1 Ebyomumirembe Ekisooka
6 Batabani ba Leevi+ be bano: Gerusoni, Kokasi,+ ne Merali.+ 2 Abaana ba Kokasi be bano: Amulaamu, Izukali,+ Kebbulooni, ne Wuziyeeri.+ 3 Abaana ba Amulaamu+ be bano: Alooni,+ Musa,+ ne Miriyamu.+ Abaana ba Alooni be bano: Nadabu, Abiku,+ Eriyazaali,+ ne Isamaali.+ 4 Eriyazaali yazaala Fenekaasi,+ ate Fenekaasi n’azaala Abisuwa. 5 Abisuwa yazaala Bukki, ate Bukki n’azaala Uzzi. 6 Uzzi yazaala Zerakiya, ate Zerakiya n’azaala Merayosi. 7 Merayosi yazaala Amaliya, ate Amaliya n’azaala Akitubu.+ 8 Akitubu yazaala Zadooki,+ ate Zadooki n’azaala Akimaazi.+ 9 Akimaazi yazaala Azaliya, ate Azaliya n’azaala Yokanani. 10 Yokanani yazaala Azaliya. Ono ye yaweerezanga nga kabona mu nnyumba Sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi.
11 Azaliya yazaala Amaliya, ate Amaliya n’azaala Akitubu. 12 Akitubu yazaala Zadooki,+ ate Zadooki n’azaala Salumu. 13 Salumu yazaala Kirukiya,+ ate Kirukiya n’azaala Azaliya. 14 Azaliya yazaala Seraya,+ ate Seraya n’azaala Yekozadaki.+ 15 Yekozadaki ono yawaŋŋangusibwa, Yakuwa bwe yawaŋŋangusa Yuda ne Yerusaalemi ng’akozesa Nebukadduneeza.
16 Abaana ba Leevi be bano: Gerusomu,* Kokasi, ne Merali. 17 Gano ge mannya g’abaana ba Gerusomu: Libuni ne Simeeyi.+ 18 Abaana ba Kokasi be bano: Amulaamu, Izukali, Kebbulooni, ne Wuziyeeri.+ 19 Abaana ba Merali be bano: Makuli ne Musi.
Zino ze mpya z’Abaleevi okusinziira ku mannya ga bajjajjaabwe:+ 20 Bano be baava mu Gerusomu:+ Gerusomu yazaala Libuni, Libuni n’azaala Yakasi, Yakasi n’azaala Zimma, 21 Zimma n’azaala Yowa, Yowa n’azaala Iddo, Iddo n’azaala Zeera, Zeera n’azaala Yeyaserayi. 22 Abaana* ba Kokasi be bano: Amminadaabu. Amminadaabu yazaala Koola,+ Koola n’azaala Assiri, 23 Erukaana, ne Ebiyasaafu.+ Ebiyasaafu yazaala Assiri. 24 Assiri yazaala Takasi, Takasi n’azaala Uliyeri, Uliyeri n’azaala Uzziya, Uzziya n’azaala Sawuli. 25 Abaana ba Erukaana be bano: Amasayi ne Akimosi. 26 Abaana ba Erukaana be bano: Zofayi. Zofayi yazaala Nakasi, 27 Nakasi n’azaala Eriyaabu, Eriyaabu n’azaala Yerokamu, Yerokamu n’azaala Erukaana.+ 28 Abaana ba Samwiri+ be bano: omubereberye yali Yoweeri, ow’okubiri Abiya.+ 29 Abaana* ba Merali be bano: Makuli.+ Makuli yazaala Libuni, Libuni n’azaala Simeeyi, Simeeyi n’azaala Uzza, 30 Uzza n’azaala Simeeya, Simeeya n’azaala Kaggiya, Kaggiya n’azaala Asaya.
31 Bano Dawudi be yalonda okukulira eby’okuyimba mu nnyumba ya Yakuwa ng’Essanduuko emaze okuteekebwayo.+ 32 Be baali bavunaanyizibwa ku by’okuyimba mu weema entukuvu ey’okusisinkaniramu okutuusa Sulemaani lwe yazimba ennyumba ya Yakuwa mu Yerusaalemi.+ Baatuukirizanga obuvunaanyizibwa bwabwe obwabaweebwa.+ 33 Bano be basajja abaaweerezanga n’abaana baabwe: Ku baana b’Abakokasi, Kemani+ omuyimbi mutabani wa Yoweeri,+ mutabani wa Samwiri, 34 mutabani wa Erukaana,+ mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eryeri, mutabani wa Toowa, 35 mutabani wa Zufu, mutabani wa Erukaana, mutabani wa Makasi, mutabani wa Amasayi, 36 mutabani wa Erukaana, mutabani wa Yoweeri, mutabani wa Azaliya, mutabani wa Zeffaniya, 37 mutabani wa Takasi, mutabani wa Assiri, mutabani wa Ebiyasaafu, mutabani wa Koola, 38 mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isirayiri.
39 Muganda we Asafu+ yayimiriranga ku mukono gwe ogwa ddyo. Asafu yali mutabani wa Berekiya, mutabani wa Simeeya, 40 mutabani wa Mikayiri, mutabani wa Baaseya, mutabani wa Malukiya, 41 mutabani wa Esuni, mutabani wa Zeera, mutabani wa Adaya, 42 mutabani wa Esani, mutabani wa Zimma, mutabani wa Simeeyi, 43 mutabani wa Yakasi, mutabani wa Gerusomu, mutabani wa Leevi.
44 Baganda baabwe bazzukulu ba Merali+ baalinga ku mukono ogwa kkono, era be bano: Esani+ mutabani wa Kiisi, mutabani wa Abudi, mutabani wa Maluki, 45 mutabani wa Kasukabiya, mutabani wa Amaziya, mutabani wa Kirukiya, 46 mutabani wa Amuzi, mutabani wa Bani, mutabani wa Semeri, 47 mutabani wa Makuli, mutabani wa Musi, mutabani wa Merali, mutabani wa Leevi.
48 Baganda baabwe Abaleevi be baaweebwa emirimu gyonna egya weema entukuvu, ennyumba ya Katonda ow’amazima.+ 49 Alooni ne batabani be+ baanyookerezanga omukka gwa ssaddaaka ku kyoto eky’ebiweebwayo+ ebyokebwa ne ku kyoto eky’obubaani,+ nga bakola emirimu egikwata ku bintu ebisinga obutukuvu, okutangirira Isirayiri,+ nga byonna Musa omuweereza wa Katonda ow’amazima bye yalagira bwe biri. 50 Bano be baava mu Alooni:+ Eriyazaali.+ Eriyazaali yazaala Fenekaasi, Fenekaasi n’azaala Abisuwa, 51 Abisuwa n’azaala Bukki, Bukki n’azaala Uzzi, Uzzi n’azaala Zerakiya, 52 Zerakiya n’azaala Merayosi, Merayosi n’azaala Amaliya, Amaliya n’azaala Akitubu,+ 53 Akitubu n’azaala Zadooki,+ Zadooki n’azaala Akimaazi.
54 Bino bye byalo byabwe nga bwe baasiisiranga mu bitundu byabwe: akalulu akasooka kaagwa ku bazzukulu ba Alooni ab’oluggya lw’Abakokasi. 55 Baabawa Kebbulooni+ mu nsi ya Yuda n’amalundiro gonna agakyetoolodde. 56 Naye ebitundu ebiri ebweru w’ekibuga n’ebyalo byakyo baabiwa Kalebu+ mutabani wa Yefune. 57 Bazzukulu ba Alooni baabawa ebibuga bino: Kebbulooni ekibuga eky’okuddukiramu,+ ne Libuna+ n’amalundiro gaakyo, ne Yattiri,+ ne Esutemowa n’amalundiro gaakyo,+ 58 ne Kireni n’amalundiro gaakyo, ne Debiri+ n’amalundiro gaakyo, 59 ne Asani+ n’amalundiro gaakyo, ne Besusemesi+ n’amalundiro gaakyo. 60 Ekika kya Benyamini kyabawa Geba+ n’amalundiro gaakyo, ne Alemesi n’amalundiro gaakyo, ne Anasosi+ n’amalundiro gaakyo. Ebibuga byabwe byonna ebyaweebwa empya zaabwe byali 13.+
61 Abakokasi abalala baaweebwa ebibuga kkumi, okuva mu luggya lw’ekika, okuva mu kitundu kimu kya kubiri eky’ekika, ekitundu ekimu eky’okubiri ekya Manase.+
62 Abagerusomu okusinziira ku mpya zaabwe baaweebwa ebibuga 13 okuva mu kika kya Isakaali, okuva mu kika kya Aseri, okuva mu kika kya Nafutaali, n’okuva mu kika kya Manase mu Basani.+
63 Abamerali okusinziira ku mpya zaabwe baaweebwa ebibuga 12 nga bikubwako akalulu, okuva mu kika kya Lewubeeni, okuva mu kika kya Gaadi, n’okuva mu kika kya Zebbulooni.+
64 Bwe batyo Abayisirayiri baawa Abaleevi ebibuga ebyo n’amalundiro gaabyo.+ 65 Ate era baagaba ebibuga nga bakuba kalulu, okuva mu kika kya Yuda, okuva mu kika kya Simiyoni, n’okuva mu kika kya Benyamini, ebibuga ebyali bimenyeddwa amannya.
66 Ezimu ku mpya z’Abakokasi zaafuna ebibuga okuva mu kika kya Efulayimu okuba ekitundu kyazo.+ 67 Baabawa ebibuga bino: Sekemu+ ekibuga eky’okuddukiramu ekiri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi n’amalundiro gaakyo, ne Gezeri+ n’amalundiro gaakyo, 68 ne Yokumeyamu n’amalundiro gaakyo, ne Besu-kolooni+ n’amalundiro gaakyo, 69 ne Ayalooni+ n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni+ n’amalundiro gaakyo. 70 Ate ebyaggibwa ku kitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase ne biweebwa empya z’Abakokasi ezaasigalawo bye bino: Aneri n’amalundiro gaakyo ne Bireyamu n’amalundiro gaakyo.
71 Okuva mu luggya lw’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase, Abagerusomu baaweebwa Golani+ eky’omu Basani n’amalundiro gaakyo ne Asutaloosi n’amalundiro gaakyo;+ 72 ate okuva mu kika kya Isakaali, Kedesi n’amalundiro gaakyo, ne Daberasi+ n’amalundiro gaakyo,+ 73 ne Lamosi n’amalundiro gaakyo ne Anemu n’amalundiro gaakyo; 74 ate okuva mu kika kya Aseri, Masali n’amalundiro gaakyo, ne Abudoni n’amalundiro gaakyo,+ 75 ne Kukoki n’amalundiro gaakyo, ne Lekobu+ n’amalundiro gaakyo; 76 ate okuva mu kika kya Nafutaali, Kedesi+ mu Ggaliraaya+ n’amalundiro gaakyo, ne Kammoni n’amalundiro gaakyo, ne Kiriyasayimu n’amalundiro gaakyo.
77 Okuva mu kika kya Zebbulooni,+ Abamerali abaali basigaddewo baaweebwa Limmono n’amalundiro gaakyo ne Taboli n’amalundiro gaakyo, 78 era okuva mu kika kya Lewubeeni, mu kitundu kya Yoludaani e Yeriko ebuvanjuba wa Yoludaani, baaweebwa Bezeri ekiri mu ddungu n’amalundiro gaakyo, ne Yakazi+ n’amalundiro gaakyo, 79 ne Kedemosi+ n’amalundiro gaakyo, ne Mefaasi n’amalundiro gaakyo; 80 okuva mu kika kya Gaadi, Lamosi mu Gireyaadi n’amalundiro gaakyo, ne Makanayimu+ n’amalundiro gaakyo, 81 ne Kesuboni+ n’amalundiro gaakyo, ne Yazeri+ n’amalundiro gaakyo.