1 Ebyomumirembe Ekisooka
11 Nga wayiseewo ekiseera, Abayisirayiri bonna baakuŋŋaana ne bagenda eri Dawudi e Kebbulooni+ ne bamugamba nti: “Laba! Tuli ggumba lyo era tuli mubiri gwo.*+ 2 Mu kiseera Sawulo we yabeerera kabaka, ggwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo zaayo;*+ era Yakuwa Katonda wo yakugamba nti: ‘Ojja kulunda abantu bange Isirayiri, era ojja okubeera mukulembeze w’abantu bange Isirayiri.’”+ 3 Awo abakadde bonna aba Isirayiri ne bagenda eri kabaka e Kebbulooni, Dawudi n’akola nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Yakuwa; oluvannyuma ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri+ nga Yakuwa bwe yagamba ng’ayita mu Samwiri.+
4 Oluvannyuma Dawudi ne Isirayiri yonna ne bagenda e Yerusaalemi, kwe kugamba, e Yebusi,+ Abayebusi+ gye baabeeranga. 5 Abantu b’omu Yebusi ne banyoomoola Dawudi ne bamugamba nti: “Muno toliyingiramu!”+ Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni,+ kaakano ekiyitibwa Ekibuga kya Dawudi.+ 6 Dawudi n’agamba nti: “Oyo yenna anaasooka okulumba Abayebusi ajja kufuuka mukulu era mwami.”* Yowaabu+ mutabani wa Zeruyiya ye yasooka okwambuka, bw’atyo n’afuuka omukulu. 7 Awo Dawudi n’atandika okubeera mu kigo. Eyo ye nsonga lwaki baakituuma Ekibuga kya Dawudi. 8 N’atandika okuzimba ekibuga okwetooloola wonna, okuviira ddala ku Kifunvu;* Yowaabu n’addamu okuzimba ebitundu by’ekibuga ebyali bisigaddewo. 9 Bw’atyo Dawudi n’agenda nga yeeyongera okuba ow’amaanyi,+ era Yakuwa ow’eggye yali wamu naye.
10 Bano be baali bakulira abalwanyi ba Dawudi ab’amaanyi abaamuwagira ennyo mu bwakabaka bwe, awamu n’Abayisirayiri bonna. Bonna baayamba mu kumufuula kabaka nga Yakuwa bwe yali asuubizza Isirayiri.+ 11 Luno lwe lukalala lw’amannya g’abalwanyi ba Dawudi ab’amaanyi: Yasobeyamu+ mutabani w’Omukamoni eyali omukulu w’abasatu.+ Lumu yatta abasajja 300 ng’akozesa effumu lye.+ 12 Eyali amuddirira yali Eriyazaali+ mutabani wa Dodo Omwakoki.+ Yali omu ku balwanyi abasatu abazira. 13 Ye yali ne Dawudi e Pasu-dammimu+ Abafirisuuti gye baali bakuŋŋaanidde okulwana. Waaliyo omusiri gwa ssayiri, era abantu baali badduse olw’Abafirisuuti. 14 Kyokka ye Samma yayimirira wakati mu musiri n’agutaakiriza, n’atta Abafirisuuti, bw’atyo Yakuwa n’awa abantu be obuwanguzi* obw’amaanyi.+
15 Abasatu ku bakulu 30 baaserengeta ku lwazi eri Dawudi, mu mpuku y’e Adulamu,+ ng’eggye ly’Abafirisuuti lisiisidde mu Kiwonvu ky’Abaleefa.+ 16 Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kifo ekizibu okutuukamu, ng’enkambi y’Abafirisuuti eri mu Besirekemu. 17 Dawudi n’agamba nti: “Mpulira njoya okunywa ku mazzi g’omu luzzi oluli ku mulyango gwa Besirekemu!”+ 18 Awo abasatu abo ne bawaguza ne bayingira mu lusiisira lw’Abafirisuuti ne basena amazzi mu luzzi olwali ku mulyango gwa Besirekemu ne bagaleetera Dawudi; naye Dawudi n’agaana okuganywa, wabula n’agafuka eri Yakuwa. 19 N’agamba nti: “Kikafuuwe nze okukola kino, kubanga nzisaamu Katonda ekitiibwa! Ddala nnywe omusaayi gw’abasajja bano abatadde obulamu bwabwe mu kabi?+ Kubanga batadde obulamu bwabwe mu kabi okusobola okuleeta amazzi gano.” Bw’atyo n’agaana okuganywa. Ebyo bye bintu abalwanyi be abasatu abazira bye baakola.
20 Abisaayi+ muganda wa Yowaabu+ ye yali omukulu w’abasatu abalala; yatta abasajja 300 ng’akozesa effumu lye, era naye yali mwatiikirivu ng’abasatu.+ 21 Ku basatu abo abalala ye yali asinga ekitiibwa era ye yali omukulu waabwe, naye teyatuuka ku ssa ly’abasatu abasooka.
22 Benaya+ mutabani wa Yekoyaada yali musajja muzira,* eyakola ebintu eby’obuzira bingi mu Kabuzeeri.+ Yatta batabani ba Aliyeri ow’e Mowaabu ababiri, era lumu yakka mu kinnya mu kiseera eky’omuzira, n’atta empologoma.+ 23 Ate era yatta omusajja Omumisiri eyali omuwagguufu ennyo, ng’obuwanvu aweza emikono etaano.*+ Wadde ng’Omumisiri oyo yali akutte effumu eryalinga omuti ogulukirwako engoye,+ Benaya yagenda gy’ali ng’alina muggo, n’asika effumu mu mukono gwe n’alimuttisa.+ 24 Ebyo bye bintu Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era yali mwatiikirivu ng’abalwanyi bali abasatu abazira. 25 Wadde nga yali wa kitiibwa n’okusinga amakumi asatu, teyatuuka ku ssa ly’abasatu bali.+ Kyokka Dawudi yamulonda okukulira abakuumi be.
26 Abalwanyi abazira abaali mu magye be bano: Asakeri+ muganda wa Yowaabu, Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,+ 27 Sammosi Omukalooli, Kerezi Omuperoni, 28 Ira+ mutabani wa Ikkesi Omutekowa, Abi-yezeri+ Omwanasosi, 29 Sibbekayi+ Omukusa, Irayi Omwakoki, 30 Makalayi+ Omunetofa, Keredi+ mutabani wa Bbaana Omunetofa, 31 Isayi mutabani wa Libayi ow’e Gibeya eky’Ababenyamini,+ Benaya Omupirasoni, 32 Kulayi ow’omu biwonvu* by’e Gaasi,+ Abiyeeri Omwaluba, 33 Azumavesi Omubakalumi, Eriyaba Omusaaluboni, 34 batabani ba Kasemu Omugizoni, Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali, 35 Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali, Erifali mutabani wa Wuli, 36 Keferi Omumekera, Akiya Omuperoni, 37 Kezulo Omukalumeeri, Naalayi mutabani wa Ezubayi, 38 Yoweeri muganda wa Nasani, Mibukali mutabani wa Kaguli, 39 Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi eyasitulanga eby’okulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya, 40 Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli, 41 Uliya+ Omukiiti, Zabadi mutabani wa Alayi, 42 Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni, eyali akulira Abalewubeeni, era yali wamu n’abalala 30; 43 Kanani mutabani wa Maaka, Yosafati Omumisuni, 44 Uzziya Omwasuteraasi, Sama ne Yeyeri batabani ba Kosamu Omwaloweri, 45 Yediyayeri mutabani wa Simuli ne Yoka muganda we Omutiizi, 46 Eryeri Omumakavi, Yeribayi ne Yosaviya batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu; 47 Eryeri, Obedi, ne Yaasiyeri Omumezoba.