanyi. Musirike.”
6 Awo Eriya n’agamba Erisa nti: “Sigala wano, kubanga Yakuwa antumye ku Yoludaani.” Naye Erisa n’amuddamu nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu era nga naawe bw’oli omulamu, sijja kukuvaako.” Awo ne bagenda bombi. 7 Abaana ba bannabbi 50 ne babagoberera, ne bayimirira walako ne batunuulira Eriya ne Erisa nga bayimiridde okumpi ne Yoludaani. 8 Eriya n’addira ekyambalo kye+ n’akizingamu n’akuba ku mazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku ludda olwa kkono amalala ne gadda ku ludda olwa ddyo, ne basomoka nga bayita awakalu.+
9 Olwamala okusomoka, Eriya n’agamba Erisa nti: “Nsaba kye mba nkukolera nga sinnakuggibwako.” Erisa n’agamba nti: “Nkwegayiridde, mpa emigabo ebiri*+ ku mwoyo Katonda gw’akuwadde.”+ 10 Eriya n’amuddamu nti: “Ekintu ky’osabye kizibu nnyo. Bw’onondaba nga nkuggibwako kinaaba bwe kityo; naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.”
11 Bwe baali batambula nga bagenda banyumya, ne wajja eggaali ery’omuliro n’embalaasi ez’omuliro+ ne bibaawula, era Eriya n’atwalibwa embuyaga n’ayambuka mu ggulu.*+ 12 Erisa bwe yakiraba, n’ayogerera waggulu nti: “Kitange, kitange, eggaali lya Isirayiri n’abasajja baayo abeebagala embalaasi!”+ Bwe yali nga takyamulaba, n’akwata ebyambalo bye n’abiyuzaamu ebitundu bibiri.+ 13 Oluvannyuma yaggya wansi ekyambalo+ kya Eriya ekyali kimuvuddeko ne kigwa, n’addayo n’ayimirira ku lubalama lwa Yoludaani. 14 N’addira ekyambalo kya Eriya ekyali kimuvuddeko ne kigwa n’akuba ku mazzi n’agamba nti: “Aluwa Yakuwa Katonda wa Eriya?” Bwe yakuba ku mazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku ludda olwa kkono amalala ne gadda ku ludda olwa ddyo, Erisa n’asomoka.+
15 Abaana ba bannabbi ab’e Yeriko bwe baamulengera ne bagamba nti: “Omwoyo gwa Eriya guzze ku Erisa.”+ Ne bagenda okumusisinkana ne bamuvunnamira, 16 era ne bamugamba nti: “Wano mu baweereza bo waliwo abasajja 50 abalina obusobozi. Ka bagende banoonye mukama wo, oboolyawo omwoyo* gwa Yakuwa gumusitudde ne gumusuula ku lumu ku nsozi oba mu kimu ku biwonvu.”+ Naye n’abaddamu nti: “Temubatuma.” 17 Kyokka ne beeyongera okumwegayirira okutuusa ensonyi lwe zaamukwata n’abagamba nti: “Mubatume.” Ne batuma abasajja 50, ne bamunoonyeza ennaku ssatu, naye ne batamulaba. 18 Bwe baakomawo gy’ali, baasanga abeera Yeriko.+ N’abagamba nti: “Saabagamba nti temugenda?”
19 Nga wayiseewo ekiseera, abasajja b’omu kibuga baagamba Erisa nti: “Mukama waffe, ekibuga kino we kiri walungi,+ nga naawe bw’olaba, naye amazzi mabi, n’ensi ŋŋumba.”* 20 N’abagamba nti: “Mundeetere akabakuli akapya mukateekemu omunnyo.” Ne bakamuleetera. 21 N’agenda ku nsulo y’amazzi n’agiyiwamu omunnyo+ n’agamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Amazzi gano ngalongoosezza. Tegakyaddamu kutta bantu wadde okuleetera abakazi okuba abagumba.’”* 22 Okuva ku olwo amazzi ago gaalongooka, nga Erisa bwe yagamba.
23 Awo n’ava eyo n’agenda e Beseri. Bwe yali agenda, abaana ne bava mu kibuga ne bamuvuma+ nga bagamba nti: “Yambuka ggwe ow’ekiwalaata! Yambuka ggwe ow’ekiwalaata!” 24 Awo n’akyuka n’abatunuulira n’abakolimira mu linnya lya Yakuwa. Amalubu abiri+ amakazi ne gava mu kibira, ku baana abo ne gataagulataagulako 42.+ 25 N’ava awo ne yeeyongerayo ku Lusozi Kalumeeri,+ era bwe yava eyo n’addayo e Samaliya.